LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 92 lup. 214-lup. 215 kat. 1
  • Yesu Alabikira Abavubi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Alabikira Abavubi
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Ku Lubalama lw’Ennyanja y’e Ggaliraaya
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yalwanyisa Okutya n’Okubuusabuusa
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Abayigirizwa Bana Ba Kufuuka Bavubi b’Abantu
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 92 lup. 214-lup. 215 kat. 1
Yesu ayogera eri abayigirizwa be nga bw’akalirira ebyennyanja ku muliro

ESSOMO 92

Yesu Alabikira Abavubi

Nga wayise ekiseera oluvannyuma lwa Yesu okulabikira abatume, Peetero yasalawo okugenda okuvuba ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Tomasi, Yakobo, Yokaana, n’abamu ku bayigirizwa ba Yesu abalala baagenda naye. Baamala ekiro kyonna ku nnyanja naye tebaakwasaayo kyennyanja na kimu.

Enkeera ku makya, baalaba omusajja ng’ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja. Yabakoowoola n’abagamba nti: ‘Mukutteyo ku byennyanja?’ Baamuddamu nti: “Nedda!” Omusajja yabagamba nti: “Musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato.” Ekyo bwe baakikola, akatimba kajjula ebyennyanja ne batasobola na kukasikayo. Amangu ago Yokaana yakitegeera nti omusajja oyo yali Yesu, era n’agamba nti: “Oyo Mukama waffe!” Amangu ago, Peetero yabuuka n’agwa mu mazzi n’awuga n’atuuka ku lukalu. Abayigirizwa abalala bo bajjira mu lyato.

Bwe baatuuka ku lubalama, baalaba omuliro nga kuliko ebyennyanja n’omugaati. Yesu yabagamba baleete ebimu ku byennyanja bye baali bakutte babyongerezeeko. Oluvannyuma yabagamba nti: ‘Mujje tulye eky’enkya.’

Peetero ava mu lyato n’asisinkana Yesu ku lukalu, abayigirizwa abalala basigala mu lyato ne libatuusa ku lukalu

Bwe baamala okulya eky’enkya, Yesu yabuuza Peetero nti: ‘Onjagala okusinga omulimu gw’okuvuba?’ Peetero yamuddamu nti: ‘Yee, Mukama wange.’ Yesu yamugamba nti: “Liisanga endiga zange.” Yesu yaddamu n’abuuza Peetero nti: ‘Onjagala?’ Peetero yamuddamu nti: ‘Mukama wange okimanyi nti nkwagala.’ Yesu yamugamba nti: “Lundanga endiga zange.” Yesu yabuuza Peetero omulundi ogw’okusatu nti: “Onjagala?” Ekyo kyanakuwaza Peetero n’agamba nti: “Mukama wange, omanyi ebintu byonna; okimanyi nti nkwagala.” Yesu yamugamba nti: “Liisanga endiga zange.” Era yagamba Peetero nti: “Weeyongere okungoberera.”

“[Yesu] n’abagamba nti: ‘Mungoberere, nja kubafuula abavubi b’abantu.’ Amangu ago ne baleka awo obutimba bwabwe ne bamugoberera.”​—Matayo 4:19, 20

Ebibuuzo: Kyamagero ki Yesu kye yakolera abavubi? Olowooza lwaki Yesu yabuuza Peetero emirundi esatu nti: “Onjagala?”

Yokaana 21:1-19, 25; Ebikolwa 1:1-3

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share