Oluyimba 150
Luubirira Okuweereza Awali Obwetaavu
Printed Edition
	Wanula:
- Luubirira ’kuweereza - Wonna ’wali obwetaavu. - ’Ssanyu lyaffe lyeyongera - Bwe tuyamba abalala. - (CHORUS) - Weeweeyo; weereza - olw’okwagala. - Bw’oyamba ’balala, ofuna - essanyu lingi. 
- Tuyambeko mu nsi ’ndala, - Bwe wabaayo obwetaavu. - Okwagala tukwoleka - Nga tufuba ’kubayamba. - (CHORUS) - Weeweeyo; weereza - olw’okwagala. - Bw’oyamba ’balala, ofuna - essanyu lingi. 
- Bwe tuyiga olulimi - Olwogerwa abalala, - Kituyamba ’kubunyisa - ’Mawulire amalungi. - (CHORUS) - Weeweeyo; weereza - olw’okwagala. - Bw’oyamba ’balala, ofuna - essanyu lingi. 
(Era laba Yok. 4:35; Bik. 2:8; Bar. 10:14.)