LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • hf essomo 1 lup. 3-5
  • Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda mu Bufumbo Bwammwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda mu Bufumbo Bwammwe
  • Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • 1 TUUKIRIZA OBUVUNAANYIZIBWA KATONDA BWE YAKUWA
  • 2 FAAYO KU NNEEWULIRA YA MUNNO
  • 3 MUKOLERE WAMU
  • Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
hf essomo 1 lup. 3-5
Omwami ne mukyala we ku lunaku lw’embaga

ESSOMO 1

Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda

“Oyo eyabatonda okuva ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi.”​—Matayo 19:4

Yakuwaa Katonda ye yatandikawo enteekateeka y’obufumbo. Bayibuli egamba nti Katonda yatonda omukazi eyasooka ‘n’amuleeta eri omusajja.’ Adamu yasanyuka nnyo n’atuuka n’okugamba nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange.” (Olubereberye 2:22, 23) Ne leero Yakuwa ayagala abafumbo babeere basanyufu.

Bwe muba mwakafumbiriganwa, muyinza okulowooza nti temujja kufuna kizibu kyonna mu bufumbo bwammwe. Kyokka, n’abafumbo abaagalana ennyo oluusi bafuna obutategeeragana. (1 Abakkolinso 7:28) Akatabo kano kalimu amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli. Bwe munaagakolerako, obufumbo bwammwe bujja kubaamu essanyu, era n’amaka gammwe gajja kuba geeyagaza.​—Zabbuli 19:8-11.

1 TUUKIRIZA OBUVUNAANYIZIBWA KATONDA BWE YAKUWA

BAYIBULI KY’EGAMBA: Omwami gwe mutwe gw’amaka.​—Abeefeso 5:23.

Bw’oba ng’oli mwami mu maka, Yakuwa ayagala oyise bulungi mukyala wo. (1 Peetero 3:7) Yamukuwa ng’omubeezi akusaanira; ayagala omwagale era omuwe ekitiibwa. (Olubereberye 2:18) Osaanidde okwagala ennyo mukyala wo, ng’okulembeza by’ayagala so si ggwe by’oyagala.​—Abeefeso 5:25-29.

Bw’oba ng’oli mukyala mu maka, Yakuwa ayagala osse ekitiibwa mu mwami wo, era omuyambe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. (1 Abakkolinso 11:3; Abeefeso 5:33) Muwagire mu ebyo by’aba asazeewo era okolere wamu naye okubituukiriza. (Abakkolosaayi 3:18) Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba wa muwendo nnyo eri omwami wo n’eri Yakuwa.​—1 Peetero 3:1-6.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Buuza mukyala wo oba omwami wo bye weetaaga okukola okusobola okuba omwami omulungi oba omukyala omulungi. Wuliriza bulungi ng’akuddamu, era ofube okulongoosaamu we kyetaagisa

  • Beera mugumiikiriza. Buli omu ku mmwe kiyinza okumutwalira ekiseera okumanya ebisanyusa munne

2 FAAYO KU NNEEWULIRA YA MUNNO

BAYIBULI KY’EGAMBA: Faayo nnyo ku ebyo ebisanyusa munno. (Abafiripi 2:3, 4) Munno mu bufumbo mutwale nga wa muwendo nnyo, era kijjukire nti Yakuwa ayagala tube ‘bakkakkamu eri bonna.’ (2 Timoseewo 2:24) Bayibuli egamba nti: “Ayogera nga talowoozezza ebigambo bye bifumita ng’ekitala, naye ebigambo by’ab’amagezi biwonya.” (Engero 12:18, NW) N’olwekyo, lowooza ku bigambo by’oba ogenda okwogera, oleme kulumya munno. Omwoyo gwa Yakuwa gusobola okukuyamba okwoleka ekisa n’okwagala.​—Abaggalatiya 5:22, 23; Abakkolosaayi 4:6.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Bw’oba olina ensonga enkulu gy’ogenda okukubaganyaako ebirowoozo ne munno, saba Katonda akuyambe okusigala ng’oli mukkakkamu n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu

  • Lowooza ku ekyo ky’oba ogenda okwogera n’engeri gy’onookyogeramu

3 MUKOLERE WAMU

BAYIBULI KY’EGAMBA: Bwe mufumbiriganwa, mufuuka “omubiri gumu.” (Matayo 19:5) Naye era musigala muli bantu babiri era muyinza okuba n’endowooza ez’enjawulo ku bintu ebimu. N’olwekyo, kibeetaagisa okuteesa okusobola okuba n’endowooza emu. (Abafiripi 2:2) Ekyo kikulu nnyo bwe muba mulina kye mwagala okusalawo. Bayibuli egamba nti: ‘Buli kigambo kinywezebwa na kuteesa.’ (Engero 20:18) Bwe muba mulina ensonga enkulu gye mwagala okusalawo, mukolere ku magezi agali mu Bayibuli.​—Engero 8:32, 33.

Omwami ne mukyala we bakolera wamu nga booza engoye n’ebintu

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Munno tokoma ku kumubuulira by’olowooza, naye mubuulire ne bw’owulira

  • Weebuuze ku munno nga tonnabaako ky’osalawo

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

BEERA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU

Kijjukire nti ggwe ne munno mu bufumbo temutuukiridde. (Zabbuli 103:14; Yakobo 3:2) Essira lisse ku birungi munno by’akola. Mubeere bakakafu nti amagezi agali mu Bayibuli gajja kubayamba, era mube bagumiikiriza. (2 Timoseewo 3:16) Bwe munaakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa, ajja kubawa emikisa, era mujja kweyongera okufuna essanyu mu bufumbo bwammwe.​—Abaggalatiya 6:9.

WEEBUUZE . . .

  • Omwami wange oba mukyala wange akiraba nti mmufaako?

  • Kiki kye nkoze leero ekiraga nti mmwagala era mmussaamu ekitiibwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share