LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 19 lup. 48-lup. 51 kat. 4
  • Ayigiriza Omukazi Omusamaliya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ayigiriza Omukazi Omusamaliya
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ABASAMALIYA BANGI BAMUKKIRIRIZAAMU
  • Ayogera n’Omukazi ku Luzzi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • n’Omukazi ku Luzzi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Kusinza kw’Ani Katonda kw’Akkiriza?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • “Omusamaliya Omulungi”
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 19 lup. 48-lup. 51 kat. 4
Yesu ng’ayogera n’omukazi Omusamaliya ku luzzi

ESSUULA 19

Ayigiriza Omukazi Omusamaliya

YOKAANA 4:3-43

  • YESU AYIGIRIZA OMUKAZI OMUSAMALIYA N’ABALALA

  • OKUSINZA KATONDA KW’ASIIMA

Yesu n’abayigirizwa be bavudde mu Buyudaaya era boolekedde Ggaliraaya. Bayitidde Samaliya era olugendo lubakooyezza nnyo. Awo nga mu ttuntu, basalawo okuwummulirako ku luzzi Yakobo lwe yasima oba lwe yasimisa emyaka nkumi na nkumi emabega, oluli okumpi n’ekibuga Sukali. N’okutuusa leero, oluzzi olwo lukyaliwo era luli kumpi n’ekibuga Nablus.

Abayigirizwa be bagenda mu kibuga okugula emmere, naye Yesu asigala awo ku luzzi ng’awumuddeko. Omukazi Omusamaliya ajja okusena amazzi era Yesu amugamba nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.”​—Yokaana 4:7.

Yesu ng’awummuddemu ku luzzi, abayigirizwa be nga bagenda, era ng’omukazi Omusamaliya ajja okusena amazzi

Abayudaaya n’Abasamaliya tebakolagana olw’obusosoze. N’olwekyo omukazi oyo yeewuunya nnyo era agamba Yesu nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okunsaba amazzi ag’okunywa ng’ate nze ndi mukazi Musamaliya?” Yesu amuddamu nti: “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n’oyo akugamba nti, ‘Mpa ku mazzi nnyweko,’ wandibadde omusaba, n’akuwa amazzi agawa obulamu.” Omukazi amugamba nti: “Ssebo, tolina na kalobo ka kusenesa mazzi, ate ng’oluzzi luwanvu; kati olwo amazzi ago agawa obulamu ogaggye wa? Ggwe osinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno, ye n’abaana be kwe baanywanga awamu n’ente ze?”​—Yokaana 4:9-12.

Yesu amuddamu nti: “Buli anywa ku mazzi gano ajja kuddamu okulumwa ennyonta. Buli anywa ku mazzi ge nnaamuwa, taliddamu kulumwa nnyonta, naye amazzi ago ge nnaamuwa gajja kufuuka mu ye ensulo eneevangamu amazzi agawa obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 4:13, 14) Wadde nga Yesu akooye, abuulira omukazi Omusamaliya ebigambo eby’amazima ebiwa obulamu.

Omukazi oyo agamba Yesu nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago nneme kuddamu kulumwa nnyonta wadde okujjanga mu kifo kino okusena amazzi.” Yesu akyusa emboozi era amugamba nti: “Genda oyite omwami wo okomewo wano.” Omukazi amuddamu nti: “Sirina mwami.” Naye omukazi oyo yeewuunya nnyo Yesu bw’amugamba nti: “Oli mutuufu bw’ogamba nti, ‘Sirina mwami.’ Kubanga waakabeera n’abaami bataano, era omusajja gw’oli naye kati si mwami wo.”​—Yokaana 4:15-18.

Nga yeewuunyizza nnyo, agamba Yesu nti: “Ssebo, nkiraba nti oli nnabbi.” Omukazi oyo akiraga nti ayagala nnyo ebintu ebikwata ku Katonda ng’agamba nti: “Bajjajjaffe [Abasamaliya] baasinzizanga ku lusozi luno [Olusozi Gerizimu, oluli okumpi awo], naye mmwe [Abayudaaya] mugamba nti Yerusaalemi kye kifo abantu gye balina okusinziza.”​—Yokaana 4:19, 20.

Naye Yesu amunnyonnyola nti ekifo eky’okusinzizaamu si kye kikulu. Amugamba nti: “Ekiseera kijja lwe mutalisinziza Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi.” Agattako nti: “Ekiseera kijja era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu lwe banaasinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima, kubanga Kitaffe anoonya abalinga abo okumusinzanga.”​—Yokaana 4:21, 23, 24.

Katonda ky’asinga okufaako ye ngeri abantu gye bamusinzaamu so si ekifo we bamusinziza. Omukazi oyo akwatibwako nnyo, era agamba Yesu nti: “Nkimanyi nti Masiya ayitibwa Kristo ajja. Oyo w’alijjira wonna, alitubuulira ebintu byonna.”​—Yokaana 4:25.

Awo Yesu amubuulira ekintu ekikulu ennyo ng’amugamba nti: “Ye nze ayogera naawe.” (Yokaana 4:26) Kirowoozeeko! Omukazi ono azze mu ttuntu okusena amazzi. Kyokka Yesu amubuulira kaati nti ye Masiya, ekintu oboolyawo ky’atannabuulirako muntu mulala yenna.

ABASAMALIYA BANGI BAMUKKIRIRIZAAMU

Abayigirizwa ba Yesu bakomawo okuva mu kibuga Sukali nga baleese emmere. Bwe batuuka ku luzzi lwa Yakobo we balese Yesu, bamusanga ayogera n’omukazi Omusamaliya. Awo omukazi oyo aleka ensuwa ye ey’amazzi n’agenda mu kibuga.

Abayigirizwa ba Yesu nga bakomawo ku luzzi era ng’omukazi Omusamaliya agenda

Bw’atuuka mu kibuga Sukali, abuulira abantu ebintu Yesu by’amugambye. Abagamba nti: “Mujje mulabe omusajja ambuulidde ebintu byonna bye nnakola.” Era okusobola okubabuguumiriza agattako nti: “Kyandiba nti ono ye Kristo?” (Yokaana 4:29) Ekibuuzo ekyo kikulu nnyo era okuviira ddala mu kiseera kya Musa abantu bakyebuuza. (Ekyamateeka 18:18) Abantu b’omu kibuga basalawo okujja balabe Yesu.

Mu kibuga Sukali, ng’omukazi Omusamaliya abuulira abantu ebintu Yesu by’amugambye

Mu kiseera kye kimu, abayigirizwa ba Yesu bamwegayirira alye ku mmere gye baleese. Naye abagamba nti: “Nnina emmere ey’okulya gye mutamanyi.” Abayigirizwa beewuunya, era beebuuza nti: “Waliwo omuntu yenna amuleetedde eky’okulya?” Mu ngeri ey’obukkakkamu, Yesu abannyonnyola ng’akozesa ebigambo abagoberezi be bonna bye basaanidde okufumiitirizaako. Abagamba nti: “Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe.”​—Yokaana 4:32-34.

Omulimu Yesu gw’ayogerako si gwe gw’okukungula ebirime, ogujja okutandika emyezi ng’ena mu maaso. Wabula, Yesu ayogera ku makungula ag’eby’omwoyo, ng’ebigambo bye bino ebiddirira bwe biraga: “Muyimuse amaaso gammwe mutunuulire ennimiro; zituuse okukungula. Omukunguzi kati afuna empeera ye era akuŋŋaanya ebibala eby’obulamu obutaggwaawo, omusizi n’omukunguzi basobole okusanyukira awamu.”​—Yokaana 4:35, 36.

Yesu ayinza okuba ng’atandise okulaba ebirungi ebivudde mu kubuulira omukazi Omusamaliya. Abantu bangi ab’omu Sukali bamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi oyo by’abagamba. Abagamba nti: “Ambuulidde ebintu byonna bye nnakola.” (Yokaana 4:39) N’olwekyo, abantu b’omu Sukali bwe bajja ku luzzi, basaba Yesu asigale mu kitundu kyabwe ayongere okubabuulira. Yesu akkiriza era asigala mu Samaliya okumala ennaku bbiri.

Abasamaliya abalala bangi bwe bawuliriza Yesu, bamukkiririzaamu. Bagamba omukazi nti: “Tetukkiriza lw’ebyo bye wayogedde; kubanga ffe kennyini twewuliriddeko era tumanyi nti omusajja ono, ddala ye mulokozi w’ensi.” (Yokaana 4:42) Omukazi Omusamaliya atuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri gye tusaanidde okuwa obujulirwa ku Yesu. Tusaanidde okuleetera abalala okwagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Yesu.

Kijjukire nti ebulayo emyezi ena amakungula gatuuke, oboolyawo amakungula ga ssayiri agabaawo mu kitundu ekyo ng’ekiseera eky’obutiti kiweddeko. Kati guyinza okuba nga mwezi gwa Noovemba oba Ddesemba. Kino kitegeeza nti oluvannyuma lw’embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 30 E.E., Yesu n’abayigirizwa be bamaze mu Buyudaaya emyezi munaana oba n’okusingawo, nga babuulira era nga babatiza. Kati boolekedde Ggaliraaya, ekitundu ky’ewaabwe ekiri mu bukiikakkono. Biki ebinaabaayo?

ABASAMALIYA BAALI BAANI?

Ekitundu ekiyitibwa Samaliya kyali wakati wa Buyudaaya ku ludda olw’ebukiikaddyo ne Ggaliraaya ku ludda olw’ebukiikakkono.

Kabaka Sulemaani bwe yafa, ebika ekkumi ebya Isirayiri byekutula ku kika kya Yuda n’ekya Benyamini. Abantu ab’omu bika bya Isirayiri ekkumi baatandika okusinza ennyana, era mu 740 E.E.T., Yakuwa yaleka Abaasuli okuwamba Samaliya. Baasengula abantu b’omu Samaliya, mu bitundu byabwe ne basenzaamu abantu b’omu bitundu ebirala eby’omu ttwale lya Bwasuli. Abantu bano abaali basinza bakatonda abalala, baafumbiriganwa n’Abayisirayiri abaasigala mu Samaliya. N’ekyavaamu, abantu abo baatandikawo okusinza okwali kuwagira ebimu ku ebyo ebiri mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, gamba ng’okukomola. Wadde kyali kityo, okusinza kwabwe tekwali kwa mazima.​—2 Bassekabaka 17:9-33; Isaaya 9:9.

Mu kiseera kya Yesu, Abasamaliya baali bakkiririza mu bitabo Musa bye yawandiika naye nga tebasinziza mu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi. Okumala emyaka egiwera, baali basinziza mu yeekaalu eyali ku Lusozi? Gerizimu olwali okumpi ne Sukali, era ne bwe yazikirizibwa beeyongera okusinziza ku lusozi olwo. Mu kiseera kya Yesu, Abasamaliya n’Abayudaaya baali tebakolagana.​—Yokaana 8:48.

  • Lwaki omukazi Omusamaliya kimwewuunyisa nnyo Yesu okwogera naye?

  • Kiki Yesu ky’ayigiriza omukazi oyo ku mazzi agwa obulamu n’ekifo eky’okusinzizaamu Katonda?

  • Yesu yabuulira atya omukazi Omusamaliya ekyo ky’ali, ne ku bikwata ku kusinza Katonda kw’asiima?

  • Omukazi Omusamaliya ategeera nti Yesu yandiba ani, era akolawo ki?

  • Kiki Yesu n’abayigirizwa be kye babadde bakola oluvannyuma lw’embaga ey’Okuyitako ey’omwaka 30 E.E.?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share