ESSUULA 41
Ebyamagero—Abikola mu Maanyi g’Ani?
MATAYO 12:22-32 MAKKO 3:19-30 LUKKA 8:1-3
- ABUULIRA MU BITUNDU BY’E GGALIRAAYA OMULUNDI OGW’OKUBIRI 
- AGOBA DAYIMOONI ERA ALABULA KU KIBI EKITASONYIYIBWA 
Oluvannyuma lw’okwogera ku kusonyiwa ng’ali mu maka g’Omufalisaayo ayitibwa Simooni, Yesu atandika okubuulira mu bitundu by’e Ggaliraaya omulundi ogw’okubiri. Guno mwaka gwa kubiri bukya atandika obuweereza bwe, era tali yekka. Ali wamu n’abatume be 12, era ali wamu n’abamu ku bakazi be ‘yagobako emyoyo emibi era n’abawonya endwadde.’ (Lukka 8:2) Mu bakazi abo mwe muli Maliyamu Magudaleena, Susaana, ne Yowaana, mukyala w’omukungu wa Kabaka Kerode Antipa.
Abantu bangi bwe beeyongera okumanya ebikwata ku Yesu, beeyongera okuba n’endowooza ez’enjawulo ku ebyo by’akola. Ekyo kyeyoleka bulungi Yesu bw’awonya omusajja abadde aliko dayimooni, nga muzibe, era nga tasobola kwogera. Kati omusajja oyo takyatawaanyizibwa dayimooni, alaba, era ayogera. Abantu beewuunya nnyo, ne bagamba nti: “Ono taba nga ye Mwana wa Dawudi?”—Matayo 12:23.
Abantu abakuŋŋaanidde ku nju Yesu mw’abeera bangi nnyo ne kiba nti ye n’abayigirizwa be tebasobola na kulya mmere. Kyokka, si bonna abaliwo nti bakkiriza nti Yesu ye “Mwana wa Dawudi” eyasuubizibwa. Waliwo abawandiisi n’Abafalisaayo abavudde e Yerusaalemi naye ng’ekibaleese, si kuwuliriza Yesu wadde okumuwagira. Bagamba abantu nti: “Alina Beeruzebuli,” bwe batyo ne balaga nti Yesu akolagana ‘n’omufuzi wa badayimooni.’ (Makko 3:22) Ab’eŋŋanda za Yesu bwe bawulira ebintu abantu bye boogera, bajja okukwata Yesu. Lwaki baagala okumukwata?
Mu kiseera kino, baganda ba Yesu tebannaba kukkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda. (Yokaana 7:5) Yesu, kati aleetedde abantu okukyankalana, si ye Yesu gwe bamanyi gwe baakula naye e Nazaaleesi. Olw’okuba balowooza nti Yesu aliko ekikyamu ku mutwe, bagamba nti: “Atabuse omutwe.”—Makko 3:21.
Naye obukakafu bulaga ki? Yesu yaakamala okuwonya omusajja aliko dayimooni, era kati omusajja oyo alaba era ayogera. Ekyo tewali n’omu asobola kukiwakanya. Kati, abawandiisi n’Abafalisaayo bagezaako okufeebya Yesu nga bamwogerako eby’obulimba. Bagamba nti: “Omuntu ono agoba dayimooni ng’akozesa maanyi ga Beeruzebuli, omufuzi wa badayimooni.”—Matayo 12:24.
Yesu amanyi ekyo abawandiisi n’Abafalisaayo kye balowooza, bw’atyo agamba nti: “Obwakabaka obweyawulamu buzikirira era n’ekibuga oba amaka ebyeyawulamu bizikirira. Ne Sitaani bw’agoba Sitaani aba yeeyawuddemu; kati olwo obwakabaka bwe buba bunaayimirirawo butya?”—Matayo 12:25, 26.
Ng’ebigambo ebyo bituukirawo! Abafalisaayo bakimanyi bulungi nti Abayudaaya abamu balina enkola ey’okugoba dayimooni. (Ebikolwa 19:13) Bwe kityo, Yesu ababuuza nti: “Bwe mba ngoba dayimooni nga nkozesa maanyi ga Beeruzebuli, abaana bammwe bazigoba bakozesa maanyi g’ani?” Mu ngeri endala, ebyo bye boogedde bikwata ku bo bennyini. Yesu agattako nti: “Naye bwe mba nga ngoba dayimooni nga nkozesa omwoyo gwa Katonda, Obwakabaka bwa Katonda mubusubiddwa.”—Matayo 12:27, 28.
Okusobola okulaga nti okugoba dayimooni bukakafu obulaga nti Sitaani tamulinaako buyinza, Yesu agamba nti: “Omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omusajja ow’amaanyi n’abbamu ebintu bye? Aba alina kusooka kumusiba n’alyoka anyaga eby’omu nnyumba ye. Oyo atali ku ludda lwange aba mulabe wange, era n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange aba asaasaanya.” (Matayo 12:29, 30) Kyeyoleka lwatu nti abawandiisi n’Abafalisaayo baziyiza Yesu, bwe kityo ne kyeraga lwatu nti babaka ba Sitaani. Basaasaanya abantu okubaggya ku Mwana wa Katonda, akola ebintu mu maanyi ga Yakuwa.
Yesu alabula ababaka ba Sitaani abo ng’agamba nti: “Ebintu byonna bijja kusonyiyibwa abaana b’abantu, ka bibeere bibi bya ngeri ki, oba kuvvoola kwa ngeri ki kwe bavvoola. Naye oyo yenna avvoola omwoyo omutukuvu talisonyiyibwa emirembe gyonna naye aba n’ekibi emirembe n’emirembe.” (Makko 3:28, 29) Nga kiba kya kabi nnyo eri omuntu yenna okuddira ebintu ebikoleddwa olw’omwoyo gwa Katonda n’agamba nti bikoleddwa mu maanyi ga Sitaani!