Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 17
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 17
Oluyimba 77 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 29 ¶8-15 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ezera 1-5 (Ddak. 10)
Na. 1: Ezera 3:1-9 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Abayudaaya Abasinga Obungi Tebakkiriza nti Yesu ye Yali Masiya?—rs-E lup. 211 ¶1-2 (Ddak. 5)
Na. 3: Omwoyo Gudda Gutya eri Katonda?—Mub. 12:7 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango. Yogera ku ebyo Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi guno.
Ddak. 10: Omuganyulo gw’Okuddiŋŋana Ensonga Enkulu mu Buweereza. Kukubaganya birowoozo okwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, lupapula 206-207. Mu bufunze, laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri y’okukozesaamu amagezi agaweereddwa mu kitundu.
Ddak. 20: “Omaze Okusalawo Bujjanjabi Ki bw’Oyagala?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Kozesa ebyo ebiri mu katundu akasooka okwanjula ekitundu ekyo n’ebiri mu katundu akasembayo okufundikira. Kya kukubirizibwa omukadde.
Oluyimba 7 n’Okusaba