Amakuŋŋaaniro Yesu n’Abayigirizwa Be Mwe Baabuuliranga
“N’agenda mu Ggaliraaya yonna ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng’abuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka.”—MATAYO 4:23.
EMIRUNDI mingi, Enjiri zoogera ku Yesu ng’ali mu kkuŋŋaaniro. Ne bwe yabanga mu Nazaaleesi, akabuga mwe yakulira, oba mu Kaperunawumu, ekibuga gye yabeeranga, oba mu bibuga n’ebyalo bye yagendangamu mu kiseera eky’emyaka esatu n’ekitundu egy’obuweereza bwe, Yesu yagendanga mu makuŋŋaaniro okubuulira n’okuyigiriza ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Mu butuufu, bwe yali ayogera ku buweereza bwe, Yesu yagamba nti: “Bulijjo njigiriza mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu Abayudaaya bonna gye bakuŋŋaanira.”—Yokaana 18:20.
Mu ngeri y’emu, abatume ba Yesu n’Abakristaayo abalala ab’omu kyasa ekyasooka bayigirizanga mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya. Naye, kyajja kitya Abayudaaya okutandika okusinziza mu makuŋŋaaniro? Era ebizimbe ebyo byali bifaanana bitya mu kiseera kya Yesu? Ka twetegereze bwe byali.
Ekintu Ekyali Ekikulu Ennyo mu Bulamu bw’Abayudaaya Emirundi esatu buli mwaka, abasajja Abayudaaya baagendanga e Yerusaalemi okukwata embaga ezaabanga mu Yeekaalu entukuvu. Kyokka, baalina amakuŋŋaaniro ge baasinzizangamu mu bifo gye baabeeranga, ka kibe mu Palesitayini oba mu bitundu ebirala.
Amakuŋŋaaniro ago gaatandika ddi okukozesebwa? Abamu bagamba nti gaatandika okukozesebwa mu kiseera Abayudaaya we baatwalibwa mu buwambe e Babulooni (607-537 E.E.T., ng’Embala Eno Tennatandika), nga Yeekaalu ya Yakuwa ezikiriziddwa. Oba gayinza okuba nga gaatandika okukozesebwa amangu ddala ng’Abayudaaya bakomyewo okuva mu buwambe, ekiseera Ezera kabona we yakubiririza abantu be okufuna okumanya okusingawo okukwata ku mateeka ga Katonda.—Ezera 7:10; 8:1-8; 10:3.
Mu kusooka, ekigambo ekyavvuunulwa “ekkuŋŋaaniro” kyali kitegeeza “olukuŋŋaana” oba “ekibiina ky’abantu.” Ekigambo ekyo kyakozesebwa bwe kityo mu nkyusa ya Septuagint (Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyavvuunulwa mu Luyonaani.) Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera, abantu baatandika okukozesa ekigambo ekyo nga bategeeza ebizimbe mwe baakuŋŋaaniranga okusinza. Ekyasa ekyasooka we kyatuukira, kumpi mu buli kabuga Yesu ke yagendamu mwalimu ekkuŋŋaaniro. Ebibuga ebinene byalimu amakuŋŋaaniro agawerako, ate mu Yerusaalemi mwalimu mangi. Ebizimbe ebyo byazimbibwanga bitya?
Ebizimbe Ebitonotono eby’Okusinzizaamu Nga bateekateeka okuzimba ekkuŋŋaaniro, Abayudaaya baanoonyanga ekifo ekigulumivu ne bazimbako ekkuŋŋaaniro ng’omulyango gwalyo (1) bagutunuzza e Yerusaalemi. Naye kirabika amakuŋŋaaniro gonna tegaazimbibwanga mu ngeri eyo kubanga oluusi kyalinga tekisoboka.
Amakuŋŋaaniro ago gaalinga matonotono era nga tegaliimu bintu bingi nnyo. Naye ekintu ekikulu ekyabanga mu makuŋŋaaniro ago, ye ssanduuko (2), oba ekintu omwaterekebwanga emizingo egy’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, abantu gye baatwalanga okuba egy’omuwendo ennyo. Bwe waabangawo olukuŋŋaana, essanduuko eyo yaggibwangayo n’ebaako w’eteekebwa ate oluvannyuma n’ezzibwayo mu kifo kyayo ng’olukuŋŋaana luwedde (3).
Okumpi n’essanduuko, waabangawo entebe ezaabanga mu maaso (4) ezaatuulwangako abakulu b’ekkuŋŋaaniro n’abagenyi ab’ekitiibwa. (Matayo 23:5, 6) Mu makkati g’ekuŋŋaaniro, waabangawo ekituuti nga kuliko akameeza n’entebe ebyakozesebwanga omwogezi (5). Waabangawo n’entebe endala abantu ze baatuulangako nga batunudde ku kituuti (6).
Emirundi egisinga obungi, abo abaakuŋŋaaniranga mu kkuŋŋaaniro be baalirabiriranga. Ebyo ebyaweebwangayo kyeyagalire abantu bonna, abagagga n’abaavu, bye byakozesebwanga okukuuma ekuŋŋaaniro nga liri mu mbeera nnungi. Ate kwo okusinza kwabanga kutya mu kkuŋŋaaniro?
Okusinza mu Makuŋŋaaniro Okusinza kwabangamu okutendereza, okusaba, okusoma Ebyawandiikibwa, okuyigiriza n’okubuulira. Abantu baatandikanga olukuŋŋaana nga basaba essaala eyitibwa Shema, ekyali kitegeeza okwatula okukkiriza okw’Ekiyudaaya. Erinnya lino lyaggyibwa mu kigambo ekisooka mu kyawandiikibwa kye baasomanga ekigamba nti: “Wulira [Shema], ggwe Isiraeri: Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu:”—Ekyamateeka 6:4, NW.
Oluvannyuma lw’ekyo, waabangawo okusoma n’okunnyonnyola Torah, ebitabo ebitaano ebisooka mu Baibuli, ebyawandiikibwa Musa. (Ebikolwa 15:21) Ng’okusoma okwo kuwedde, baasomanga ebyo ebyawandiikibwa bannabbi (haftarahs) ne babinnyonnyola era ne balaga engeri y’okubikolerako. Emirundi egimu, aboogezi abaabanga bakyadde be baasomanga ebyawandiikibwa ebyo nga Yesu bwe yakola ku mulundi ogwogerwako mu Lukka 4:16-21.
Kya lwatu, obutafaananako Baibuli eziriwo leero, omuzingo Yesu gwe yaweebwa okusoma mu lukuŋŋaana tegwalimu ssuula wadde ennyiriri. Bwe kityo tusobola okukuba akafaananyi nga Yesu azingulula omuzingo okutuusa lwe yatuuka ku kitundu kye yali anoonya. Oluvannyuma lw’okusoma, omuzingo gwaddamu okuzingibwa.
Emirundi egisinga obungi, bye baasomanga byabanga mu Lwebbulaniya ne bikyusibwa mu Lulamayiki. Ebibiina ebyali byogera Oluyonaani byakozesanga Septuagint.
Ekintu Ekyali Ekikulu mu Bulamu Bwabwe Obwa Bulijjo Ekkuŋŋaaniro awamu n’ebizimbe ebirala ebyali bikookeddwako oba ebyo ebyali bizimbiddwa okumpi nalyo, ebyakozesebwanga mu ngeri ezitali zimu, byali bikulu nnyo mu bulamu bw’Abayudaaya obwa bulijjo. Emirundi egimu, byakuŋŋaanirwangamu okuwulira emisango, byabangamu enkiiko z’ebitundu era n’enkuŋŋaana ennene ezaabangako ebijjulo ebyagabulirwanga mu bisenge ebiriirwamu emmere. Oluusi abagenyi baasuzibwanga mu bisenge by’omu kkuŋŋaaniro.
Kumpi mu buli kibuga, amakuŋŋaaniro ago gaabangako essomero oluusi nga libeera mu kizimbe kyennyini eky’ekkuŋŋaaniro. Tuyinza okukuba akafaananyi ng’abayizi batudde mu kibiina nga bayigirizibwa okusoma ennukuta omusomesa z’awandiise ku lubaawo. Amasomero ago gaayamba nnyo Abayudaaya ab’edda okuyiga okusoma n’okuwandiika, era eyo ye nsonga lwaki abantu aba bulijjo baali bamanyi Ebyawandiikibwa.
Wadde kyali kityo, ekigendererwa ekikulu eky’amakuŋŋaaniro ago kyali kya kugasinzizaamu. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti enkuŋŋaana z’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka zaalina bingi bye zifaanaganya n’ezo ezaabanga mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya. Okufaananako enkuŋŋaana ezo, ekigendererwa ky’enkuŋŋaana z’Abakristaayo kyali kya kusinza Yakuwa nga bayimba ennyimba ezitendereza, nga basaba, nga basoma Ekigambo kya Katonda era nga bakikubaganyaako ebirowoozo. Ebyo si bye byokka enkuŋŋaana ezo bye zaali zifaanaganya. Mu nkuŋŋaana z’Abakristaayo n’ez’Abayudaaya, abantu baawangayo kyeyagalire okusobola okukola ku byetaago ebitali bimu; enkizo ey’okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukikubaganyaako ebirowoozo teyaweebwanga bakulembeze ba ddiini bokka; abasajja abakadde be baalinanga obuvunaanyizibwa obw’okutegeka n’okukubiriza enkuŋŋaana ezo.
Leero, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okugoberera ekyokulabirako Yesu n’abagoberezi be ab’omu kyasa ekyasooka kye bassaawo. Enkuŋŋaana zaabwe ezibeera mu Bizimbe by’Obwakabaka, zifaananako n’ezo ezaabanga mu makuŋŋaaniro ag’edda. N’ekisinga byonna, Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana nga balina ekigendererwa kye kimu n’eky’abaweereza ba Katonda ab’edda, kwe kugamba, ‘okusemberera Katonda.’—Yakobo 4:8.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16, 17]
Ekizimbe kino kyaddamu okuzimbibwa nga bagoberera enzimba y’Ekkuŋŋaaniro ly’e Gamla ery’omu kyasa ekyasooka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Abaana ab’obulenzi abaasomeranga mu masomero agaabanga mu makuŋŋaaniro baabanga ba myaka 6 okutuuka ku 13