Oluyimba 40
Kulembezanga Obwakabaka
Printed Edition
1. Ekisanyusa Yakuwa,
Eky’omuwendo gy’ali,
Bwe Bwakabaka bwe obwo,
’Bunaatereeza byonna.
(CHORUS)
Kulembeza ’Bwakabaka
N’obutuukirivu bwe.
Mutenderezenga wonna,
N’obwesigwa muweereze.
2. Lwaki tweraliikirira
Eby’olunaku lw’enkya?
Bwe tusoosa ’bwakabaka
Yakuwa ’naabituwa.
(CHORUS)
Kulembeza ’Bwakabaka
N’obutuukirivu bwe.
Mutenderezenga wonna,
N’obwesigwa muweereze.
3. Langiriranga enjiri;
Yamba ’bantu okussa
Obwesige mu Yakuwa
Era n’obufuzi bwe.
(CHORUS)
Kulembeza ’Bwakabaka
N’obutuukirivu bwe.
Mutenderezenga wonna,
N’obwesigwa muweereze.
(Era laba Zab. 27:14; Mat. 6:34; 10:11, 13; 1 Peet. 1:21.)