Oluyimba 57
Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange
Printed Edition
1. Ebyo nze bye ndowoozaako,
Byonna bye nfumiitiriza,
Bisiimibwe mu maaso go,
Onkuumire mu kkubo lyo.
Bwe mba nneeraliikiridde
Era ne mbulwa otulo,
Ka nkulowoozengako ggwe
Ne bye mmanyi nti bigwana.
2. Ebintu ebirongoofu,
Ebintu eby’amazima,
N’ebyogerwako ’bulungi,
Ka mbirowoozengako nnyo.
’Birowoozo byo Yakuwa,
Bingi era bya muwendo!
Bye mba nfumiitirizaako,
Era ka mbyemalireko.
(Era laba Zab. 49:3; 63:6; 139:17, 23; Baf. 4:7, 8; 1 Tim. 4:15.)