LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • yc essomo 5 lup. 12-13
  • Samwiri Yakolanga Ebintu Ebirungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Samwiri Yakolanga Ebintu Ebirungi
  • Yigiriza Abaana Bo
  • Similar Material
  • Samwiri Yanywerera ku Kituufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Omulenzi Omuto Aweereza Katonda
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • ‘Yeeyongera Okukula ng’Ali mu Maaso ga Yakuwa’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yakuwa Ayogera ne Samwiri
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Yigiriza Abaana Bo
yc essomo 5 lup. 12-13

ESSOMO 5

Samwiri Yakolanga Ebintu Ebirungi

Okuviira ddala mu buto, Samwiri yali aweereza ku weema entukuvu era nga gy’abeera. Ku weema entukuvu abantu gye baagendanga okusinza Yakuwa. Omanyi engeri Samwiri gye yatuuka okuweereza ku weema entukuvu? Nga tetunnalaba ekyo, ka tusooke tulabe ebikwata ku Kaana, maama wa Samwiri.

Kaana yamala ebbanga ddene ng’ayagala okuzaala omwana naye nga tazaala. Yasaba Yakuwa amuyambe. Yasuubiza Yakuwa nti bwe yandizadde omwana omulenzi, yandimuwaddeyo gy’ali amuweerereze ku weema entukuvu era abeere eyo. Yakuwa yaddamu okusaba kwe. Kaana yazaala omwana omulenzi, era n’amutuuma Samwiri. Samwiri bwe yali nga wa myaka esatu oba ena, Kaana yamutwala ku weema entukuvu aweerereze eyo Katonda nga bwe yali asuubizza.

Eli ye yali aweereza nga kabona asinga obukulu ku weema entukuvu mu kiseera ekyo. Batabani be ababiri nabo baali baweereza ku weema eyo. Kijjukire nti weema entukuvu yali nnyumba ya Katonda abantu gye baagendanga okumusinza. Ku nnyumba ya Katonda abantu baalinanga kukolerayo bintu birungi. Kyokka bo batabani ba Eli baakolerangayo ebintu ebibi ennyo. Ebintu ebibi bye baakolanga Samwiri yali abiraba. Samwiri naye yakolanga ebintu ebibi nga batabani ba Eli?— Nedda, ye yeeyisanga bulungi nga bazadde be bwe baamuyigiriza.

Olowooza kiki Eli kye yalina okukolera batabani be ababiri?— Yalina okubabonereza era n’atabakkiriza na kuddamu kuweereza ku nnyumba ya Katonda. Naye ekyo Eli si kye yakola. Yakuwa yamunyiigira era n’anyiigira ne batabani be. Yakuwa yasalawo okubabonereza.

Samwiri ng’ayogera ne Eli Kabona Asinga Obukulu

Samwiri yabuulira Eli Yakuwa kye yamugamba

Lumu ekiro Samwiri bwe yali nga yeebase, yawulira omuntu amuyita. Yadduka n’agenda eri Eli naye Eli n’amugamba nti ‘Sinnakuyita.’ Samwiri yaddamu okuwulira omuntu amuyita emirundi emirala ebiri. Ku mulundi ogw’okusatu, Eli yagamba Samwiri nti bw’addamu okuwulira amuyita, amuddemu nti: ‘Ai Yakuwa, yogera mpulira.’ Samwiri bw’atyo bwe yakola. Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘Gamba Eli nti ŋŋenda kubonereza ab’ennyumba ye olw’ebintu ebibi bye bakola.’ Olowooza kyali kyangu Samwiri okubuulira Eli ebigambo ebyo?— Nedda, tekyali kyangu. Naye wadde Samwiri yali atidde, yakola ekyo Yakuwa kye yamugamba okukola. Yakuwa kye yamugamba kyatuukirira. Batabani ba Eli ababiri battibwa, era ne Eli n’afa.

Samwiri yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yeeyongera okukola ebintu ebirungi wadde nga yalabanga abalala nga bakola ebintu ebibi. Naawe onooba nga Samwiri n’okola ebintu ebirungi? Bw’onookola bw’otyo, ojja kusanyusa Yakuwa ne bazadde bo.

SOMA MU BAYIBULI

  • 1 Samwiri 2:22-26; 3:1-21

EBIBUUZO:

  • Kiki maama wa Samwiri kye yasuubiza Yakuwa?

  • Batabani ba Eli beeyisanga batya?

  • Kiki Yakuwa kye yagamba Samwiri okukola?

  • Kyakulabirako ki ekirungi Samwiri kye yatuteerawo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share