EKITUNDU EKY’OKUSOMA 15
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
“Okusemberera Katonda Kirungi” Gye Tuli!
“Okusemberera Katonda kirungi gye ndi.”—ZAB. 73:28.
EKIGENDERERWA
Bye tusobola okukola okusemberera Yakuwa, n’emiganyulo egivaamu.
1-2. (a) Biki bye tulina okukola omuntu okufuuka mukwano gwaffe ow’oku lusegere? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
OLINAYO mukwano gwo ow’oku lusegere? Mwatuuka mutya okuba ab’omukwano? Oboolyawo wabeerako naye okumala ekiseera n’omanya by’ayiseemu mu bulamu, n’ebintu by’ayagala ne by’atayagala. Wakiraba nti alina engeri ennungi naawe z’oyagala okumukoppako. Wawulira ng’omwagala era yafuuka mukwano gwo.
2 Okusobola okuba mukwano gw’omuntu, kitwala ekiseera era kyetaagisa okufuba. Bwe kityo bwe kiri bwe kituuka ku kuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okusemberera Katonda waffe era n’emiganyulo egivaamu. Kati ka tusooke tulabe ensonga lwaki kirungi okusemberera Yakuwa, mukwano gwaffe asingayo.
3. Lwaki tusaanidde kufumiitiriza ku miganyulo egiri mu kusemberera Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.
3 Kikulu okufumiitiriza ku nsonga lwaki okusemberera Yakuwa kya muganyulo gye tuli. (Zab. 63:6-8) Lwaki tugamba bwe tutyo? Lowooza ku kyokulabirako kino. Tukimanyi nti okulya emmere erimu ekiriisa, okukola dduyiro, okuwummula ekimala, n’okunywa amazzi agamala, bituyamba okuba abalamu obulungi. Wadde kiri kityo, bangi balagajjalira okukola ebintu ebyo era kibaviirako obutaba balamu bulungi. Naye bwe tulowooza ku miganyulo egiri mu kukola ebintu ebyo, kitukubiriza okubikola. Mu ngeri y’emu, tukimanyi nti kirungi okusemberera Yakuwa, naye bwe tufumiitiriza ku miganyulo egiri mu kumusemberera, kitukubiriza okweyongera okumusemberera.—Zab. 119:27-30.
4. Kiki omuwandiisi wa zabbuli kye yayogera mu Zabbuli 73:28?
4 Soma Zabbuli 73:28. Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yali Muleevi era yali omu ku abo abaalondebwa okuyimbanga ku yeekaalu. Kirabika yali amaze ekiseera ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa. Naye yali akimanyi nti kikulu okukijjukiranga nti “okusemberera Katonda” kirungi gy’ali, era yali ayagala n’abalala bakimanye nti kirungi gye bali. Lwaki kirungi okweyongera okusemberera Yakuwa?
“OKUSEMBERERA KATONDA” KIREETA ESSANYU
5. (a) Lwaki okusemberera Yakuwa kireeta essanyu? (b) Amagezi Yakuwa g’atuwa gakuyambye gatya era gakukuumye gatya? (Engero 2:6-16)
5 Gye tukoma okusemberera Katonda gye tukoma okuba abasanyufu. (Zab. 65:4) Waliwo ensonga eziwerako lwaki tugamba bwe tutyo. Ng’ekyokulabirako, tuganyulwa nnyo bwe tukolera ku magezi agali mu Bayibuli. Amagezi ago gatukuuma ne tutatuukibwako bintu ebiyinza okuba eby’obulabe gye tuli, era gatuyamba okwewala okukola ensobi ez’amaanyi. (Soma Engero 2:6-16.) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti: “Alina essanyu oyo afuna amagezi, n’oyo afuna okutegeera.”—Nge. 3:13.
6. Kiki ekyaleetera omuwandiisi wa zabbuli okuggweebwako essanyu?
6 Kya lwatu, mikwano gya Yakuwa nabo oluusi baggweebwako essanyu. Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yaggweebwako essanyu bwe yatandika okulowooza ku bintu ebimalamu amaanyi. Yatandika okulowooza nti abantu ababi baali mu bulamu bulungi wadde nga baali tebagondera Katonda, era ekyo kyamuviirako okusunguwala n’okubakwatirwa obuggya. Yatuuka n’okulowooza nti abantu abeenyigira mu bikolwa eby’obukambwe era ab’amalala, bulijjo baba na buli kimu kye beetaaga, baba balamu bulungi, era tebabonaabona. (Zab. 73:3-7, 12) Omuwandiisi wa zabbuli oyo yawulira bubi nnyo, n’atuuka n’okwebuuza obanga kya muganyulo okuweereza Yakuwa. Yagamba nti: “Mazima nteganidde bwereere okukuuma omutima gwange nga mulongoofu, era ne nnaaba engalo zange okulaga nti siriiko musango.”—Zab. 73:13.
7. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tuwulira nti tetukyalina ssanyu? (Laba ku ddiba.)
7 Wadde ng’omuwandiisi wa zabbuli yali awulira nga takyalina ssanyu, alina kye yakolawo okutereeza endowooza ye. Yayingira “mu kifo kya Katonda ekitukuvu eky’ekitiibwa,” era ng’ali eyo Yakuwa yamuyamba okutereeza endowooza ye. (Zab. 73:17-19) Bwe tuba nga tetukyalina ssanyu, Yakuwa mukwano gwaffe asingayo aba akimanyi. Bwe tumusaba okutuwa obulagirizi era ne tukkiriza obuyambi bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye, atuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okweyongera okumuweereza ne bwe tuba nga tuli banakuwavu. Ne bwe tuba nga tweraliikirira nnyo, Yakuwa atubudaabuda era atuyamba okukkakkana.—Zab. 94:19.a
Omuleevi eyawandiika Zabbuli 73, ayimiridde “mu kifo kya Katonda ekitukuvu eky’ekitiibwa” (Laba akatundu 7)
“OKUSEMBERERA KATONDA” KITUYAMBA OKUBA N’OBULAMU OBW’AMAKULU ERA N’ESSUUBI
8. Mu ngeri ki endala gye tuganyulwa mu kusemberera Katonda?
8 Okusemberera Katonda kituganyula mu ngeri endala bbiri. Esooka, kituyamba okuba n’obulamu obw’amakulu. Ey’okubiri, kituyamba okuba n’essuubi erinywevu erikwata ku biseera eby’omu maaso. (Yer. 29:11) Kati ka twekenneenye emiganyulo egyo.
9. Okusemberera Katonda kituyamba kitya okuba n’obulamu obw’amakulu?
9 Okusemberera Yakuwa kituyamba okuba n’obulamu obw’amakulu. Bangi leero abatakkiriza nti Katonda gy’ali, balowooza nti obulamu tebulina makulu era nti ekiseera kijja kutuuka abantu bonna basaanewo. Naye ebyo bye tusomye mu Bayibuli bituyambye okuba abakakafu nti “[Katonda] gyali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.” (Beb. 11:6) Ne mu kiseera kino tuli basanyufu kubanga tukola ekyo ekyatutonderwa, kwe kugamba, tuweereza Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu.—Ma. 10:12, 13.
10. Kiki Yakuwa ky’asuubiza abo abamwesiga? (Zabbuli 37:29)
10 Abantu bangi leero tebalina ssuubi likwata ku biseera eby’omu maaso. Beemalidde ku kukola, ku kuwasa n’okufumbirwa, ku kukuza abaana, n’okwetegekera ebiseera byabwe eby’obukadde. Tebamanyi bintu birungi Katonda bye yasuubiza okukolera abantu mu biseera eby’omu maaso. Naye ffe tukimanyi nti Yakuwa alabirira abaweereza be. (Zab. 25:3-5; 1 Tim. 6:17) Twesiga Katonda waffe era mukwano gwaffe. Era tukimanyi nti ajja kutuukiriza ebyo bye yasuubiza. Ekimu ku bintu bye twesunga ennyo mu biseera eby’omu maaso kwe kusinza Katonda emirembe gyonna mu lusuku lwe.—Soma Zabbuli 37:29.
11. Bwe tusemberera Yakuwa tuwulira tutya, era naye awulira atya?
11 Waliwo emiganyulo emirala mingi egiva mu kusemberera Katonda. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa atusuubiza okutusonyiwa ebibi byaffe bwe twenenya. (Is. 1:18) Ekyo kituyamba obutalumirizibwa muntu waffe ow’omunda olw’ebibi bye twakola mu biseera eby’emabega. (Zab. 32:1-5) Ate era bwe tusemberera Yakuwa tufuna essanyu era naye asanyuka. (Nge. 23:15) Kya lwatu, waliwo ebirungi ebirala bingi bye tufuna mu kuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okweyongera okusemberera Yakuwa?
ENGERI GYE TUYINZA OKWEYONGERA “OKUSEMBERERA KATONDA”
12. Biki by’okoze okusobola okweyongera okusemberera Katonda?
12 Bwe wali nga tonnabatizibwa, olina ebintu bingi bye wakola okusobola okusemberera Yakuwa. Wayiga ebintu bingi ebikwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo, weenenya ebibi byo, wakyoleka nti okkiririza mu Katonda, era wafuba okukolera ku ebyo bye wali oyiga. Kyokka okusobola okweyongera okusemberera Katonda, olina okweyongera okukola ebintu ebyo.—Bak. 2:6.
13. Bintu ki ebisatu ebisobola okutuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa?
13 Biki ebinaatuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa? (1) Tulina okweyongera okwesomesa Bayibuli. Bwe tuba tugisoma, tetulina kukoma ku kumanya bumanya ebikwata ku Katonda. Tulina n’okufuba okumanya Katonda ky’ayagala tukole, n’okukolera ku misingi egiri mu Kigambo kye. (Bef. 5:15-17) (2) Tulina okunyweza okukkiriza kwaffe nga tufumiitiriza ku bukakafu obulaga nti atwagala. (3) Tulina okweyongera okukyawa ebintu Yakuwa by’akyawa n’okwewala okukola omukwano n’abo ababikola.—Zab. 1:1; 101:3.
14. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 10:31, ebimu ku bintu bye tusaanidde okukola okusanyusa Yakuwa bye biruwa? (Laba n’ebifaananyi.)
14 Soma 1 Abakkolinso 10:31. Kikulu nnyo okukola ebintu bye tumanyi nti bisanyusa Yakuwa. Ebintu ebyo tebikoma ku kubuulira na kubangawo mu nkuŋŋaana. Ebintu ebisanyusa Yakuwa bizingiramu n’ebyo bye tukola mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba abeesigwa mu bintu byonna era ne tugabana n’abalala bye tulina, kisanyusa nnyo Yakuwa. (2 Kol. 8:21; 9:7) Ate era Yakuwa ayagala tukirage nti tussa ekitiibwa mu bulamu. N’olwekyo, tusaanidde okufaayo ku ebyo bye tulya, bye tunywa, n’ebintu ebirala ebituyamba okuba abalamu obulungi. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okweyongera okusemberera Yakuwa eyatuwa obulamu. Byonna bye tukola okusanyusa Yakuwa, ka bibe bitono bitya, bimuleetera okweyongera okutwagala.—Luk. 16:10.
Okuvuga ebidduka n’obwegendereza, okufaayo ku mibiri gyaffe nga tukola dduyiro era nga tulya emmere erimu ekiriisa, n’okukolera abalala ebirungi, bye bimu ku bintu ebisanyusa Yakuwa (Laba akatundu 14)
15. Yakuwa ayagala tuyise tutya abalala?
15 Yakuwa alaga ekisa abantu abatuukirivu n’abatali batuukirivu. (Mat. 5:45) Naffe atusuubira okukola kye kimu. Ng’ekyokulabirako, tetulina ‘kwogera bubi ku muntu yenna,’ tetulina ‘kuba bayombi,’ era tulina okuba ‘abakkakkamu eri abantu bonna.’ (Tit. 3:2) N’olwekyo, tetusaanidde kunyooma balala olw’okuba tebasinza Yakuwa. (2 Tim. 2:23-25) Bwe tulaga abantu bonna ekisa era ne tubafaako, tweyongera okusemberera Yakuwa.
TUSOBOLA “OKUSEMBERERA KATONDA NE BWE TUBA NGA TUKOZE ENSOBI
16. Oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’aweereza Yakuwa, omuwandiisi wa Zabbuli 73 yatandika kuwulira atya?
16 Naye watya singa otandika okuwulira nti Yakuwa takyakwagala olw’ensobi gye wakola? Nga bwe tulabye, n’omuwandiisi wa Zabbuli 73 yaliko mu mbeera bw’etyo. Yagamba nti: “Ebigere byange byabulako katono okuwaba; ebigere byange byali binaatera okuseerera.” (Zab. 73:2) Ate era yagamba nti ‘teyali musanyufu,’ ‘yali musirusiru,’ era nti mu maaso ga Yakuwa yali “ng’ensolo etalina magezi.” (Zab. 73:21, 22) Naye yakitwala nti olw’ensobi ze yakola Yakuwa yali takyamwagala era nti yali tasobola kumusonyiwa?
17. (a) Kiki omuwandiisi wa zabbuli kye yakola bwe yali awulira ng’aweddemu amaanyi? (b) Kiki kye tumuyigirako? (Laba n’ebifaananyi.)
17 Bwe kiba nti omuwandiisi wa zabbuli yali awulira nti Yakuwa takyamwagala, ateekwa okuba nga teyamala kiseera kiwanvu ng’awulira bw’atyo. Ne bwe yali awulira bubi nnyo, yali akimanyi nti yalina okusemberera Katonda. Yagamba nti: “Naye kaakano ndi naawe buli kiseera; onkutte ku mukono ogwa ddyo. Ompa amagezi n’onnuŋŋamya, era oluvannyuma ojja kuntuusa mu kitiibwa.” (Zab. 73:23, 24) Naffe tusaanidde okusaba Yakuwa okutuzzaamu amaanyi bwe tuwulira ng’okukkiriza kwaffe kunafuye oba nga tuweddemu amaanyi olw’ensobi ze tuba tukoze. (Zab. 73:26; 94:18) Ne bwe tuba nga tukoze ensobi ez’amaanyi, tusaanidde okudda eri Yakuwa nga tuli bakakafu nti “mwetegefu okusonyiwa.” (Zab. 86:5) Tusaanidde okweyongera okusemberera Yakuwa naddala bwe tuba nga tuweddemu nnyo amaanyi.—Zab. 103:13, 14.
Bwe tuwulira nga tunafuye mu by’omwoyo, tusaanidde okweyongera okusemberera Yakuwa nga tumusaba era nga tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa (Laba akatundu 17)
“OKUSEMBERERA KATONDA” EMIREMBE GYONNA
18. Lwaki okusemberera Yakuwa tekuliiko kkomo?
18 Okusemberera Yakuwa n’okumanya ebimukwatako, tebiriiko kkomo. Bayibuli egamba nti amakubo ga Yakuwa, amagezi ge, n’okumanya kwe ‘tetusobola kubitegeera ne tubimalayo.’—Bar. 11:33.
19. Ebyo ebiri mu Zabbuli bituyamba kuba bakakafu ku ki?
19 Zabbuli 79:13 wagamba nti: “Ffe abantu bo era endiga z’omu ddundiro lyo, tunaakwebazanga emirembe gyonna; era tunaalangiriranga ettendo lyo emirembe n’emirembe.” Naawe bw’oneeyongera okusemberera Katonda, ba mukakafu nti ojja kufuna emikisa egy’olubeerera era ojja kugamba nti: “Katonda lwe lwazi lw’omutima gwange era ye gwe mugabo gwange emirembe n’emirembe.”—Zab. 73:26.
OLUYIMBA 32 Nywerera ku Yakuwa!
a Abamu abamala ekiseera ekiwanvu nga banakuwavu oba nga beeraliikirivu, bayinza okwetaaga okufuna obujjanjabi. Okumanya ebisingawo, laba Omunaala gw’Omukuumi, Na. 1 2023.