LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 7 lup. 22-lup. 23 kat. 6
  • Abalaguzisa Emmunyeenye Bagenda Okulaba Yesu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abalaguzisa Emmunyeenye Bagenda Okulaba Yesu
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Baani Abaali “Abasajja Abasatu Abagezigezi”? Ddala Baagoberera “Emmunyeenye” ey’e Besirekemu?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Ani Yasindika “Emmunyeenye”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Abasajja Bakulemberwa Emmunyeenye
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Engeri Yesu Gye Yakuumibwamu
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 7 lup. 22-lup. 23 kat. 6
Abalaguzisa emmunyeenye bagoberera emunnyeenye ne batuuka ku nnyumba Yusufu, Maliyamu, ne Yesu mwe basula

ESSUULA 7

Abalaguzisa Emmunyeenye Bagenda Okulaba Yesu

MATAYO 2:1-12

  • ABALAGUZISA EMMUNYEENYE BALABA “EMMUNYEENYE” NE BAGENDA E YERUSAALEMI, N’OLUVANNYUMA AWALI YESU

Waliwo abasajja balaguzisa emmunyeenye abavudde Ebuvanjuba. Abasajja abo beetwala okuba nti basobola okwetegereza emmunyeenye ne bamanya ebinaatuuka ku bantu mu biseera eby’omu maaso. (Isaaya 47:13) Bwe baba bali ewaabwe Ebuvanjuba, balaba “emmunyeenye” era ne batindigga olugendo oluwanvu ne bagenda e Yerusaalemi, so si e Besirekemu.

Abalaguzisa emmunyeenye bwe batuuka e Yerusaalemi, babuuza nti: “Kabaka w’Abayudaaya eyazaalibwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli Ebuvanjuba era tuzze okumuvunnamira.”​—Matayo 2:1, 2.

Abalaguzisa emmunyeenye nga bavunnamidde Kabaka Kerode

Kabaka Kerode owa Yerusaalemi awulira ebintu ebyo, n’atya nnyo. Bw’atyo ayita bakabona abakulu n’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abalala n’ababuuza wa Kristo gy’alina okuzaalibwa. Nga basinziira ku Byawandiikibwa, bamugamba nti: “Mu Besirekemu.” (Matayo 2:5; Mikka 5:2) Awo, Kerode ayita mu kyama abalaguzisa emmunyeenye n’abagamba nti: “Mugende munoonye omwana era bwe mumuzuula mukomewo mumbuulire nange ŋŋende mmuvunnamire.” (Matayo 2:8) Naye ekituufu kiri nti, Kerode ayagala kutta mwana oyo!

Abalaguzisa emmunyeenye bwe bava ewa kabaka, ekintu ekitali kya bulijjo kibaawo. “Emmunyeenye” gye baalaba nga bali Ebuvanjuba etambula ng’ebakulembera. Kya lwatu nti emmunyeenye eno si ya bulijjo; eteekeddwawo okubalagirira. Abalaguzisa emmunyeenye bagigoberera okutuusa lw’eyimirira waggulu awali ennyumba Yusufu, Maliyamu, awamu n’omwana waabwe kati mwe basula.

Abalaguzisa emmunyeenye abaagoberera emmunyeenye okugenda e Besirekemu nga bawa Maliyamu ne Yesu ebirabo

Abalaguzisa emmunyeenye bwe bayingira mu nnyumba, basangamu Maliyamu ne Yesu, era ne bavunnamira Yesu. Okugatta ku ekyo, bamuwa ebirabo omuli zzaabu, obubaani obweru, n’eby’akawoowo ebiyitibwa mirra. Oluvannyuma, bwe baba bateekateeka okuddayo ewa Kerode, Katonda ayitira mu kirooto n’abalabula obutakikola. Bwe kityo, baddayo mu nsi yaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

Olowooza ani yateekawo “emmunyeenye” eyo eyalagirira abasajja abo? Kijjukire nti, emmunyeenye eyo teyasooka kubalagirira kugenda butereevu Besirekemu, Yesu gye yali. Mu kifo ky’ekyo, yabalagirira Yerusaalemi, gye baasanga Kabaka Kerode, eyali ayagala okutta Yesu. Mu butuufu, Kerode yandisse Yesu singa Katonda teyagaana Abalaguzisa emmunyeenye okuddayo eri Kerode okumubuulira Yesu gy’ali. Kyeyoleka lwatu nti omulabe wa Katonda, Sitaani, ye yali ayagala Yesu attibwe, era ye yakola enteekateeka eyo okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.

  • Tumanya tutya nti “emmunyeenye” abalaguzisa emmunyeenye gye baalaba teyali ya bulijjo?

  • Omwana, Yesu, abalaguzisa emmunyeenye bamusanga wa?

  • Lwaki tusobola okugamba nti Sitaani ye yalagirira abalaguzisa emmunyeenye?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share