Oluyimba 145
Okweteekerateekera Okubuulira
Printed Edition
Wanula:
Bukedde!
Twetegeka
’Kugenda ’kubuulira.
Wadde enkuba
Yo ebindabinda,
Tesaanidde kutulemesa
Kugenda.
(CHORUS)
Kikulu nnyo ’kweteekateeka,
Era n’okusaba;
Endowooza yaffe ebeere
Ennuŋŋamu.
Bamalayika batuyamba;
Yesu y’abatuma.
Ne baganda baffe bulijjo
Batuyamba.
Essanyu
Tuba nalyo
Bwe tukola bwe tutyo.
Yakuwa ’laba
Okufuba kwaffe.
Talyerabira bye tukola;
Asiima.
(CHORUS)
Kikulu nnyo ’kweteekateeka,
Era n’okusaba;
Endowooza yaffe ebeere
Ennuŋŋamu.
Bamalayika batuyamba;
Yesu y’abatuma.
Ne baganda baffe bulijjo
Batuyamba.
(Era laba Mub. 11:4; Mat. 10:5, 7; Luk. 10:1; Tit. 2:14.)