LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 10/1 lup. 24-25
  • Samwiri Yanywerera ku Kituufu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Samwiri Yanywerera ku Kituufu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Similar Material
  • Samwiri Yakolanga Ebintu Ebirungi
    Yigiriza Abaana Bo
  • Omulenzi Omuto Aweereza Katonda
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • ‘Yeeyongera Okukula ng’Ali mu Maaso ga Yakuwa’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yakuwa Ayogera ne Samwiri
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 10/1 lup. 24-25

Yigiriza Abaana Bo

Samwiri Yanywerera ku Kituufu

OTERA okulaba abantu nga bakola ebintu ebibi?—a Samwiri yabalabanga. Yali abeera mu kifo w’otandisuubidde kulaba bantu nga bakola ebintu ng’ebyo. Ekifo ekyo kyali kisangibwa Siiro ewaali weema we baasinzizanga Katonda. Ka tulabe engeri Samwiri, eyaliwo emyaka egissuka mu 3,000 emabega, gye yajjamu okubeera mu kifo ekyo awaabeeranga weema.

Samwiri bwe yali tannazaalibwa, maama we Kaana yali ayagala nnyo okufuna omwana. Era lumu bwe baali bagenze mu weema okusinza, Kaana yasaba Katonda amuyambe asobole okuzaala. Olw’okuba yali asaba nnyo, n’emimwa gye gyali gyenyeenya. Kino kyaleetera Eri, kabona omukulu, okulowooza nti yali atamidde. Naye bwe yakizuula nti ekyo kyali kiva ku kuba nti mwennyamivu nnyo, Eri yamuwa omukisa n’agamba nti: “Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by’omusabye.”—1 Samwiri 1:17.

Nga wayise ekiseera, Samwiri yazaalibwa, era olw’essanyu eringi Kaana yagamba bba Erukaana nti: ‘Amangu ddala nga Samwiri avudde ku mabeere, nja kumutwala mu weema abeere eyo aweereze Katonda.’ Era bw’atyo bwe yakola! Samwiri yali wa myaka ena oba etaano.

Eri yali akaddiye, era batabani be, Kofuni ne Finekaasi, baali tebasinza Yakuwa nga bw’ayagala. Baayendanga ne ku bakazi abagendanga mu weema! Gwe olowooza kitaabwe yandibadde akola ki?— Yee, yandibadde abakangavvula era n’abagaana okukola ebintu ebyo ebitasaana.

Olw’okuba Samwiri yali abeera awo, ateekwa okuba nga yali amanyi empisa za batabani ba Eri embi. Samwiri yakoppa empisa zaabwe ezo embi?— Nedda, yanywerera ku kukola ekituufu nga bazadde be bwe baali bamuyigirizza. Naye Yakuwa yanyiigira Eri. Era yatuma nnabbi eri Eri amutegeeze nti Yali agenda kubonereza ab’omu maka ge, naddala batabani be ababi.—1 Samwiri 2:22-36.

Samwiri yeeyongera okuweereza ne Eri mu weema. Naye lumu Samwiri yali yeebase ekiro, n’awulira eddoboozi erimuyita. Yadduka n’agenda eri Eri, naye Eri yagamba nti si ye yali amuyise. N’omulundi ogw’okubiri bwe kityo bwe kyali. Ku mulundi ogwokusatu, Eri yagamba Samwiri nti bw’addamu okuwulira eddoboozi, ayanukule nti: “Yogera, Mukama wange; kubanga omuddu wo awulira.” Samwiri bwe yawulira eddoboozi n’ayanukula bw’atyo, Yakuwa yayogera naye. Omanyi Yakuwa kye yagamba Samwiri?—

Katonda yategeeza Samwiri ekibonerezo kye yali yasalira ab’omu maka ga Eri. Bwe bwakya, Samwiri yatya okubuulira Eri Yakuwa kye yali amugambye. Naye Eri yagamba Samwiri nti: “Nkwegayiridde, tokinkisa.” Olwo Samwiri yabuulira Eri byonna Yakuwa bye yali agambye okukola—era nga nnabbi We bwe yali agambye Eri emabegako. Eri yaddamu nti: “[Yakuwa] akole nga bw’asiima.” Oluvannyuma, Kofuni ne Finekaasi battibwa, ne Eri n’afa.—1 Samwiri 3:1-18.

‘Samwiri yeeyongera okukula, era Mukama yali naye.’ Mu kiseera ekyo, kirabika Samwiri yali mu myaka gya butiini, era ng’ekiseera kino kiba kikulu nnyo mu bulamu bw’abavubuka. Olowooza Samwiri yali ayanguyirwa okukola ekituufu ng’abalala bo bakola bikyamu?— Tekyali kyangu, naye Samwiri yaweereza Yakuwa n’obwesigwa obulamu bwe bwonna.—1 Samwiri 3:19-21.

Ate kiri kitya eri ggwe? Wandyagadde okubeera nga Samwiri? Oli mwetegefu okunywerera ku kituufu? Oneeyongera okunywerera ku njigiriza za Baibuli n’ebyo bazadde bo bye bakuyigirizza? Bw’onookola bw’otyo, ojja kusanyusa Yakuwa wamu ne bazadde bo.

[Obugambo obuli wansi]

a Bw’oba osoma n’abaana, akakoloboze kakujjukiza okuyimiriramu obabuuze ekibuuzo ekyo.

Ebibuuzo:

○ Samwiri yajja atya okuweereza mu weema ya Yakuwa?

○ Samwiri yayolekagana na mbeera ki ng’ali eyo?

○ Kyakulabirako ki Samwiri kye yateerawo abavubuka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share