LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/11 lup. 3-6
  • Enteekateeka Eganyula Amaka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enteekateeka Eganyula Amaka
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Enkuŋŋaana:
  • Okusinza kw’Amaka—Kusobola Okuba Okunyuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Amaka Amakristaayo—“Mubeere Beeteefuteefu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Okusinza kw’Amaka Kye Ki?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Okusinza kw’Amaka Kuyamba mu Kuwonawo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 1/11 lup. 3-6

Enteekateeka Eganyula Amaka

1. Ssabbiiti eyabangawo buli wiiki yaganyulanga etya amaka g’Abaisiraeri?

1 Okukwata Ssabbiiti yali nteekateeka ey’okwagala okuva eri Yakuwa eyaganyulanga amaka. Abaisiraeri baawummulanga okuva ku mirimu gyabwe egya bulijjo ne kibasobozesa okufuna ebiseera okufumiitiriza ku bulungi bwa Yakuwa ne ku nkolagana yaabwe naye. Abazadde baakozesanga akakisa kano okuyigiriza abaana baabwe Amateeka ga Yakuwa. (Ma. 6:6, 7) Ssabbiiti yasobozesanga abantu ba Yakuwa okuba n’obudde buli wiiki okufaayo ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo.

2. Ssabbiiti etuyigiriza ki ku Yakuwa?

2 Kya lwatu, Yakuwa takyetaagisa maka kukwata Ssabbiiti. Wadde kiri kityo, etteeka ery’okukwata Ssabbiiti lirina kye lituyigiriza ku Katonda waffe. Bulijjo abadde afaayo nnyo ku mbeera y’abantu be ey’eby’omwoyo. (Is. 48:17, 18) Leero, engeri emu Yakuwa gy’alagamu nti afaayo ku bantu be kwe kututeerawo enteekateeka y’Okusinza kw’Amaka.

3. Ekigendererwa eky’okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka kye kiruwa?

3 Ekigendererwa eky’Okuba n’Akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka Kye Kiruwa? Mu Jjanwali 2009, Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina kwatandika okubaawo ku lunaku lwe lumu lwe tuba n’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Emu ku nsonga lwaki enkyukakyuka eno yaleetebwawo kwe kusobozesa ab’omu maka okwenyweza mu by’omwoyo nga baba n’akawungeezi ak’okusinza kw’amaka buli wiiki. Buli maka gaakubirizibwa okuzza enteekateeka y’okusoma kw’amaka ku kawungeezi we twabanga n’okusoma ekitabo, ekiseera ekyo bwe kiba kituukagana n’embeera y’amaka ago, era n’okukozesa ekiseera ekyo okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli nga tebanguyiriza n’okuba n’okuyiga okutuukagana n’ebyetaago by’ab’omu maka.

4. Amaka galina kumala ssaawa emu yokka mu Kusinza kw’Amaka? Nnyonnyola.

4 Okusobola okubeerawo ku lukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina, twali twetaaga ebiseera okwambala, okutambula nga tugenda mu kifo awaabanga olukuŋŋaana, n’okukola ebintu ebirala. Bangi ku ffe, kumpi twakozesanga akawungeezi ako konna okusobola okubaawo mu lukuŋŋaana luno olw’essaawa emu. Okuva lwe wajjawo ekyukakyuka mu nkuŋŋaana zaffe, kati tukozesa akawungeezi ako okusinza Yakuwa ng’amaka. N’olwekyo, tetusaanidde kukitwala nti Okusinza kw’Amaka kulina kuba kwa ssaawa emu yokka. Wabula, tusaanidde okulowooza ku byetaago n’obusobozi bw’ab’omu maka gaffe nga tuteekawo ekiseera kye tunaamala nga tuli mu Kusinza kw’Amaka.

5. Akawungeezi konna mulina kukamala nga mukubaganya birowoozo ng’amaka? Nnyonnyola.

5 Akawungeezi Konna Mulina Kukamala nga Mukubaganya Birowoozo ng’Amaka? Abafumbo abatalina baana n’abo abalina abaana bwe bakubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa nga bali wamu ng’amaka, bazziŋŋanamu amaanyi. (Bar. 1:12) Enkolagana yaabwe ng’amaka yeeyongera okunywera. N’olwekyo, ekisinga obukulu mu kawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka kwe kukubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa. Kyokka, buli omu mu maka ayinza okufunayo ekiseera okwesomesa. Okugeza, nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ng’amaka, muyinza okusigala awamu naye nga buli omu yeesomesa yekka, oboolyawo ng’amaliriza okutegeka enkuŋŋaana oba okusoma magazini. Amaka agamu gasalawo obutateekako ttivi akawungeezi ako konna.

6. Okusinza kw’Amaka kuyinza kukubirizibwa kutya?

6 Okusinza kw’Amaka Kuyinza Kukubirizibwa Kutya? Tetusaanidde kukitwala nti bulijjo Okusinza kw’Amaka kulina kuba kwa kubuuza bibuuzo na kuddamu. Okusobola okufuula Okusinza kw’Amaka okunyuvu era okw’essanyu, amaka agamu galina enteekateeka efaananako n’ey’enkuŋŋaana ezibeerawo wakati mu wiiki. Okusinza kwabwe okw’Amaka bakugabanyamu ebitundu ebiwerako era ne bikubirizibwa mu ngeri ez’enjawulo. Okugeza, bayinza okusomera awamu Bayibuli, okutegeka ezimu ku nkuŋŋaana, n’okwegezaamu mu nnyanjula ze banaakozesa mu buweereza. Ku lupapula 6 kuliko agamu ku magezi agayinza okutuyamba.

7. Nga bali mu Kusinza kw’Amaka abazadde bandifubye kussaawo mbeera ki?

7 Abazadde Bandifubye Kussaawo Mbeera Ki? Ab’omu maka go bajja kuyiga bulungi singa oteekawo embeera ennungi. Emirundi egimu embeera y’obudde bw’eba nga nnungi muyinza okuyigira wabweru. Muyinza n’okuwummulamu bwe kiba kyetaagisa. Amaka agamu gaba n’eby’okulya awamu n’eby’okunywa oluvannyuma lw’Okusinza kw’Amaka. Wadde ng’abazadde basaanidde okwewala okukozesa akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka okunenya abaana oba okubakangavvula, kiyinza okubeetaagisa okukozesa ebimu ku biseera ebyo okwogera ku kizibu ekiba kizzeewo mu maka. Wadde kiri kityo, kiyinza okuba ekirungi okwogera n’omwana ku nsonga ze ez’omunda nga muli mwekka ku kiseera ekirala okwewala okumuswaza mu banne. Akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka kasaanidde okuba ak’essanyu kubanga tusinza Katonda omusanyufu.—1 Tim. 1:11.

8, 9. Emitwe gy’amaka basaanidde kuteekateeka batya ebinaabeera mu Kusinza kw’Amaka?

8 Omutwe gw’Amaka Ayinza Kuteekateeka Atya? Amaka gajja kuganyulwa nnyo singa omutwe gw’amaka ateekateeka nga bukyali ng’asalawo ebyo bye banaakubaganyako ebirowoozo n’engeri gy’anaakubirizaamu Okusinza kw’Amaka mu ngeri esingayo obulungi. (Nge. 21:5) Kiba kirungi omwami okwebuuza ku mukyala we ng’ateekateeka bye banaasoma. (Nge. 15:22) Emitwe gy’amaka, lwaki emirundi egimu temubuuza baana bammwe ebyo bye bandyagadde bibeere mu Kusinza kw’Amaka? Bw’okola bw’otyo, ojja kusobola okutegeera obulungi abaana bo bye baagala n’ebyo ebibeeraliikiriza.

9 Mu wiiki ezisinga obungi tekijja kwetaagisa mutwe gw’amaka kumala kiseera kiwanvu ng’ateekateeka Okusinza kw’Amaka. Oboolyawo, amaka gajja kwagala ebintu ebimu okusigala ku programu eya buli wiiki, era ng’omutwe gw’amaka tekijja kumwetaagisa kutegeka bintu bipya buli wiiki. Ayinza okukisanga nga kya muganyulo okutegeka buli luvannyuma lw’Okusinza kw’Amaka ng’akyajjukira bulungi ebyetaago by’ab’omu maka ge eby’eby’omwoyo. Emitwe gy’amaka abamu, bawandiika ebyo ebinaabeera mu Kusinza kw’Amaka ne babiteeka ab’omu maka gaabwe we bayinza okubirabira amangu gamba nga ku firiiji. Kino kireetera ab’omu maka essanyu n’okwesunga era kibasobozesa okweteekateeka bwe kiba kyetaagisizza.

10. Abo abali bokka oba ababeera n’abatali bakkiriza bayinza batya okukozesa akawungeezi kaabwe ak’Okusinza kw’Amaka?

10 Watya Singa Mba bw’Omu oba nga Mbeera n’Abatali Bakkiriza? Abo abali mu mbeera ng’eyo, bayinza okukozesa akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka okwesomesa. Enteekateeka ennungi ey’okwesomesa, esaanidde okubaamu okusoma Bayibuli, okweteekerateekera enkuŋŋaana, n’okusoma Watchtower ne Awake! Ababuulizi abamu kuno bagattako n’okwesomesa ebitabo ebirala. Emirundi egimu, bayinza okuyita omubuulizi omulala oba amaka okubeegattako bakubaganye ebirowoozo ku Byawandiikibwa.

11, 12. Egimu ku miganyulo egiri mu kuba n’Okusinza kw’Amaka obutayosa gye giruwa?

11 Miganyulo Ki Egiri mu Kuba n’Okusinza kw’Amaka Obutayosa? Abo abasinza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna bongera okumusemberera. Okugatta ku ekyo, amaka agasinziza awamu Yakuwa, gongera okunywera. Omwami ne mukyala we baawandiika bwe bati nga boogera ku mikisa gye bafunye: “Olw’okuba tuli bapayoniya abatalina baana, tuba twesunga nnyo akawungeezi kaffe ak’Okusinza kw’Amaka. Muli tuwulira nga twongedde okunyweza enkolagana yaffe ng’abafumbo n’okusemberera Kitaffe ow’omu ggulu. Kati buli lwe tuzuukuka ku lunaku lwe twateekawo okwesomesa, buli omu agamba munne nti: ‘Teeba ekinaabaawo akawungeezi, Okusinza kw’Amaka!’”

12 Enteekateeka ey’okuba n’akawungeezi ak’okusinza kw’amaka eyamba n’amaka agalina eby’okukola ebingi. Maama omu ali obwannamunigina, ow’abaana ababiri, era ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo yawandiika ng’agamba nti: “Edda, enteekateeka yaffe ey’okusoma kw’amaka teyali nnungi. Yabangawo lumu na lumu kuba nnabanga nkooye. Kyanzibuwaliranga okukola emirimu gyonna nga kw’otadde n’okusoma kw’amaka. N’olwekyo mbawandiikira okubeebaza ennyo olw’enteekateeka ey’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka. Tusobodde okuba n’enteekateeka ey’okusoma kw’amaka obutayosa era tufunye emiganyulo mingi.”

13. Amaka go okusobola okuganyulwa mu nteekateeka y’Okusinza kw’Amaka kinaasinziira ku ki?

13 Okufaananako Ssabbiiti, akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka kirabo okuva eri Kitaffe ow’omu ggulu ekisobola okuyamba amaka. (Yak. 1:17) Emiganyulo amaka g’Abaisiraeri gye gaafunanga mu by’omwoyo gyasinziiranga ku ngeri gye gaakozesangamu Ssabbiiti. Mu ngeri y’emu, emiganyulo gye tunaafuna ng’amaka gijja kusinziira ku ngeri gye tukozesaamu akawungeezi ak’okusinza kw’amaka akatuweereddwa. (2 Kol. 9:6; Bag. 6:7, 8; Bak. 3:23, 24) Bw’okozesa enteekateeka eno obulungi, ab’omu maka go basobola okwogera ebigambo by’omuwandiisi wa zabbuli bino: “Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange.”—Zab. 73:28.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]

Akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka kasaanidde okuba ak’essanyu kubanga tusinza Katonda omusanyufu

[Akasanduuko Akali ku lupapula 6]

LUTEREKE

Agamu ku Magezi Aganaatuyamba mu Kawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka

Bayibuli:

• Musomere wamu ezimu ku ssuula eziri mu kusoma Bayibuli okwa wiiki. Ekitundu ekinaasomebwa bwe kiba kituukirawo, omu ku mmwe ayinza okusoma ebigambo by’oyo attottola ebyaliwo ate abalala ne basoma ebigambo ebyogerwa abantu ab’enjawulo abali mu kitundu ekyo.

• Muzannye omuzannyo ogwesigamiziddwa ku kitundu eky’okusoma Bayibuli okwa wiiki.

• Buli omu mu maka mugambe asome nga bukyali ekitundu eky’okusoma Bayibuli okwa wiiki era awandiike ekibuuzo kimu oba bibiri ku ebyo by’anaaba tategedde. Oluvannyuma munoonyereze nga muli wamu eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

• Buli wiiki tegekawo kakaadi okuli ekyawandiikibwa era mugezeeko okujjukira n’okunnyonnyola ebiri mu kyawandiikibwa ekyo. Kuŋŋaanya bukaadi obwo era mubwejjukanye buli wiiki okulaba byawandiikibwa bimeka bye mujjukira.

• Muwulirize okusoma Bayibuli okuli ku butambi nga mugoberera mu Bayibuli zammwe.

Enkuŋŋaana:

• Mutegekere wamu ezimu ku nkuŋŋaana.

• Mwegezeemu mu nnyimba z’Obwakabaka ezinaayimbibwa wiiki eddako.

• Omu ku mmwe bw’aba ng’alina emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda oba okulaga ekyokulabirako mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gy’ayinza okukikolamu oba yeegezeemu ng’ab’omu maka weebali.

Ebyetaago by’Amaka:

• Mwekenneenye ebyo ebiri mu katabo Young People Ask oba mu kitabo Learn From the Great Teacher.

• Mwegezeemu ku ngeri omwana gy’ayinza okukwatamu embeera eyinza okubaawo ku ssomero.

• Mwegezeemu ng’abaana bakola ng’abazadde ate ng’abazadde bakola ng’abaana. Abaana banoonyereze ku nsonga era oluvannyuma bakubaganye ebirowoozo ne bazadde baabwe.

Obuweereza:

• Mwegezeemu mu nnyanjula ze munaakozesa ku wiikendi.

• Mukubaganye ebirowoozo ku biruubirirwa ab’omu maka bye basobola okuteekawo okusobola okugaziya obuweereza bwabwe mu kiseera ky’Ekijjukizo oba eky’oluwummula.

• Buli omu mu maka muweeyo eddakiika entonotono anoonyereze ku ngeri gy’ayinza okuddamu ebibuuzo ebiyinza okubuuzibwa mu buweereza, era mwegezeemu ku ngeri y’okubiddamu.

Amagezi Amalala:

• Musomere wamu ekitundu ekiri mu magazini ezaakafuluma.

• Saba buli omu mu maka asome nga bukyali ekitundu ekimusanyusizza mu magazini ezaakafuluma, era oluvannyuma omusabe ayogere ebikirimu.

• Emirundi egimu oyinza okuyita omubuulizi oba omwami ne mukyala we babeegatteko mu Kusinza kwammwe okw’Amaka era oboolyawo muyinza n’okubabuuza ebibuuzo ebikwata ku buweereza bwabwe.

• Mulabe emu ku vidiyo zaffe era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

• Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Young People Ask” oba “For Family Review” ebiri mu Awake!

• Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Yigiriza Abaana Bo” oba “Eri Abavubuka Baffe” ebiri mu Munaala gw’Omukuumi.

• Musome era mukubaganye ebirowoozo ku bitundu ebimu ebiri mu katabo Yearbook akaakafuluma oba ebiri mu kitabo ekyafulumizibwa mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwakaggwa.

• Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene, mwejjukanye ensonga enkulu ezibadde mu programu.

• Mwetegereze ebitonde bya Yakuwa nga muli wamu ng’amaka era mukubaganye ebirowoozo ku ebyo bye bibayigiriza ku Yakuwa.

• Mubeeko n’ekintu kye mukolera awamu, gamba ng’okukuba mmaapu, oba ekipande.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share