LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 4/1 lup. 24-25
  • Yesu Kristo y’Ani?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Kristo y’Ani?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Similar Material
  • Yesu y’Ani?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Ekinunulo—Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo Katonda Kye Yatuwa
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Okufa kwa Yesu Kutuganyula Kutya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 4/1 lup. 24-25

Yiga Okuva Mu Kigambo Kya Katonda

Yesu Kristo y’Ani?

Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya ebirowoozo naawe ku by’okuddamu bino.

1. Yesu Kristo y’ani?

Okwawukana ku muntu omulala yenna, Yesu yali abeera mu ggulu ng’omuntu ow’omwoyo nga tannaba kuzaalibwa wano ku nsi. (Yokaana 8:23) Ye yali ekitonde kya Katonda ekyasooka, era yamuyambako mu kutonda ebintu ebirala byonna. Ye yekka Yakuwa gwe yeetondera kennyini era kyava ayitibwa omwana wa Katonda ‘eyazaalibwa omu yekka.’ Yesu ye yali Omwogezi wa Katonda, eyo ye nsonga lwaki era ayitibwa “Kigambo.”​—Yokaana 1:1-3, 14; soma Engero 8:22, 23, 30; Abakkolosaayi 1:15, 16.

2. Lwaki Yesu yajja ku nsi?

Katonda yatuma Omwana we ku nsi ng’ateeka obulamu bwe mu lubuto lw’omuwala omuyudaaya eyali embeerera ayitibwa Maliyamu. Eyo y’ensonga lwaki Yesu teyalina kitaawe muntu. (Lukka 1:30-35) Yesu yajja ku nsi (1) okuyigiriza abantu amazima agakwata ku Katonda, (2) okututeerawo ekyokulabirako ku ngeri y’okukolamu Katonda by’ayagala, ne (3) okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde “ng’ekinunulo.”​—Soma Matayo 20:28; Yokaana 18:37.

3. Lwaki twetaaga ekinunulo?

Ekinunulo gwe mutango oguweebwayo okununula omuntu okuva mu busibe. Ekigendererwa kya Katonda eri abantu tekyali nti abantu baali ba kufa oba okukaddiwa. Ekyo tukimanya tutya? Katonda yagamba omuntu eyasooka Adamu, nti singa akola ekyo Bayibuli ky’eyita ekibi yandifudde. Singa Adamu teyayonoona, teyandifudde. Wadde nga Adamu yamala ebyasa ebiwerako nga mulamu, yatandika okufa okuva ku lunaku lwe yajeemera Katonda. (Olubereberye 2:16, 17; 5:5) Adamu yasikiza abaana be bonna ekibi n’empeera yaakyo, okufa. Bwe kityo, ekibi “kyayingira” mu nsi okuyitira mu Adamu. Eyo y’ensonga lwaki twetaaga ekinunulo.​—Soma Abaruumi 5:12; 6:23.

4. Lwaki Yesu yafa?

Ani eyandisasudde ekinunulo okutusumulula okuva mu kufa? Bwe tufa, tuba tusasulidde bibi byaffe byokka. Teri muntu atatuukiridde asobola kusasulira bibi by’abalala.​—Soma Zabbuli 49:7-9.

Okuva bwe kiri nti Yesu teyasikira butali butuukirivu olw’okuba teyalina kitaawe nga muntu, yafa si lwa bibi bye wabula olw’ebibi by’abalala. Katonda yatuma Omwana we okutufiirira olw’okwagala okw’ensusso kw’alina eri abantu. Yesu naye yatulaga okwagala ng’agondera Kitaawe era ng’awaayo obulamu bwe ku lw’ebibi byaffe.​—Soma Yokaana 3:16; Abaruumi 5:18, 19.

5. Kiki Yesu ky’akola kati?

Bwe yawonya abalwadde, n’azuukiza abafu, era n’ayamba abo abaalina ebizibu, Yesu yalaga ekyo ky’ajja okukolera abantu bonna abawulize mu biseera eby’omu maaso. (Lukka 18:35-42; Yokaana 5:28, 29) Yesu bwe yafa, Katonda yamuzuukiza ng’omuntu ow’omwoyo. (1 Peetero 3:18) Oluvannyuma Yesu yatuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo ng’alindirira okutuusa Yakuwa lwe yamuwa obuyinza okufuga ensi yonna nga Kabaka. (Abebbulaniya 10:12, 13) Mu kiseera kino Yesu afuga nga Kabaka mu ggulu, era abagoberezi be abali ku nsi balangirira amawulire ago amalungi mu nsi yonna.​—Soma Danyeri 7:13, 14; Matayo 24:14.

Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kukozesa obuyinza bwe nga Kabaka okuggyawo okubonaabona kwonna n’abo abakuleeta. Obukadde n’obukadde bw’abantu abakkiririza mu Yesu era abamugondera bajja kunyumirwa obulamu mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi.​—Soma Zabbuli 37:9-11.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 4 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Obukadde n’obukadde bw’abantu abakkiririza mu Yesu era abamugondera bajja kunyumirwa obulamu mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share