Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 24
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 24
Oluyimba 53 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 29 ¶16-21, akas. ku lup. 299 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ezera 6-10 (Ddak. 10)
Na. 1: Ezera 7:1-17 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Engeri Yesu Gye Yakyolekamu nti Asaanira Okuba Kabaka (Ddak. 5)
Na. 3: Ddala Yesu Kristo Ye Katonda?—rs-E lup. 212 ¶1-2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango. Yogera ku bitabo ebinaagabibwa mu Febwali, era olageyo ekyokulabirako kimu.
Ddak. 20: “Enteekateeka Eganyula Amaka.”—Ekitundu 1. (Akatundu 1-6 n’akasanduuko ku lupapula 6.) Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Kubiriza abawuliriza okukozesa agamu ku magezi agali ku lupapula 6 nga bali mu Kusinza kwabwe okw’Amaka okunaddako. Ekitundu ekisigaddeyo bwe kinaaba kikubaganyizibwako ebirowoozo wiiki ejja, bajja kuba n’akakisa okugabanako n’abalala ku ngeri ab’omu maka gaabwe gye baaganyuddwamu.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Magazini mu Febwali. Kukubaganya birowoozo. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebiri mu lukalala lw’ebyo ebiri mu magazini ze mwasembayo okufuna. Oluvannyuma londa ebitundu bibiri oba bisatu, era osabe abawuliriza boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bayinza okukozesa nga bagaba magazini ezo. Laga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Oluyimba 32 n’Okusaba