ESSOMO 3
Amazima Agali mu Bayibuli Gaddamu Gatya Okutegeerwa?
Abayizi ba Bayibuli mu 1870
Watchtower eyasooka okukubibwa mu 1879
Watchtower nga bw’efaanana leero
Bayibuli yakiraga nti oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, mu Bakristaayo ab’amazima mwandivuddemu abayigiriza eby’obulimba ne banyoolanyoola amazima agali mu Bayibuli. (Ebikolwa 20:29, 30) Ekyo kyennyini kye kyaliwo. Abayigiriza abo ab’obulimba baagattika enjigiriza za Yesu n’enjigiriza ez’ekikaafiiri, era mu ngeri eyo Obukristaayo obw’obulimba ne butandika. (2 Timoseewo 4:3, 4) Tuyinza tutya okuba abakakafu nti leero tutegeerera ddala ekyo Bayibuli ky’eyigiriza?
Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’abikkula amazima. Yakuwa yakiraga nti mu ‘kiseera eky’enkomerero okumanya okutuufu kwandyeyongedde.’ (Danyeri 12:4) Mu 1870, abantu abatonotono abaali banoonya amazima baakiraba nti enjigiriza z’amadiini nnyingi zaali tezeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Bwe batyo baatandika okunoonyereza basobole okutegeera ekituufu kyennyini Bayibuli ky’eyigiriza, era Yakuwa yabayamba ne bategeera Ebyawandiikibwa.
Abantu abeesimbu beekenneenya Bayibuli. Nga beekenneenya Ebyawandiikibwa, Abayizi ba Bayibuli baagoberera enkola gye tukyakozesa n’okutuusa leero. Baafunangayo ensonga emu ne bagikubaganyaako ebirowoozo. Bwe waabangawo ekitundu mu Bayibuli ekyabanga kibazibuwalidde okutegeera, baanoonyanga ebyawandiikibwa ebirala ebisobola okubayamba okukitegeera. Bye baazuulanga bwe byabanga bikwatagana n’Ebyawandiikibwa ebirala, baabissanga mu buwandiike. Enkola eyo yabasobozesa okuzuula amazima agakwata ku linnya lya Katonda n’Obwakabaka bwe. Baasobola n’okutegeera ekigendererwa kya Katonda eri abantu n’ensi, embeera y’abafu, n’essuubi ly’okuzuukira. Bye baazuula byabayamba okwekutula ku njigiriza nnyingi ez’obulimba awamu ne ku bikolwa Katonda by’akyawa.—Yokaana 8:31, 32.
Mu 1879 Abayizi ba Bayibuli baakiraba nti ekiseera kyali kituuse amazima gamanyisibwe buli wamu. N’olwekyo, mu mwaka ogwo baatandika okukuba magazini eyitibwa The Watchtower Announcing Jehovah’s Kingdom, ekyakubibwa n’okutuusa leero. Mu kiseera kino tubuulira abantu amazima agali mu Bayibuli mu nsi 240 era mu nnimi ezisukka mu 750. Amazima agali mu Bayibuli tegabunangako mu bifo bingi nga bwe kiri leero!
Kiki ekyatuuka ku mazima agali mu Bayibuli oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu?
Kiki ekyatusobozesa okuddamu okutegeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda?