Ganyulwa mu Vidiyo No Blood—Medicine Meets the Challenge
Olina ky’omanyi ku nzijanjaba ezikozesebwa mu kifo ky’omusaayi? Omanyiyo ezimu ku zo era n’engeri gye zikolamu? Laba vidiyo eno era olabe oba ng’osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga.—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eno erimu ebitundu ebiraga abantu nga balongoosebwa, abazadde bandikozesezza amagezi nga basalawo oba nga kisaanira okugirabira awamu n’abaana baabwe abato.
(1) Nsonga ki enkulu eviirako Abajulirwa ba Yakuwa okugaana omusaayi, era omusingi ogwo gusangibwa wa mu Baibuli? (2) Bujjanjabi bwa ngeri ki bwe twagala? (3) Ddembe ki ery’okwesalirawo omulwadde ly’alina? (4) Lwaki kya magezi omulwadde okugaana okuteekebwamu omusaayi? (5) Singa omuntu aba avaamu omusaayi mungi, bintu ki ebibiri abasawo bye bandikoze mu bwangu? (6) Bizibu ki omuntu by’ayinza okufuna singa ateekebwamu omusaayi? (7) Bintu ki abasawo bye bayinza okukola okutangira omuntu gwe balongoosa okuggwamu omusaayi? (8) Biki bye wandyagadde okumanya ku bikwata ku nzijanjaba ezikozesebwa mu kifo ky’omusaayi? (9) Okulongoosebwa okw’amaanyi kuyinza okukolebwa ng’omuntu tateekeddwamu musaayi? (10) Abasawo beetegefu kukola ki nga bajjanjaba Abajulirwa ba Yakuwa, era nzijanjaba ki gye bayinza okutandika okukozesa ku balwadde bonna?
Kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda oba ng’aneeyambisa emu ku nzijanjaba eziragibwa mu vidiyo eno.—Laba Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2004, emp. 16-18, 29-31, ne Watchtower, aka Okitobba 15, 2000, emp. 30-1.