Okusaba n’Okufumiitiriza—Bikulu Nnyo eri Ababuulizi Abanyiikivu
1. Kiki ekyayamba Yesu okwewala okuwugulibwa okuva ku mulimu gwe omukulu?
1 Yesu yamala akawungeezi konna ng’awonya abantu era ng’agoba dayimooni. Olunaku olwaddako, abayigirizwa be bwe baamusanga baamugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya,” nga bamukubiriza okweyongera okukola ebyamagero. Kyokka, Yesu teyawugulibwa kuva ku mulimu gwe omukulu ogw’okubuulira amawulire amalungi. Yabaddamu nti: “Tugende awalala mu bubuga obw’okumpi nayo nsobole okubuulirayo kubanga kino kye kyandeeta.” Kiki ekyayamba Yesu obutawugulibwa? Lwa kuba yali akedde ku makya n’asaba era n’afumiitiriza. (Mak. 1:32-39) Okusaba n’okufumiitiriza naffe biyinza kutuyamba bitya okubeera ababuulizi abanyiikivu?
2. Kiki kye tuyinza okufumiitirizaako ekinaatuyamba okweyongera okuba abanyiikivu mu buweereza?
2 Tuyinza Kufumiitiriza ku Ki? Yesu yakiraba nti abantu baali “babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Mu ngeri y’emu, tuyinza okufumiitiriza ku ngeri abantu gye beetaaga amawulire amalungi. Tuyinza okulowooza ennyo ku kiseera ekitono ekisigaddeyo. (1 Kol. 7:29) Tuyinza okufumiitiriza ku mirimu gya Yakuwa n’engeri ze, enkizo ey’okubeera Abajulirwa be, n’amazima ag’omuwendo ge tuyize okuva mu Kigambo kya Katonda abantu abali mu kitundu kye tubuuliramu ge batamanyi.—Zab. 77:11-13; Is. 43:10-12; Mat. 13:52.
3. Ddi lwe tuyinza okufumiitiriza?
3 Ddi lwe Tuyinza Okufumiitiriza? Nga Yesu bwe yakola, abamu bakeera ku makya ng’obudde bukyali busirifu. Abalala bakisanga nga kirungi okufumiitiriza akawungeezi nga tebanneebaka. (Lub. 24:63) Wadde nga tulina bingi eby’okukola, tusobola okufunayo akadde ak’okufumiitiriza. Abamu bakikola nga bali mu ntambula eya lukale. Abalala bakozesa ebimu ku biseera byabwe eby’amalya g’eby’emisana okufumiitiriza nga tewali kibataataaganya. Bangi bakisanze nti okufumiitiriza nga tebannagenda mu buweereza, ne bwe kiba okumala akaseera katono, kibayamba okubuulira n’obunyiikivu era n’obuvumu.
4. Lwaki tusaanidde okufumiitiriza?
4 Okusaba n’okufumiitiriza bijja kutuyamba okweyongera okwagala okuweereza Yakuwa, okwongera okwemalira ku by’omwoyo, n’okuba abamalirivu okweyongera okubuulira. Yesu, Omuweereza wa Katonda Omukulu, yaganyulwa nnyo olw’okufumiitiriza, era naffe tujja kuganyulwa.