ESSOMO 4
Yesu y’Ani?
1. Obulamu bwa Yesu bwatandika butya?
Ngeri ki Yesu ze yalina ezaamuleetera okuba omuntu atuukirikika?—MATAYO 11:29; MAKKO 10:13-16.
Obutafaananako bantu balala, Yesu yali abeera mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo nga tannazaalibwa wano ku nsi. (Yokaana 8:23) Katonda gwe yasooka okutonda, era yayambako mu kutonda ebintu ebirala byonna. Ye yekka Yakuwa kennyini gwe yeetondera era kyava ayitibwa Omwana wa Katonda “eyazaalibwa omu yekka.” (Yokaana 1:14) Yesu yali Mwogezi wa Katonda, eyo ye nsonga lwaki ayitibwa “Kigambo.”—Soma Engero 8:22, 23, 30; Abakkolosaayi 1:15, 16.
2. Lwaki Yesu yajja ku nsi?
Katonda yatuma Omwana we ku nsi ng’ateeka obulamu bwe mu lubuto lwa Maliyamu omuwala Omuyudaaya eyali embeerera. Eyo ye nsonga lwaki Yesu teyalina kitaawe wano ku nsi. (Lukka 1:30-35) Yesu yajja ku nsi (1) okuyigiriza amazima agakwata ku Katonda, (2) okututeerawo ekyokulabirako ku ngeri y’okukola Kitaawe by’ayagala ne bwe tuba mu mbeera enzibu, ne (3) okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde, “ng’ekinunulo.”—Soma Matayo 20:28.
3. Lwaki twetaaga ekinunulo?
Ekinunulo gwe mutango oguweebwayo okununula omuntu aleme kuttibwa. (Okuva 21:29, 30) Tekyali kigendererwa kya Katonda abantu okukaddiwa n’okufa. Ekyo tukimanya tutya? Katonda yagamba Adamu omuntu eyasooka nti bwe yandikoze ekyo Bayibuli ky’eyita “ekibi,” yandifudde. N’olwekyo singa Adamu teyayonoona, teyandifudde. (Olubereberye 2:16, 17; 5:5) Okusinziira ku Bayibuli, okufa ‘kwayingira’ mu nsi okuyitira mu Adamu. Bwe kityo, Adamu yaleetera abaana be bonna ekibi n’okufa. Twetaaga ekinunulo okutusumulula mu kufa kwe twasikira okuva ku Adamu.—Soma Abaruumi 5:12; 6:23.
Ani yandisasudde ekinunulo okutusumulula mu kufa? Bwe tufa, tuba tusasulidde ebibi byaffe. Omuntu atatuukiridde tasobola kusasulira bibi by’abalala.—Soma Zabbuli 49:7-9.
4. Lwaki Yesu yafa?
Okwawukana ku ffe, Yesu yali atuukiridde era teyakola kibi kyonna. N’olwekyo kyali tekimwetaagisa kufa olw’ebibi bye. Wabula yafa olw’ebibi by’abalala. Katonda yalaga abantu okwagala okw’ensusso bwe yatuma Omwana we okutufiirira. Yesu naye yatulaga okwagala bwe yagondera Kitaawe n’awaayo obulamu bwe olw’ebibi byaffe.—Soma Yokaana 3:16; Abaruumi 5:18, 19.
Laba vidiyo Lwaki Yesu Yafa?
5. Kiki Yesu ky’akola kati?
Bwe yali ku nsi, Yesu yawonya abalwadde, yazuukiza abafu, era yayamba abaalina ebizibu. Bw’atyo yalaga ekyo ky’ajja okukolera abantu bonna abawulize mu biseera eby’omu maaso. (Matayo 15:30, 31; Yokaana 5:28) Yesu bwe yafa, Katonda yamuzuukiza ng’omuntu ow’omwoyo. (1 Peetero 3:18) Oluvannyuma Yesu yatuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo n’alindirira okutuusa Yakuwa lwe yandimuwadde obuyinza okufuga ensi yonna nga Kabaka. (Abebbulaniya 10:12, 13) Kaakano Yesu afuga nga Kabaka mu ggulu, era abagoberezi be balangirira amawulire amalungi mu nsi yonna.—Soma Danyeri 7:13, 14; Matayo 24:14.
Mu kiseera ekitali kya wala Yesu agenda kukozesa obuyinza bwe nga Kabaka okuggyawo okubonaabona kwonna n’abo abakuleeta. Bonna abakkiririza mu Yesu era abamugondera bajja kunyumirwa obulamu mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—Soma Zabbuli 37:9-11.