Oteekwa Okulaba Vidiyo No Blood—Medicine Meets the Challenge
Kiki ky’omanyi ku nzijanjaba eziriwo ez’obutakozesa musaayi? Omanyi ezimu ku nzijanjaba ezo era n’engeri gye zikolamu? Laba vidiyo eno era olabe oba ng’osobola okuddamu ebibuuzo ebiddirira.—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eno erimu ebitundu ebiraga abantu nga balongoosebwa, abazadde bandikozesezza amagezi nga basalawo okugirabira awamu n’abaana baabwe abato.
(1) Nsonga ki esinga obukulu lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bagaana okuteekebwamu omusaayi, era ekyo kisangibwa wa mu Baibuli? (2) Bwe kituuka ku bujjanjabi, kiki kye twagala? (3) Buyinza ki omulwadde bw’alina? (4) Lwaki kya magezi era kya buvunaanyizibwa omulwadde okugaana okuteekebwamu omusaayi? (5) Omuntu bw’aba avaamu omusaayi mungi, bintu ki ebibiri abasawo bye bandikoze amangu ddala? (6) Bizibu ki omuntu by’ayinza okufuna singa ateekebwamu omusaayi? (7) Bintu ki abasawo bye bayinza okukozesa ebiyamba omusaayi obutagenda mungi nnyo nga balongoosa? (8) Kiki kye wandyagadde okutegeezebwa ekikwata ku nzijanjaba ez’obutakozesa musaayi? (9) Okulongoosebwa okw’amaanyi kuyinza okukolebwa ng’omuntu taweereddwa musaayi? (10) Nga bajjanjaba Abajulirwa ba Yakuwa, abasawo bangi baagala kukola ki, era gye bujja nzijanjaba ki eyinza okutandika okukozesebwa?
Awatali kubuusabuusa, kijja kuba kya muganyulo okulaba vidiyo No Blood awamu n’abayizi ba Baibuli, bannaffe mu bufumbo abatali Bajulirwa oba ab’eŋŋanda zaffe, bakozi bannaffe, abasomesa, ne bayizi bannaffe abayinza okubuuza ebibuuzo ebikwata ku kye tulowooza ku musaayi. Kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda oba ng’aneeyambisa emu ku nzijanjaba eziragibwa mu vidiyo eno.—Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower aka Jjuuni 15, ne Okitobba 15, 2000.