LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 22 lup. 58-lup. 59 kat. 6
  • Abayigirizwa Bana Ba Kufuuka Bavubi b’Abantu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abayigirizwa Bana Ba Kufuuka Bavubi b’Abantu
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Yalwanyisa Okutya n’Okubuusabuusa
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yesu Alabikira Abavubi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • ‘Mugende Mufuule Abayigirizwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Oli Mwetegefu Okuba Omuvubi w’Abantu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 22 lup. 58-lup. 59 kat. 6
Yesu ng’ayogera ne Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana ku lubalama lw’Ennyanja y’e Ggaliraaya

ESSUULA 22

Abayigirizwa Bana Ba Kufuuka Bavubi b’Abantu

MATAYO 4:13-22 MAKKO 1:16-20 LUKKA 5:1-11

  • YESU AGAMBA ABAYIGIRIZWA OKUMUGOBERERA EKISEERA KYONNA

  • ABAVUBI B’EBY’ENNYANJA BAFUUKA ABAVUBI B’ABANTU

Abantu b’e Nazaaleesi bwe bagezaako okutta Yesu, avaayo n’agenda e Kaperunawumu okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya era eyitibwa “ennyanja ey’e Genesaleeti.” (Lukka 5:1) Kino kituukiriza obunnabbi obuli mu kitabo kya Isaaya, obugamba nti abantu b’omu Ggaliraaya ababeera okumpi n’ennyanja bandirabye ekitangaala.​—Isaaya 9:1, 2.

Ng’ali mu Ggaliraaya, Yesu yeeyongera okulangirira nti “Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” (Matayo 4:17) Yesu asisinkana abayigirizwa be bana. Baatambulanga ne Yesu naye bwe baava e Buyudaaya, bo ne baddayo ku mulimu gwabwe ogw’okuvuba. (Yokaana 1:35-42) Naye kati balina okutambula naye ekiseera kyonna asobole okubatendeka mu mulimu gw’okubuulira, gwe bajja okusigala nga bakola ng’agenze.

Yesu bw’aba atambulira ku lubalama lw’ennyanja, alaba Simooni Peetero, muganda we Andereya, ne bannaabwe abalala nga booza obutimba bwabwe. Yesu alinnya eryato lya Peetero era amusaba alyongereyoko mu nnyanja. Bw’alyongerayo, Yesu atuula era n’atandika okuyigiriza ekibiina ky’abantu abakuŋŋaanidde ku lubalama ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.

Oluvannyuma, Yesu agamba Peetero nti: “Eryato lyongereyo mu buziba, era musuule obutimba bwammwe muvube.” Peetero amuddamu nti: “Omuyigiriza, twateganye ekiro kyonna ne tutakwasa kantu, naye olw’okuba ggwe oyogedde, nja kusuula obutimba.”​—Lukka 5:4, 5.

Andereya, Yakobo, ne Yokaana nga basika akatimba okukateeka mu lyato; Peetero ng’afukamidde awali Yesu

Basuula obutimba bwabwe ne bakwasa eby’ennyanja bingi nnyo era obutimba bwabwe ne butandika n’okuyulika! Amangu ddala bawenya ku bannaabwe abali mu lyato eddala bajje babayambe. Amaato gombi gajjula eby’ennyanja era gatandika okubbira. Peetero bw’alaba kino, afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti: “Va we ndi Mukama wange kubanga ndi muntu mwonoonyi.” Yesu amuddamu nti: “Totya. Okuva leero ojja kuvubanga bantu.”​—Lukka 5:8, 10.

Yesu agamba Peetero ne Andereya nti: “Mungoberere, nja kubafuula abavubi b’abantu.” (Matayo 4:19) Ku abo agattako abavubi abalala babiri, Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebedaayo. Nabo basitukiramu ne bamugoberera. Abayigirizwa bano abana baleka omulimu gwabwe ogw’okuvuba, ne bafuuka abagoberezi ba Yesu ab’ekiseera kyonna abasookedde ddala.

  • Abantu Yesu b’ayita okuba abagoberezi be ab’ekiseera kyonna bakola mulimu ki, era be baani?

  • Kyamagero ki ekireetera Peetero okutya?

  • Abayigirizwa ba Yesu abana bagenda kutandika kuvuba ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share