Bye Njiga mu Bayibuli
EMYAKA 3 N’OKUDDA WANSI
Kalebu akitegeerako nti mukwano gwe mulwadde.
Agamba nti: “Mmanyi eky’okukola.
Ka mmuwandiikire ebbaluwa ezzaamu amaanyi, oluvannyuma ngimutwalire!”
Bw’olaga munno ekisa, ggwe naye mujja kuba basanyufu! 1 Peetero 3:8
EBY’OKUKOLA
Gamba omwana wo asonge ku:
Nnyumba Mmeeza Kalebu
Njuba Kinyonyi Muti
Omwana wo mubuulire mukwano gwammwe omulwadde, era mwogere ku ngeri gye muyinza okumuzzaamu amaanyi.