LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • hf essomo 5 1-2
  • Okukolagana Obulungi ne Bazadde Bammwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukolagana Obulungi ne Bazadde Bammwe
  • Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • 1 BAZADDE BAMMWE MUBASSEEMU EKITIIBWA
  • 2 MUSALEEWO WE BALINA OKUKOMA
  • Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda mu Bufumbo Bwammwe
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
hf essomo 5 1-2
Maama nga si musanyufu olw’engeri muka mwana we gy’afumbamu

ESSOMO 5

Okukolagana Obulungi ne Bazadde Bammwe

‘Mwambale ekisa, obuwombeefu, obuteefu n’obugumiikiriza.’​—Abakkolosaayi 3:12

Bwe mufumbiriganwa, muba mutandiseewo amaka agammwe ku bwammwe. Wadde ng’ojja kweyongera okwagala bazadde bo n’okubassaamu ekitiibwa, munno mu bufumbo ye muntu asinga okuba ow’omuwendo gy’oli. Kino bazadde bammwe kiyinza okubazibuwalira okukkiriza. Naye Bayibuli erimu amagezi agasobola okubayamba okweyongera okukolagana obulungi nabo, era n’okunyweza obufumbo bwammwe. Amagezi agaweereddwa mu kitundu kino era gasobola okubayamba okukolagana obulungi n’ab’eŋŋanda zammwe.

1 BAZADDE BAMMWE MUBASSEEMU EKITIIBWA

Abafumbo nga beesanyusaamu ne bazadde baabwe

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” (Abeefeso 6:2) Ne bw’oba okuze era ng’ofunye amaka, sigala ng’ossa mu bazadde bo ekitiibwa. Ate era kijjukire nti ne munno yeetaaga okufaayo ku bazadde be n’okubassaamu ekitiibwa. “Okwagala tekukwatibwa buggya,” n’olwekyo munno bw’aba ayagala nnyo bazadde be tokitwala bubi.​—1 Abakkolinso 13:4; Abaggalatiya 5:26.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Weewale okwogera ebigambo nga bino: “Ab’ewammwe buli kiseera banfeebya” oba “Buli kye nkola, maama wo takisiima”

  • Gezaako okwessa mu bigere bya munno

2 MUSALEEWO WE BALINA OKUKOMA

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, [n’anywerera ku] mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Bwe mufumbiriganwa, bazadde bammwe bayinza okulowooza nti balina okweyongera okubawabula mu buli kimu, era bayinza okwagala okumanya buli nsonga ekwata ku bufumbo bwammwe.

Mmwe mulina okusalawo bazadde bammwe we balina okukoma ku bikwata ku bufumbo bwammwe era ne mubategeeza mu bukkakkamu. (Engero 15:1) Bwe muba abawombeefu, abakkakkamu, era abagumiikiriza, musobola okukolagana obulungi ne bazadde bammwe nga buli omu ku mmwe bwe yeeyongera okwagala munne.​—Abeefeso 4:2.

Omwami n’omukyala nga bakubaganya ebirowoozo; omwami n’omukyala nga bawa muzadde waabwe ekirabo

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Bw’olaba nga bazadde bammwe baagala okumanya buli nsonga ekwata ku bufumbo bwammwe, kyogereko ne munno mu bukkakkamu

  • Mukkiriziganye ku ngeri gye munaakwatamu ensonga eyo

MWESSE MU BIGERE BY’ABAZADDE BAMMWE

Kikulu okutegeera enneewulira y’abazadde bammwe n’endowooza yaabwe. Okwagala okumanya ensonga ezikwata ku bufumbo bwammwe tekitegeeza nti babalingiriza, wabula kiraga nti babafaako. Bazadde bammwe kiyinza okubazibuwalira okukikkiriza nti kati nammwe mulina amaka ageetongodde. Bayinza n’okulowooza nti tebafiibwako. Naye bwe munaakolera ku magezi agali mu Bayibuli era ne muba n’empuliziganya ennungi, mujja kweyongera okussa ekitiibwa mu bazadde bammwe ate n’obufumbo bwammwe busigale nga bunywevu.

WEEBUUZE . . .

  • Kyandiba nti bazadde ba munnange okwagala okumanya ebikwata ku bufumbo bwaffe kiraga nti batufaako nnyo?

  • Nnyinza ntya okulaga nti nfaayo ku munnange, kyokka nga ne bazadde bange mbassaamu ekitiibwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share