EKITUNDU EKY’OKUSOMA 16
OLUYIMBA 87 Jjangu Ozzibwemu Amaanyi
Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Bakkiriza Bannaffe Kituganyula!
“Laba! Nga kirungi era nga kisanyusa ab’oluganda okubeera awamu nga bali bumu!”—ZAB. 133:1.
EKIGENDERERWA
Bye tusobola okukola okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe era n’emikisa gye tufuna.
1-2. Kintu ki Yakuwa ky’atwala nga kikulu, era kiki ky’ayagala tukole?
EKIMU ku bintu Yakuwa by’atwala nga bikulu nnyo ye ngeri gye tuyisaamu abalala. Yesu yagamba nti tulina okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala. (Mat. 22:37-39) Ekyo kizingiramu okulaga ekisa n’abantu abataweereza Yakuwa. Bwe tulaga abalala ekisa tuba tukoppa Yakuwa. Bayibuli egamba nti: “Omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Mat. 5:45.
2 Wadde nga Yakuwa ayagala abantu bonna, okusingira ddala ayagala nnyo abo abamugondera. (Yok. 14:21) Ayagala naffe tumukoppe. Atukubiriza ‘okwagala ennyo’ bakkiriza bannaffe. (1 Peet. 4:8; Bar. 12:10) Okwagala ng’okwo kufaananako n’okwo kwe tuba nakwo eri omuntu gwe tulinako oluganda, oba eri mukwano gwaffe ow’oku lusegere.
3. Okwagala kufaananako kutya ekimera?
3 Nga bwe twetaaga okulabirira ekimera kye tuba tusimbye mu nnimiro okusobola okukula, twetaaga okufuba ennyo okwagala kwe tulina eri abalala okusobola okweyongera. Omutume Pawulo yagamba bakkiriza banne nti: “Mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda.” (Beb. 13:1) Yakuwa ayagala tweyongere okukulaakulanya okwagala kwe tulina eri abalala. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe, era n’engeri gye tuyinza okweyongera okukikolamu.
ENSONGA LWAKI TUSAANIDDE OKWEYONGERA OKUBA N’ENKOLAGANA ENNUNGI N’ABALALA
4. Nga bwe kiragibwa Zabbuli 133:1, tuyinza tutya okweyongera okusiima obumu bwe tulina mu kibiina? (Laba n’ebifaananyi.)
4 Soma Zabbuli 133:1. Tukkiriziganya n’ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti okuba n’enkolagana ennungi n’abo abaagala Yakuwa “kirungi” era “kisanyusa.” Naye okufaananako omuntu ayita ku muti ogulabika obulungi buli lunaku n’atalaba bulungi bwagwo, naffe obumu bwe tulina ng’abaweereza ba Yakuwa tuyinza obutabutwala ng’ekikulu. Bakkiriza bannaffe tutera okubalaba oboolyawo emirundi egiwerako mu wiiki. Tuyinza tutya okweyongera okubatwala nga ba muwendo? Okwagala kwe tulina eri baganda baffe kujja kweyongera bwe tunaafumiitiriza ku mugaso buli omu gw’alina gye tuli n’eri ekibiina.
Obumu bwe tulina ng’Abakristaayo tusaanidde okubutwala nga bukulu (Laba akatundu 4)
5. Abalala bwe balaba okwagala kwe tulagaŋŋana bakwatibwako batya?
5 Abamu ku bantu abajja mu nkuŋŋaana zaffe omulundi ogusooka bakwatibwako nnyo olw’okwagala kwe tulagaŋŋana. Ekyo kyokka kiyinza okubaleetera okukiraba nti bazudde amazima. Yesu yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:35) Lowooza ku Chaithra, omuyizi ku yunivasite emu eyali ayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Yayitibwa okubaawo ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olw’Abajulirwa ba Yakuwa era n’ajja. Olunaku olusooka olw’olukuŋŋaana olwo bwe lwaggwa, yagamba oyo eyali amuyigiriza Bayibuli nti: “Bazadde bange tebangwangako mu kifuba. Naye ku lukuŋŋaana lwammwe, abantu 52 bangudde mu kifuba mu lunaku lumu lwokka! Nnawulidde nga Yakuwa andaga okwagala kwe okuyitira mu bantu be. Nange njagala okuba omu ku bo.” Chaithra yeeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo era mu 2024 yabatizibwa. Mazima ddala abapya bwe balaba ebintu ebirungi bye tukola, omuli n’okwagala kwe tulagaŋŋana, emirundi mingi bakwatibwako ne batandika okuweereza Yakuwa.—Mat. 5:16.
6. Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe kitukuuma kitya?
6 Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe kya bukuumi gye tuli. Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Buli omu abuulirirenga munne buli lunaku . . . waleme kubaawo akakanyala olw’obulimba bw’amaanyi g’ekibi.” (Beb. 3:13) Bwe tuggwaamu amaanyi era ne tutandika okuwaba okuva mu kkubo ery’obutuukirivu, Yakuwa ayinza okukozesa mukkiriza munnaffe okutuwa obuyambi bwe twetaaga. (Zab. 73:2, 17, 23) Obuyambi ng’obwo ddala tubwetaaga.
7. Kakwate ki akaliwo wakati w’okwagala n’obumu? (Abakkolosaayi 3:13, 14)
7 Tuli mu kibiina ekirimu abantu abafuba ennyo okulagaŋŋana okwagala, era tufuna emikisa mingi. (1 Yok. 4:11) Ng’ekyokulabirako, okwagala kutuleetera ‘okweyongera okugumiikirizigana,’ era ekyo kituleetera okuba obumu. (Soma Abakkolosaayi 3:13, 14; Bef. 4:2-6) N’olwekyo, bwe tubeera awamu ne bakkiriza bannaffe mu nkuŋŋaana tuba n’emirembe egitasangibwa walala wonna.
BULI OMU AWE MUNNE EKITIIBWA
8. Yakuwa atuyamba atya okuba obumu?
8 Obumu bwe tulina ne bakkiriza bannaffe mu nsi yonna ddala kyamagero. Yakuwa atusobozesa okuba obumu wadde nga tetutuukiridde. (1 Kol. 12:25) Bayibuli egamba nti: “Katonda abayigiriza okwagalana.” (1 Bas. 4:9) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa akozesa Ebyawandiikibwa okutubuulira ekyo kye tusaanidde okukola okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abalala. Bwe tusoma ebyo ebiri mu Bayibuli era ne tubikolerako, ‘Katonda aba atuyigiriza.’ (Beb. 4:12; Yak. 1:25) Era ekyo kyennyini Abajulirwa ba Yakuwa kye bafuba okukola.
9. Abaruumi 12:9-13 watuyigiriza ki ku kuwaŋŋana ekitiibwa?
9 Bayibuli etuyamba etya okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abalala? Lowooza ku ekyo Pawulo kye yayogera ku nsonga eno mu Abaruumi 12:9-13. (Soma.) Weetegereze, Pawulo yagamba nti: “Mu kuwaŋŋana ekitiibwa mmwe muba musooka.” Yali ategeeza ki? Ffe tulina okusooka okukiraga nti twagala abalala nga tukola ebintu gamba ng’okusonyiwa bannaffe, okusembeza abalala, n’okuba abagabi. (Bef. 4:32) Mu kifo ky’okulinda mukkiriza munno okussaawo enkolagana ey’oku lusegere naawe, ‘ggwe oba osooka’ okugissaawo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kulaba obutuufu bw’ebigambo bya Yesu bino ebigamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Bik. 20:35.
10. Tuyinza tutya okukiraga nti tetuli bagayaavu bwe kituuka ku “kuwaŋŋana ekitiibwa”? (Laba n’ekifaananyi.)
10 Ate era weetegereze nti amangu ddala nga yaakamala okutukubiriza okuwaŋŋana ekitiibwa, Pawulo yagamba nti: “Temuba bagayaavu, wabula mubeerenga bakozi nnyo.” Omuntu omukozi aba munyiikivu era akola n’omutima gwe gwonna. Bw’abaako omulimu gw’aweereddwa, afuba okugukola obulungi. Engero 3:27, 28 wagamba nti: “Tommanga kirungi abo b’ogwanidde okukiwa, bw’oba ng’osobola okubayamba.” N’olwekyo, bwe tulaba omuntu eyeetaaga obuyambi, tusaanidde okubaako kye tukolawo okumuyamba. Tetusaanidde kulinda oba okulowooza nti omuntu omulala ajja kumuyamba.—1 Yok. 3:17, 18.
Tusaanidde okubaako kye tukolawo okuyamba bakkiriza bannaffe abali mu bwetaavu (Laba akatundu 10)
11. Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abalala?
11 Engeri endala gye tulagamu nti tuwaŋŋana ekitiibwa kwe kwanguwa okusonyiwa abo ababa bakoze ebitulumya. Abeefeso 4:26 wagamba nti: “Enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu.” Lwaki? Olunyiriri 27 lugamba nti bwe tukola bwe tutyo tuba ‘tetuwa Mulyolyomi kakisa konna.’ Mu Bayibuli enfunda n’enfunda Yakuwa atukubiriza okusonyiwagana. Abakkolosaayi 3:13 wagamba nti: ‘Mweyongere okusonyiwagananga.’ Ekimu ku bintu ebisinga okutuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abalala kwe kubasonyiwa nga bakoze ebitulumya. Bwe tukola bwe tutyo, tuyambako mu ‘kukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe egitugatta.’ (Bef. 4:3) Kyeyoleka lwatu nti okusonyiwa abalala kireetawo obumu n’emirembe.
12. Yakuwa atuyamba atya okusonyiwa abalala?
12 Kyo kituufu kiyinza obutatubeerera kyangu okusonyiwa abo aba bakoze ebintu ebitulumya. Naye omwoyo gwa Katonda omutukuvu gusobola okutuyamba ne tubasonyiwa. Oluvannyuma lwa Pawulo okutukubiriza ‘okwagalana ennyo’ ‘n’okubeeranga abakozi ennyo,’ yagamba nti: “Omwoyo ka gubaleetere okuba abanyiikivu.” Ekyo kitegeeza nti omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okuba abanyiikivu ennyo era n’okukola ebintu n’essanyu. (Bar. 12:11) N’olwekyo omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okwagala abalala era n’okubasonyira ddala. Eyo y’ensonga lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe.—Luk. 11:13.
“WALEME KUBAAWO NJAWUKANA MU MMWE”
13. Kiki ekisobola okuleetawo enjawukana mu kibiina?
13 Ekibiina kya Yakuwa kirimu “abantu aba buli ngeri,” era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo. (1 Tim. 2:3, 4) N’olwekyo buli omu ku ffe asalawo mu ngeri ya njawulo ku bintu gamba ng’ennyambala n’okwekolako, eby’obujjanjjabi, n’eby’okwesanyusaamu. Bwe tuteegendereza ebintu ebyo biyinza okuleetawo enjawukana. (Bar. 14:4; 1 Kol. 1:10) Olw’okuba Katonda atuyigiriza okwagalana, tetusaanidde kukitwala nti ebyo bye tusalawo bisinga eby’abalala.—Baf. 2:3.
14. Kiki kye tusaanidde okufuba okukola, era lwaki?
14 Ate era tusaanidde okwewala enjawukana mu kibiina nga tufuba okuzimba abalala n’okubazzaamu amaanyi ekiseera kyonna. (1 Bas. 5:11) Gye buvuddeko awo, abantu bangi nnyo abaali baggwaamu amaanyi mu by’omwoyo n’abo abaali baggibwa mu kibiina, bakomyewo mu kibiina! Abali ng’abo tusaanidde okubaaniriza n’essanyu. (2 Kol. 2:8) Lowooza ku mwannyinaffe eyali amaze emyaka 10 ng’aweddemu amaanyi, eyajja mu nkuŋŋaana ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Agamba nti: “Buli omu yanteerako akamwenyumwenyu era yankwata mu ngalo ng’annyaniriza.” (Bik. 3:19) Ekyo ab’oluganda kye baakola kyamukwatako nnyo. Agamba nti: “Nnawulira nti Yakuwa yali annyamba okuddamu okuba omusanyufu.” Bwe tuba nga tufuba okuzzaamu abalala amaanyi, Kristo asobola okutukozesa okuyamba abo “abategana era abazitoowereddwa” okufuna obuweerero.—Mat. 11:28, 29.
15. Kiki ekirala kye tusobola okukola okutumbula obumu mu kibiina? (Laba n’ekifaananyi.)
15 Engeri endala gye tutumbulamu obumu mu kibiina kwe kuyitira mu ebyo bye twogera. Yobu 12:11 wagamba nti: “Okutu tekugezesa bigambo ng’olulimi bwe lulega ku mmere?” Ng’omufumbi omulungi bw’alega ku mmere okukakasa nti ewooma nga tannagigabula balala, naffe tusaanidde okufumiitiriza ku ebyo bye tuba tugenda okwogera nga tetunnabyogera. (Zab. 141:3) Bulijjo tusaanidde okuba abakakafu nti ebyo bye tuba tugenda okwogera bizimba, bizzaamu amaanyi, era ‘biganyula abawuliriza.’—Bef. 4:29.
Lowooza ku ebyo by’ogenda okwogera nga tonnabyogera (Laba akatundu 15)
16. Okusingira ddala baani abasaanidde okufuba okuzzaamu abalala amaanyi okuyitira mu ebyo bye boogera?
16 Okusingira ddala abaami n’abazadde balina okufuba ennyo okukakasa nti ebyo bye boogera bizzaamu abalala amaanyi. (Bak. 3:19, 21; Tit. 2:4) Abakadde mu kibiina nabo basaanidde okwogera ebigambo ebizzaamu amaanyi era ebibudaabuda abantu ba Yakuwa. (Is. 32:1, 2; Bag. 6:1) Bayibuli egamba nti: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!”—Nge. 15:23.
MWAGALE “MU BIKOLWA NE MU MAZIMA”
17. Tuyinza tutya okukakasa nti okwagala kwe tulaga bakkiriza bannaffe kuviira ddala ku mutima?
17 Omutume Yokaana yagamba nti: “Tulemenga okwagala mu bigambo oba mu lulimi, wabula mu bikolwa ne mu mazima.” (1 Yok. 3:18) Okwagala kwe tulaga bakkiriza bannaffe kusaanidde okuba nga kuviira ddala ku mutima. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Gye tukoma okubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe, gye tukoma okweyongera okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere nabo era gye tukoma okubaagala. N’olwekyo funayo obudde okubeerako awamu ne bakkiriza banno, gamba ng’ozze mu nkuŋŋaana oba nga muli mu mulimu gw’okubuulira. Ate era funayo ebiseera obakyalireko. Bwe tukola ebintu ebyo, tuba tukiraga nti ‘Katonda atuyigiriza okwagalana.’ (1 Bas. 4:9) Ate era tujja kukiraba nti ‘kirungi era kisanyusa ab’oluganda okubeera awamu nga bali bumu!’—Zab. 133:1.
OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi