ESSUULA 48
Akola Ebyamagero, Naye Ne Mu Nazaaleesi Bagaana Okumukkiriza
MATAYO 9:27-34; 13:54-58 MAKKO 6:1-6
YESU AWONYA ABAZIBE B’AMAASO N’OMUNTU ATAYOGERA
ABANTU MU NAZAALEESI TEBAMUKKIRIZA
Yesu amaze olunaku lulamba ng’akola ebintu ebitali bimu. Bwe yavudde mu bitundu by’e Dekapoli, yawonyezza omukazi omulwadde w’ekikulukuto ky’omusaayi era n’azuukiza muwala wa Yayiro. Naye olunaku terunnaggwako. Yesu bw’aba ava ewa Yayiro, abasajja babiri abazibe b’amaaso bamugoberera nga bwe boogerera waggulu nti: “Tusaasire, Omwana wa Dawudi.”—Matayo 9:27.
Mu kuyita Yesu “Omwana wa Dawudi,” abasajja abo bakiraga nti bakkiriza nti Yesu ye musika w’entebe ya Dawudi era nti ye Masiya. Yesu asooka n’aba ng’atabafaako, oboolyawo ng’ayagala okulaba obanga abasajja abo tebaalekulire. Mu butuufu, abasajja abo tebalekulira. Yesu bw’ayingira mu nnyumba, abasajja abo ababiri bamugoberera nabo ne bayingira. Yesu ababuuza nti: “Mukkiriza nti nsobola okubawonya?” Bamuddamu nti: “Yee, Mukama waffe.” Awo Yesu akwata ku maaso gaabwe n’agamba nti: “Olw’okukkiriza kwammwe, ka kibeere bwe kityo.”—Matayo 9:28, 29.
Abasajja abo batandika okulaba! Nga Yesu bw’aze akola, ne ku mulundi guno agamba abasajja abo obutabaako muntu yenna gwe babuulira. Naye olw’okuba basanyuse nnyo, abasajja abo babuulira abantu mu kitundu kyonna ebikwata ku Yesu.
Abasajja abo ababiri bwe baba bagenda, abantu baleetera Yesu omusajja atasobola kwogera olw’okuba aliko dayimooni. Yesu amugobako dayimooni era amangu ago omusajja oyo n’atandika okwogera. Abantu beewuunya nnyo ne bagamba nti: “Kino tekirabwangako mu Isirayiri.” Abafalisaayo nabo weebali. Tebasobola kugamba nti ekyamagero ekyo tekibaddeewo. Bwe kityo, baddamu okwogera obubi ku Yesu nga bagamba nti: “Agoba dayimooni ng’akozesa maanyi g’omufuzi wa badayimooni.”—Matayo 9:33, 34.
Wayita ekiseera kitono, Yesu n’addayo e Nazaaleesi gye yakulira era agenda n’abayigirizwa be. Omwaka nga gumu emabega, Yesu yayigiriza mu kkuŋŋaaniro ery’e Nazaaleesi. Mu kusooka abantu beewuunya nnyo olw’ebyo bye yayogera, naye oluvannyuma ne bamwefuulira ne baagala n’okumutta. Kati Yesu ayagala kugezaako okuddamu okuyamba abantu ab’omu Nazaaleesi.
Ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza. Bangi beewuunya nnyo era ne beebuuza nti: “Omusajja ono yaggya wa amagezi gano n’obusobozi bw’okukola ebyamagero ebyo?” Bagamba nti: “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maama we si ye Maliyamu, era Yakobo, Yusufu, Simooni ne Yuda si be baganda be? Ne bannyina bonna tebali naffe? Kati olwo yaggya wa ebintu bino byonna?”—Matayo 13:54-56.
Abantu batwala Yesu ng’omuntu owa bulijjo. Olw’okuba akuze bamulaba, tebamusuubira kuba nti ye Masiya. N’olwekyo, wadde nga Yesu ayoleka amagezi ag’ekitalo era ng’akola ebyamagero bingi, bagaana okumukkiriza. Mu butuufu, n’ab’eŋŋanda za Yesu bagaana okumukkiriza. Eyo ye nsonga lwaki Yesu agamba nti: “Nnabbi assibwamu ekitiibwa wonna, okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu nnyumba ye.”—Matayo 13:57.
Yesu yeewunya nnyo abantu abo olw’obutaba na kukkiriza. Bwe kityo, asalawo obutabakolera kyamagero kyonna “okuggyako okussa emikono ku balwadde abatonotono n’abawonya.”—Makko 6:5, 6.