ESSOMO 77
Ayogera n’Omukazi ku Luzzi
Oluvannyuma lw’embaga ey’Okuyitako, Yesu n’abayigirizwa be baayita mu Samaliya nga baddayo e Ggaliraaya. Bwe baatuuka okumpi n’ekibuga Sukali, Yesu yawummulirako ku luzzi lwa Yakobo. Bwe yali awo ng’awummuddemu, abayigirizwa be baagenda mu kibuga okugula eby’okulya.
Omukazi yajja ku luzzi okusena amazzi. Yesu yagamba omukazi oyo nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.” Omukazi yamugamba nti: ‘Lwaki oyogera nange? Ndi mukazi Musamaliya. Abayudaaya teboogera na Basamaliya.’ Yesu yamuddamu nti: ‘Singa obadde omanyi kye ndi, wandibadde onsaba, ne nkuwa amazzi agawa obulamu.’ Omukazi yamuddamu nti: ‘Otegeeza ki? Tolina na kalobo ka kusenesa mazzi.’ Yesu yamugamba nti: ‘Buli anywa ku mazzi ge ngaba tajja kuddamu kulumwa nnyonta.’ Omukazi yamugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago.”
Oluvannyuma Yesu yamugamba nti: “Genda oyite omwami wo.” Omukazi yamuddamu nti: ‘Sirina mwami.’ Yesu yamugamba nti: ‘Oyogedde mazima. Kubanga waakabeera n’abaami bataano, era omusajja gw’oli naye kati si mwami wo.’ Omukazi yamugamba nti: ‘Nkiraba nti oli nnabbi. Abantu bange bakkiriza nti Katonda tusobola okumusinziza ku lusozi luno, naye ate Abayudaaya bagamba nti tulina kumusinziza Yerusaalemi yokka. Nzikiriza nti Masiya bw’anajja, ajja kutuyigiriza engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda.’ Awo Yesu yagamba omukazi oyo ekintu kye yali tagambangako muntu yenna. Yamugamba nti: ‘Nze Masiya.’
Omukazi yayanguwa n’agenda n’agamba Abasamaliya abaali mu kibuga nti: ‘Kirabika nzudde Masiya. Amanyi byonna ebinkwatako. Mujje mumulabe!’ Abasamaliya abo baagoberera omukazi oyo ne bagenda ku luzzi ne bawuliriza Yesu.
Abasamaliya baasaba Yesu asigale mu kibuga kyabwe. Yesu yamala ennaku bbiri ng’ayigiriza mu kibuga ky’Abasamaliya, era abantu bangi baamukkiririzaamu. Baagamba omukazi Omusamaliya nti: ‘Okusinziira ku ebyo ffe kennyini bye tuwulidde ng’omusajja ono ayigiriza, tukakasizza nti omusajja ono ddala ye mulokozi w’ensi.’
“‘Jjangu!’ Era buli alumwa ennyonta ajje; buli ayagala atwale amazzi ag’obulamu ku bwereere.”—Okubikkulirwa 22:17