LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jl essomo 10
  • Okusinza kw’Amaka Kye Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okusinza kw’Amaka Kye Ki?
  • Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Similar Material
  • Enteekateeka Eganyula Amaka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 2
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Musinzize Wamu ng’Amaka
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Okusinza kw’Amaka—Kusobola Okuba Okunyuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
jl essomo 10

ESSOMO 10

Okusinza kw’Amaka Kye Ki?

Ab’omu maka nga bali mu kusinza kw’amaka

South Korea

Abafumbo nga basomera wamu Bayibuli

Brazil

Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’asoma Bayibuli

Australia

Amaka nga gakubaganya ebirowoozo ku emu ku nsonga eziri mu Bayibuli

Guinea

Okuva edda n’edda Yakuwa ayagala ab’omu maka okubeerako awamu basobole okwenyweza mu by’omwoyo era n’okunyweza enkolagana eriwo wakati waabwe. (Ekyamateeka 6:6, 7) Eyo ye nsonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa baba n’ekiseera eky’okusinziza awamu ng’amaka buli wiiki. Ekiseera ekyo bakikozesa okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezibakwatako ng’amaka nga bakozesa Bayibuli. Ne bwe kiba nti obeera wekka, osobola okukozesa ekiseera ekyo okunyweza enkolagana yo ne Katonda nga weesomesa Bayibuli mu ngeri yonna gy’oba osazeewo.

Kiba kiseera kya kusemberera Yakuwa. “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” ( Yakobo 4:8) Bwe tusoma Bayibuli tweyongera okumanya Yakuwa ne tutegeera bulungi engeri ze era n’ebyo bye yakola. Engeri ennyangu ey’okutandikamu okusinza kw’amaka kwe kusomera awamu Bayibuli, oboolyawo nga mugoberera enteekateeka eya buli wiiki egobererwa mu Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo. Buli omu ayinza okuweebwa ekitundu ky’anaasoma mu Bayibuli ng’abalala bawuliriza, era oluvannyuma ne mukubaganya ebirowoozo ku ebyo bye muba muyize.

Kiba kiseera ab’omu maka okunyweza enkolagana eriwo wakati waabwe. Ab’omu maka bwe basomera awamu Bayibuli, abaami ne bakyala baabwe banyweza enkolagana eriwo wakati waabwe, era n’abazadde banyweza enkolagana eriwo wakati waabwe n’abaana baabwe. Ekiseera ekyo kisaanidde kuba kya ssanyu, kya mirembe, era nga buli omu akyesunga. Abazadde musobola okusalawo biki ebinaakubaganyizibwako ebirowoozo nga musinziira ku myaka gy’abaana bammwe. Oboolyawo muyinza okukozesa ebitundu ebimu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi, Zuukuka!, ne ku mukutu gwaffe jw.org/lg. Musobola okwogera ku kizibu abaana bammwe kye boolekagana nakyo ku ssomero era n’engeri gye basobola okukyaŋŋangamu. Muyinza okulaba ekimu ku biri ku ttivi ya JW Broadcasting (tv.jw.org/lg), oluvannyuma ne mukikubaganyaako ebirowoozo. Musobola n’okwegezaamu mu nnyimba ezinaayimbibwa mu nkuŋŋaana era oluvannyuma ne mubaako n’obuntu obutonotono bwe mulya oba bwe munywa.

Ekiseera amaka kye gamala buli wiiki nga gasinza Yakuwa kiyamba buli omu mu maka okwagala ennyo okusoma Ekigambo kya Katonda, era Yakuwa ajja kubawa emikisa mingi bwe munaafuba okumusinziza awamu ng’amaka.​—Zabbuli 1:1-3.

  • Lwaki tuba n’ekiseera eky’okusinza Yakuwa ng’amaka?

  • Abazadde bayinza batya okufuula okusinza kw’amaka okunyuvu?

MANYA EBISINGAWO

Saba abalala mu kibiina bakubuulire ku bye bakola mu kusinza kwabwe okw’amaka. Era buuza omanye ebitabo by’oyinza okufuna mu Kizimbe ky’Obwakabaka ebinaakuyamba okuyigiriza abaana bo ebikwata ku Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share