ESSUULA 23
Yesu Akola Ebyamagero Bingi e Kaperunawumu
MATAYO 8:14-17 MAKKO 1:21-34 LUKKA 4:31-41
YESU AGOBA DAYIMOONI
MAAMA WA MUKA PEETERO AWONYEZEBWA
Yesu yaakamala okugamba abayigirizwa be bana—Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana—okufuuka abavubi b’abantu. Ku Ssabbiiti, ye n’abayigirizwa be bagenda mu kkuŋŋaaniro ery’omu Kaperunawumu. Yesu ayigiriza era abantu bawuniikirira olw’engeri gy’ayigirizaamu. Abayigiriza ng’alina obuyinza so si ng’abawandiisi.
Ku Ssabbiiti eno, mu kkuŋŋaaniro mulimu omusajja aliko dayimooni. Atandika okuleekaana ng’agamba nti: “Otulanga ki ggwe Yesu Omunnazaaleesi? Wajja kutuzikiriza? Nkumanyi, ggwe Mutukuvu wa Katonda.” Yesu aboggolera dayimooni eri ku musajja oyo ng’agigamba nti: “Sirika, era muveeko!”—Makko 1:24, 25.
Dayimooni esuula omusajja oyo wansi n’asansagala era n’erekaana nnyo. Naye emuvaako nga “temukozeeko kabi.” (Lukka 4:35) Abantu abali mu kkuŋŋaaniro beewuunya nnyo! Beebuuza nti, “Kiki kino? . . . Alina n’obuyinza okulagira emyoyo emibi ne gimugondera.” (Makko 1:27) Tekyewuunyisa nti amawulire gano gabuna wonna mu Ggaliraaya.
Yesu n’abayigirizwa be bwe bava mu kkuŋŋaaniro, bagenda mu maka ga Simooni ayitibwa Peetero. Basanga maama wa muka Peetero ng’omusujja gumuluma nnyo era ne basaba Yesu amuwonye. Yesu agenda w’ali era amukwata ku mukono n’amuyimusa. Amangu ago awona era atandika okuweereza Yesu n’abayigirizwa, oboolyawo ng’abafumbira ekijjulo.
Ng’enjuba eneetera okugwa, abantu bangi baleeta abalwadde baabwe ewa Peetero. Mu kaseera katono, kumpi abantu okuva mu kibuga kyonna bajjula ku mulyango gw’ennyumba. Lwaki? Kubanga baagala Yesu awonye abalwadde baabwe. Mu butuufu, ‘abo bonna abalina abalwadde ab’endwadde ez’enjawulo babamuleetera; n’abawonya ng’assa emikono ku buli omu ku bo.’ (Lukka 4:40) Ka bube bulwadde ki abantu bwe balina, Yesu abawonya nga bwe kyalagulwa. (Isaaya 53:4) Ate era agoba dayimooni ku bantu. Dayimooni ziva ku bantu nga zireekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda.” (Lukka 4:41) Naye Yesu aziboggolera n’atazikkiriza kwogera. Zikimanyi nti Yesu ye Kristo, naye tayagala zeefuule nti ziweereza Katonda ow’amazima.