LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • fg essomo 15 kib. 1-4
  • Lwaki Wandyeyongedde Okumanya Ebisingawo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Wandyeyongedde Okumanya Ebisingawo?
  • Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Similar Material
  • Obulamu Obusingayo Okuba obw’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • “Okusemberera Katonda Kirungi” Gye Tuli!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Oyinza Otya Okusemberera Katonda?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
fg essomo 15 kib. 1-4

ESSOMO 15

Lwaki Wandyeyongedde Okumanya Ebisingawo?

1. Onooganyulwa otya bw’oneeyongera okusoma Bayibuli?

Abakazi babiri nga basoma Bayibuli mu kiseera eky’okuwummulamu ku mulimu

Awatali kubuusabuusa, ebintu ebitonotono by’oyize mu Bayibuli bikuleetedde okwagala Yakuwa. Naye olina okukola kyonna ekisoboka okulaba nti okwagala okwo kweyongera. (1 Peetero 2:2) Ojja kufuna obulamu obutaggwaawo bw’oneeyongera okusemberera Katonda ng’osoma Ekigambo kye.​— Soma Yokaana 17:3; Yuda 21.

Bw’oneeyongera okumanya Katonda, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera. Okukkiriza kujja kukusobozesa okusanyusa Katonda. (Abebbulaniya 11:1, 6) Kujja kukuleetera okwenenya n’okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwo.​—Soma Ebikolwa 3:19.

2. By’oyize ku Katonda binaaganyula bitya abalala?

Omukazi ng’asaba Katonda

Osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa

Awatali kubuusabuusa ojja kubuulirako abalala by’oyize. Ffenna twagala nnyo okubuulirako abalala amawulire amalungi. Bw’oneeyongera okuyiga Bayibuli, ojja kuyiga engeri y’okugikozesaamu okunnyonnyola abalala ensonga lwaki okkiririza mu Yakuwa era n’okubabuulira amawulire amalungi.​—Soma Abaruumi 10:13, 15.

Abantu abasinga obungi bwe baba batandika okubuulira, basookera ku mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe. Naye bw’oba obuulira beera mwegendereza. Mu kifo ky’okubagamba nti enzikiriza zaabwe nkyamu, babuulire ku bisuubizo bya Katonda. Era kijjukire nti abantu bakwatibwako nnyo enneeyisa yo okusinga by’oyogera.​—Soma 2 Timoseewo 2:24, 25.

3. Onooba na nkolagana ki ne Katonda?

Okusoma Ekigambo kya Katonda kijja kukuyamba okukula mu by’omwoyo. Ojja kuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Era ojja kuba omu ku bantu be.​—Soma 2 Abakkolinso 6:18.

4. Oyinza otya okweyongera okukulaakulana?

Osobola okukula mu by’omwoyo nga weeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda. (Abebbulaniya 5:13, 14) Saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akuyigirize Bayibuli ng’akozesa akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? Bw’oneeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda, obulamu bwo bujja kweyongera okuba obulungi.​—Soma Zabbuli 1:1-3; 73:27, 28.

Abajulirwa ba Yakuwa nga balaga engeri y’okusomamu Bayibuli

Amawulire amalungi gava eri Yakuwa, Katonda omusanyufu. Osobola okumusemberera ng’okuŋŋaana wamu n’abantu be. (Abebbulaniya 10:24, 25) Bw’oneeyongera okukola Yakuwa by’ayagala, ojja kuba oluubirira obulamu obwa namaddala​—obulamu obutaggwaawo. Okusemberera Katonda kye kintu ekisingayo obulungi ky’oyinza okukola.​—Soma 1 Timoseewo 1:11; 6:19.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 18 mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share