LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 72 lup. 170-lup. 171 kat. 2
  • Yesu ng’Akyali Muto

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu ng’Akyali Muto
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Yakuuma, Yalabirira, era Teyaddirira
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yakuuma, Yalabirira, Yagumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Akulira mu Nazaaleesi
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Yayiga Okubeera Omuwulize
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 72 lup. 170-lup. 171 kat. 2
Yesu nga wa myaka 12 ng’atudde n’abayigiriza ku yeekaalu

ESSOMO 72

Yesu ng’Akyali Muto

Yusufu ne Maliyamu awamu ne Yesu n’abaana baabwe abalala, ab’obulenzi n’ab’obuwala, baali babeera mu Nazaaleesi. Yusufu yakolanga gwa bubazzi okusobola okuyimirizaawo ab’omu maka ge, era yayigirizanga ab’omu maka ge ebikwata ku Yakuwa n’Amateeka ge. Yusufu yagendanga n’ab’omu maka ge okusinza mu kkuŋŋaaniro, era buli mwaka yabatwalanga e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako.

Yesu bwe yali wa myaka 12, baagenda e Yerusaalemi nga bwe baakolanga. Abantu bangi bajja e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako. Oluvannyuma, Yusufu ne Maliyamu baatindigga olugendo okuddayo ewaabwe, nga balowooza nti Yesu yali wamu n’abantu abalala abaali bava e Yerusaalemi. Naye Yusufu ne Maliyamu bwe baanoonya Yesu mu b’eŋŋanda zaabwe, tebaamulaba.

Baddayo e Yerusaalemi, era ne bamala ennaku ssatu nga banoonya Yesu. Oluvannyuma baagenda mu yeekaalu. Baasanga Yesu ng’atudde n’abayigiriza ng’abawuliriza era ng’ababuuza ebibuuzo. Abayigiriza baakwatibwako nnyo olw’okutegeera Yesu kwe yalina ne batandika n’okumubuuza ebibuuzo. Beewuunya nnyo engeri Yesu gye yaddangamu ebibuuzo bye baamubuuza. Baakiraba nti Yesu yali ategeera bulungi Amateeka ga Yakuwa.

Yusufu ne Maliyamu baali beeraliikiridde nnyo. Maliyamu yagamba Yesu nti: ‘Mwana wange, tubadde tukunoonya buli wamu! Obadde ludda wa?’ Yesu yamuddamu nti: ‘Mubadde temukimanyi nti nnina kuba wano mu nnyumba ya Kitange?’

Yesu ne bazadde be baddayo e Nazaaleesi. Yusufu yayigiriza Yesu omulimu gw’okubajja. Olowooza Yesu yeeyisanga atya ng’akyali muto? Yesu bwe yagenda akula, yeeyongera okufuna amagezi n’okusiimibwa Katonda n’abantu.

Yusufu, Maliyamu, Yesu, n’abamu ku baganda ba Yesu ne bannyina nga bali ku mmeeza

“Ai Katonda wange, nsanyukira okukola by’oyagala, era amateeka go gali munda mu nze.”​—Zabbuli 40:8

Ebibuuzo: Wa Yusufu ne Maliyamu gye baasanga Yesu? Lwaki Yesu yali eyo?

Matayo 13:55, 56; Makko 6:3; Lukka 2:40-52; 4:16; Ekyamateeka 16:15, 16

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share