LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • hf essomo 2 1-2
  • Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne
  • Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • 1 OBUFUMBO BWAMMWE MUBUTWALE NGA BWA MUWENDO
  • 2 KUUMANGA OMUTIMA GWO
  • Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda mu Bufumbo Bwammwe
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Okukolagana Obulungi ne Bazadde Bammwe
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
See More
Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
hf essomo 2 1-2
Omwami akwatidde mukyala we manvuuli ng’eno bwamuyambako okuyingira mu motoka

ESSOMO 2

Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne

“Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”​—Makko 10:9

Yakuwa Katonda ayagala nnyo abantu “abeesigwa.” (Zabbuli 101:6) Okuba abeesigwa kikulu nnyo kubanga kireetera abafumbo okwagalana n’okwesigaŋŋana.

Leero, abafumbo bangi si beesigwa eri bannaabwe. Okusobola okukuuma obufumbo bwammwe, mulina okukola ebintu bibiri.

1 OBUFUMBO BWAMMWE MUBUTWALE NGA BWA MUWENDO

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’ (Abafiripi 1:10) Obufumbo bwammwe kye kimu ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu bwammwe. Musaanidde okubutwala nga bwa muwendo nnyo.

Yakuwa ayagala mufeeyo nnyo ku bufumbo bwammwe era ayagala mubeere ‘basanyufu.’ (Omubuulizi 9:9) Tayagala osuulirire munno, wabula ayagala buli omu afube okukola ebisanyusa munne. (1 Abakkolinso 10:24) Munno asaanidde okukiraba nti omwagala nnyo, era nti osiima by’akola.

Omwami aleetera mukyala we kyayi; omwami akyomyewo awaka era asanze mukyala we afumba

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Fuba okulaba nti ofissaawo akadde okubeerako ne munno, era muwulirize bulungi bw’aba alina ky’akugamba

  • Buli ky’oba ogenda okusalawo, lowooza ku munno; teweerowoozaako wekka

Omwami n’omukyala nga basanyukirako wamu

2 KUUMANGA OMUTIMA GWO

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:28) Omuntu bw’aba nga buli kiseera alowooza ku bintu eby’obugwenyufu, kiyinza okulaga nti si mwesigwa eri munne mu bufumbo.

Yakuwa agamba nti olina ‘okukuuma omutima gwo.’ (Engero 4:23; Yeremiya 17:9) Ekyo okusobola okukikola, olina okwegendereza by’olaba. (Matayo 5:29, 30) Beera nga Yobu omuweereza wa Katonda eyakola endagaano n’amaaso ge obutatunuulira mukazi n’amwegomba. (Yobu 31:1) Weewalire ddala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, era weewale enkolagana yonna eyinza okukuviirako okwenda.

Omwami atadde ekifaananyi kya mukyala we ku mmeeza y’oku mulimu

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Leka abalala bakimanye nti oyagala nnyo munno mu bufumbo

  • Faayo ku nneewulira ya munno, era bw’oba ng’olina enkolagana n’omuntu omulala eyinza okutabangula obufumbo bwammwe, gikomye amangu ddala

KOLA KY’OSAANIDDE OKUKOLA

Beera mwesimbu era fuba okumanya obunafu bwo. (Zabbuli 15:2) Bw’oba olina obunafu, totya kububuulirako balala bakuyambe. (Engero 1:5) Bw’ofuna ebirowoozo ebibi fuba okubirwanyisa, era toggwaamu maanyi. (Engero 24:16) Bw’onoofuba okuba omwesigwa eri munno mu bufumbo, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi.

WEEBUUZE . . .

  • Biki bye nsaanidde okukola okusobola okufissizaawo munnange akadde?

  • Munnange mu bufumbo ye mukwano gwange nfiirabulago?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share