Obujjanjabi Obusingayo Obulungi—Bwe Buluwa?
Omusawo omukugu ayitibwa Michael Rose yagamba bw’ati: “Omulwadde yenna alongoosebwa nga taweereddwa musaayi, aba afunye obujjanjabi obusingayo okuba obulungi.” Nkola ki na bintu ki ebikozesebwa mu kifo ky’omusaayi ebiyinza okuzingirwa mu “bujjanjabi obutaliimu kukozesa musaayi”? Weetaaga okubimanya okusobola okusalawo obulungi ku bikwata ku bujjanjabi n’okulongoosebwa. Laba vidiyo eyitibwa No Blood—Medicine Meets the Challenge. Oluvannyuma lw’okugiraba, kozesa ebibuuzo bino osobole okumanya obanga otegedde ebigirimu.—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eno erimu ebitundu ebiraga abalwadde nga balongoosebwa, abazadde basaanidde okukozesa amagezi nga bagiraba n’abaana baabwe abato.
(1) Nsonga ki esinga obukulu eviirako Abajulirwa ba Yakuwa obutakkiriza kuteekebwamu musaayi? (2) Bwe kituuka ku bujjanjabi, kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye baagala? (3) Ddembe ki abalwadde lye balina? (4) Lwaki kya magezi era nga kiraga nti ofaayo ku bulamu bw’olondawo enzijanjaba endala etali ya kuteekebwamu musaayi? (5) Omuntu bw’avaamu omusaayi omungi, bintu ki ebibiri abasawo bye basobola okukola mu bwangu ddala? (6) Misingi ki ena egikwata ku nzijanjaba etali ya kukozesa musaayi egirina okugobererwa? (7) Abasawo bayinza batya (a) okukakasa nti omusaayi teguvaamu mungi, (b) okukuuma obutoffaali bw’omusaayi obumyufu nga bulamu, (c) okuyamba omubiri okwongera ku bungi bw’omusaayi ne (d) okuyamba omuntu okuddamu omusaayi? (8) Nnyonnyola enkola eyitibwa (a) hemodilution ne (b) cell salvage. (9) Kiki ky’osaanidde okumanya ku bikwata ku bujjanjabi obutali bwa kuteekebwamu musaayi? (10) Kisoboka okulongoosebwa okw’amaanyi okukolebwa ng’omuntu taweereddwa musaayi? (11) Bintu ki eby’omuganyulo ebikolebwa kati mu by’ekisawo?
Kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda atendekeddwa Baibuli okukkiriza obumu ku bujjanjabi obulagiddwa mu vidiyo. Omaze okusalawo bujjanjabi ki obutali bwa kuteekebwamu musaayi ggwe n’abaana bo bwe munakkiriza? Ab’omu maka go abatali Bajulirwa nabo osaanidde okubategeeza mu bujjuvu ku kusalawo kwo n’ensonga lwaki osazeewo bw’otyo.—Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Okitobba 15, 2004, n’eya Okitobba 15, 2000.