Oluyimba 119
Jjangu, Ozzibwemu Amaanyi!
1. Tuli mu nsi enjeemu, eyawaba;
Yo, Katonda temumanyi.
Okwekuumira mu kkubo ettuufu,
Twetaaga ’bulagirizi.
Enkuŋŋaana zaffe zituganyula;
Zinyweza okukkiriza.
Zikubiriza ’bikolwa ’birungi,
Zituzzaamu nnyo amaanyi.
Tunyweredde ku Yakuwa ky’agamba;
By’ayagala bye twagala.
Tuyiga bingi mu nkuŋŋaana zaffe,
Era tuzzibwa obuggya.
2. Yakuwa amanyi ffe bye twetaaga;
Tuwulire ky’atugamba.
Tulaga nti tusiima ’Kigambo kye,
Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana.
Tuyigirizibwa bulungi ddala
Ne tumanya ’ky’okukola.
Bwe tuba awamu n’ab’oluganda,
Tufuna obuwagizi.
Nga bwe tulindirira ensi empya,
Ka tukuŋŋaanenga nabo.
Tuyige ’ngeri y’okutambuzaamu
’Bulamu bwaffe bulijjo.
(Era laba Zab. 37:18; 140:1; Nge. 18:1; Bef. 5:16; Yak. 3:17.)