LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 9 lup. 26-lup. 27 kat. 1
  • Akulira mu Nazaaleesi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akulira mu Nazaaleesi
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Yakuuma, Yalabirira, era Teyaddirira
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yakuuma, Yalabirira, Yagumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Yesu ng’Akyali Muto
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Maliyamu—Ali Lubuto Naye Si Mufumbo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 9 lup. 26-lup. 27 kat. 1
Yusufu ng’ayigiriza Yesu okubajja

ESSUULA 9

Akulira mu Nazaaleesi

MATAYO 13:55, 56 MAKKO 6:3

  • AB’OMU MAKA GA YUSUFU NE MALIYAMU BEEYONGERA OBUNGI

  • YESU AYIGA OMULIMU

Yesu akulira mu Nazaaleesi, ekibuga ekitono era ekitamanyiddwa nnyo. Ekibuga ekyo kisangibwa mu bitundu by’e Ggaliraaya, ebugwanjuba w’Ennyanja y’e Ggaliraaya.

Kirabika nti Yusufu ne Maliyamu we baviira e Misiri, Yesu alina emyaka ng’ebiri era kirabika ye mwana yekka gwe balina. Kyokka oluvannyuma Yesu afuna baganda be, Yakobo, Yusufu, Simooni, ne Yuda. Yusufu ne Maliyamu bazaalayo n’abaana ab’obuwala, bannyina ba Yesu. Mu butuufu, oluvannyuma lw’ekiseera, Yesu aba ne baganda be ne bannyina, nga bonna awamu tebakka wansi wa mukaaga.

Kya lwatu nti Yesu alina n’ab’eŋŋanda ze abalala. Mu bo mulimu Erizabeesi ne mutabani we, Yokaana ababeera ewala ennyo mu bukiikaddyo, mu kitundu ekisangibwa mu Buyudaaya. Kirabika Saalome, abeera mu kitundu ekiri okumpi ne Ggaliraaya, muganda wa Maliyamu. Bwe kityo Saalome aba maama wa Yesu omuto. Omwami wa Saalome ye Zebedaayo. Ekyo kiba kitegeeza nti abaana baabwe ababiri, Yakobo ne Yokaana, nabo baba balina oluganda ku Yesu. Tetumanyi obanga Yesu bw’aba akyali muto amala ebiseera bingi n’abalenzi abo, naye kye tumanyi kiri nti bwe bakula bafuuka mikwano gye egy’oku lusegere. Yakobo ne Yokaana baba bamu ku batume ba Yesu.

Yusufu kimwetaagisa okukola ennyo okusobola okulabirira ab’omu maka ge kati abeeyongedde obungi. Yusufu mubazzi, era olw’okuba akuza Yesu ng’omwana we yennyini, Yesu ayitibwa ‘omwana w’omubazzi.’ (Matayo 13:55) Yusufu ayigiriza Yesu omulimu ogw’okubajja, era Yesu akuguka mu mulimu ogwo. Mu butuufu, oluvannyuma abantu bwe baba boogera ku Yesu bamwogerako ‘ng’omubazzi.’​—Makko 6:3.

Yusufu ne Maliyamu nga bayamba abaana baabwe okwagala ku Katonda

Yusufu n’ab’omu maka ge okusinza Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwabwe. Ng’Amateeka ga Katonda bwe galagira, Yusufu ne Maliyamu bafuba okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Katonda ‘bwe batuula mu nnyumba yaabwe, bwe batambula mu kkubo, bwe bagalamira, era bwe bagolokoka.’ (Ekyamateeka 6:6-9) Mu Nazaaleesi mulimu ekuŋŋaaniro. Era Yusufu ateekwa okuba nga tayosa kutwala ba mu maka ge mu kkuŋŋaaniro eryo okusinza. Oluvannyuma kigambibwa nti Yesu ayingira mu kkuŋŋaaniro, ‘ng’enkola ye bw’eri ku Ssabbiiti.’ (Lukka 4:16) Ate era Yusufu n’ab’omu maka ge teboosa kugenda ku yeekaalu ya Yakuwa mu Yerusaalemi ku mbaga ezibaayo buli mwaka.

  • Yesu alina baganda be ne bannyina nga bameka?

  • Mulimu ki Yesu gw’ayiga okukola, era lwaki?

  • Ngeri ki esingayo obukulu Yusufu gy’alabiriramu ab’omu maka ge?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share