Oluyimba 69
Njigiriza Amakubo Go
Printed Edition
	1. Tukuŋŋaanye mu maaso go, Yakuwa,
Otuyise ne tukkiriza.
Ekigambo kyo ye ttabaaza yaffe,
Mwe muli by’otuyigiriza.
(CHORUS)
’Makubo go gandage ngamanye;
Nnyamba ntegeere ’biragiro byo.
Onnyambe nze okusanyukira,
N’okutambulira mu mazima.
2. Ai Katonda, ’magezi go mangi,
By’okola bizzaamu amaanyi.
Ekigambo kyo ddala kyewuunyisa;
Ggwe by’oyogera bibeerera.
(CHORUS)
’Makubo go gandage ngamanye;
Nnyamba ntegeere ’biragiro byo.
Onnyambe nze okusanyukira,
N’okutambulira mu mazima.