Oluyimba 74
Essanyu lya Yakuwa
1. Ebiriwo biranga Bwakabaka.
Tutegeeza ’bantu bonna.
Muyimuse mmwenna emitwe gyammwe;
‘Kununulwa kuli kumpi!
(CHORUS)
’Ssanyu lya Yakuwa kigo kyaffe.
Yimba, yimbira waggulu.
Sanyukira nnyo essuubi ly’olina,
Yakuwa atenderezebwa.
’Ssanyu lya Yakuwa kigo kyaffe.
Erinnya lye libuulirwe.
N’essanyu lingi, ka tunyiikirire
‘kuweereza Katonda waffe.
2. Mumwesige nnyo Yakuwa Katonda.
Ye wa maanyi, temutyanga.
Muyimuke mwogerere waggulu;
Mumutende nga muyimba!
(CHORUS)
’Ssanyu lya Yakuwa kigo kyaffe.
Yimba, yimbira waggulu.
Sanyukira nnyo essuubi ly’olina,
Yakuwa atenderezebwa.
’Ssanyu lya Yakuwa kigo kyaffe.
Erinnya lye libuulirwe.
N’essanyu lingi, ka tunyiikirire
‘kuweereza Katonda waffe.
(Era laba 1 Byom. 16:27; Zab. 112:4; Luk. 21:28; Yok. 8:32.)