Omaze Okusalawo Bujjanjabi Ki bw’Oyagala?
Amalwaliro mangi okwetooloola ensi yonna kati galongoosa abantu awatali kubassaamu musaayi. Omanyi bulungi enzijanjaba endala z’osobola okukozesa ezitazingiramu kuteekebwamu musaayi? Weetaaga okuzimanya osobole okusalawo obulungi ku bikwata ku bujjanjabi n’okulongoosebwa. Laba vidiyo eyitibwa No Blood—Medicine Meets the Challenge. Ng’omaze okugiraba, wejjukanye by’oyize ng’okozesa ebibuuzo ebiweereddwa wammanga era osabe Yakuwa akuyambe okusalawo obulungi.—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eno erimu ebitundu ebiraga abalwadde nga balongoosebwa, abazadde basaanidde okukozesa amagezi nga bagiraba n’abaana baabwe abato. Bwe muba temulina vidiyo eno, mwejjukanye ekitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2000, n’ogwa Noovemba 1, 2000 oba ekyo ekirina omutwe “Oli Mwetegefu Okwolekagana n’Embeera Ekwata ku by’Obujjanjabi Esoomooza Okukkiriza Kwo?” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1990, era mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga ebituukirawo.
(1) Nsonga ki esinga obukulu ereetera Abajulirwa ba Yakuwa obutakkiriza kuteekebwamu musaayi? (2) Bwe kituuka ku bujjanjabi, kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye baagala? (3) Ddembe ki abalwadde lye balina? (4) Lwaki kya magezi okulondawo enzijanjaba endala ezitali za kuteekebwamu musaayi? (5) Omuntu bw’avaamu omusaayi omungi, bintu ki ebibiri abasawo bye basobola okukola mu bwangu ddala? (6) Misingi ki ena egikwata ku nzijanjaba etali ya kukozesa musaayi egirina okugobererwa? (7) Abasawo bayinza batya (a) okukakasa nti omusaayi teguvaamu mungi, (b) okukuuma obutoffaali bw’omusaayi obumyufu nga bulamu, (c) okuyamba omubiri okwongera ku bungi bw’omusaayi ne (d) okuyamba omuntu okuddamu omusaayi? (8) Nnyonnyola enkola eyitibwa (a) hemodilution ne (b) cell salvage. (9) Kiki ky’osaanidde okumanya ku bikwata ku bujjanjabi obutali bwa kuteekebwamu musaayi? (10) Kisoboka okulongoosebwa okw’amaanyi okukolebwa ng’omuntu taweereddwa musaayi? (11) Nkyukakyuka ki ennungi ezigenda mu maaso mu by’ekisawo?
Kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda atendekeddwa Baibuli okukkiriza obumu ku bujjanjabi obulagiddwa mu vidiyo. Omaze okusalawo bujjanjabi ki obutali bwa kuteekebwamu musaayi ggwe n’abaana bo bwe munakkiriza, era n’okujjuzaamu kaadi eyitibwa DPA oba AMD (Advanced Medical Directive)? Okusobola okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba ekitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2000, n’ogwa Noovemba 1, 2000. Oluvannyuma kozesa ebyo ebiri mu kapapula ak’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006, wansi w’omutwe, “Ntwala Ntya Obutundutundu Obuggiddwa mu Musaayi n’Enzijjanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi Gwange?,” okusobola okusalawo nzijjanjabi ki z’onookkiriza n’ezo z’otakkirize. Ng’omaze okukola ekyo, kakasa nti ekyo ky’osazeewo okiraga bulungi ku kaadi yo eyitibwa DPA oba AMD. Ekyo ky’osazeewo osaanidde okukitegeeza abo be wakwasa obuvunaanyizibwa ku by’okukujjanjaba awamu n’ab’omu maka go abatali Bajulirwa.