LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • hf essomo 8 1-3
  • Bwe Mufuna Ekizibu eky’Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bwe Mufuna Ekizibu eky’Amaanyi
  • Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • 1 MWESIGE YAKUWA
  • 2 FAAYO KU BULAMU BWO NE KU BW’AB’OMU MAKA GO
  • 3 MUSABE ABALALA BABAYAMBE
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Yakuwa Afaayo ku Bantu Be
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Njagala Kwetta—Bayibuli Esobola Okunnyamba Bwe Nfuna Ekirowoozo ky’Okwetta?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okusaba—Engeri gye Kuyinza Okukuganyulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
hf essomo 8 1-3
Omwami n’omukyala bakungubagira omwana waabwe

ESSOMO 8

Bwe Mufuna Ekizibu

“Musanyuka nnyo wadde nga kaakano okumala akaseera katono, kibeetaagisa okunakuwala olw’okugezesebwa okutali kumu.”​—1 Peetero 1:6

Amaka gammwe ne bwe gabaamu essanyu, muyinza okufuna ebizibu ne bibamalako essanyu. (Omubuulizi 9:11) Katonda atuwa amagezi agasobola okutuyamba bwe tuba tufunye ebizibu. Bwe munaakolera ku magezi gano agasangibwa mu Byawandiikibwa, mujja kusobola okuyita ne mu bizibu eby’amaanyi.

1 MWESIGE YAKUWA

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’ (1 Peetero 5:7) Bulijjo mukijjukirenga nti Katonda si y’abaleetera ebizibu. (Yakobo 1:13) Bwe munaakola by’ayagala ajja kubayamba nga mufunye ebizibu. (Isaaya 41:10) Mumusabe, era mumubuulire ebibali ku mutima.​—Zabbuli 62:8.

Bwe munaasoma Bayibuli buli lunaku mujja kubudaabudibwa. Mujja kulaba engeri Yakuwa ‘gy’atubudaabudamu mu kubonaabona kwaffe kwonna.’ (2 Abakkolinso 1:3, 4; Abaruumi 15:4) Ate era mujja kufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.”​—Abafiripi 4:6, 7, 13.

Omusajja ng’ali ku kitanda mu ddwaliro era nga asabira wamu n’ab’omu maka ge

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Musabe Katonda abayambe okusigala nga mulina endowooza ennuŋŋamu

  • Mulowooze ku bintu eby’enjawulo bye muyinza okukola okugonjoola ekizibu kye mulina

2 FAAYO KU BULAMU BWO NE KU BW’AB’OMU MAKA GO

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Omutima gw’omutegeevu gufuna okumanya; n’okutu kw’ab’amagezi kunoonya okumanya.” (Engero 18:15) Manya buli omu ku b’omu maka go bye yeetaaga. Yogera nabo era bawulirize bulungi.​—Engero 20:5.

Watya singa omu ku b’omu maka gammwe afa? Tekiba kikyamu kukaaba. Ne Yesu bwe yafiirwa mukwano gwe, ‘yakaaba.’ (Yokaana 11:35; Omubuulizi 3:4) Ate era kikulu nnyo okuwummula n’okwebaka ekimala. (Omubuulizi 4:6) Bwe munaakola bwe mutyo, kijja kubabeerera kyangu okugumira ekizibu kye mulina.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Bulijjo fuba okunyumyako n’ab’omu maka go. Bwe wanaagwaawo ekizibu, kijja kubabeerera kyangu okukweyabiza

  • Mwogereko n’abantu abaafunako ekizibu kye mulina

3 MUSABE ABALALA BABAYAMBE

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.” (Engero 17:17, NW) Mikwano gyammwe bayinza okwagala okubayamba naye nga tebamanyi kya kukola. Mubabuulire ebyo byennyini bye bayinza okukola okubayamba. (Engero 12:25) Ate era, mutuukirire abo abasobola okubayamba nga bakozesa Bayibuli. Amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli ge banaabawa gajja kubayamba nnyo.​—Yakobo 5:14.

Ekirala ekinaabayamba kwe kukuŋŋaananga obutayosa n’abo abaweereza Katonda ow’amazima era abakkiririza mu bisuubizo bye. Ate era mujja kubudaabudibwa bwe munazzaamu abalala amaanyi nga mubabuulirako ebikwata ku Yakuwa n’ebisuubizo bye. Mufube okuyamba abantu abalala abali mu bwetaavu, era temweyawula ku abo ababaagala era ababafaako.​—Engero 18:1; 1 Abakkolinso 15:58.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Musabe mukwano gwammwe ow’oku lusegere abayambe

  • Mumubuulire ekyo kyennyini kye mwagala abakolere

MUSIGALE NGA MWESIGA KATONDA

Ne bwe muba muwulira ng’ebizibu bibayitiriddeko, musigale nga mwesiga Katonda. Yobu bwe yali abonaabona, yagamba nti: “Erinnya lya Mukama lyebazibwe.” (Yobu 1:21, 22) Okufaananako Yobu, mu kifo ky’okulowooza ennyo ku kizibu kyammwe, musigale nga mukola Yakuwa by’ayagala. Ebintu bwe bitagenda nga bwe mubadde musuubira, temuggwaamu maanyi, wabula mweyongere okwesiga Katonda. Katonda agamba nti: “Ŋŋenda kubaleetera emirembe so si kubaleetako kabi, musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi.”​—Yeremiya 29:11, NW.

MWEBUUZE . . .

  • Twesiga Yakuwa mu buli kimu?

  • Birungi ki Yakuwa by’atukolera buli lunaku bye tusobola okumwebaza?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share