LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 9/1 lup. 17-21
  • “Tewali Muntu Eyali Ayogedde bw’Atyo”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Tewali Muntu Eyali Ayogedde bw’Atyo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okuyigiriza mu Ngeri Ennyangu era Etegeerekeka
  • Okukozesa Ebibuuzo
  • Okusavuwaza mu Bugenderevu
  • Okunnyonnyola mu Ngeri Ematiza
  • Yesu Abikkula “Amagezi Agava eri Katonda”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • ‘Mbateereddewo Ekyokulabirako’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Okuyigiriza okw’Oku Lusozi Okumanyiddwa Ennyo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Ebyamagero—Abikola mu Maanyi g’Ani?
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 9/1 lup. 17-21

“Tewali Muntu Eyali Ayogedde bw’Atyo”

‘Bonna ne bamutenda, era ne beewuunya olw’ebigambo ebirungi ebivudde mu kamwa ke.’​—LUKKA 4:22.

1, 2. (a) Lwaki abambowa abaatumibwa okukwata Yesu baddayo ngalo nsa? (b) Kiki ekiraga nti abambowa si be bokka abaawuniikirira olw’okuyigiriza kwa Yesu?

ABAMBOWA baalemererwa okutuukiriza omulimu ogwali gubaweereddwa okukola. Baali batumiddwa okukwata Yesu Kristo, naye baddayo ngalo nsa. Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baayagala okumanya ‘kiki ekibalobedde okumuleeta?’ Mazima ddala, lwaki abambowa baalemererwa okukwata omusajja eyali tasobola nakwerwanako? Abambowa baagamba: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” Okuyigiriza kwa Yesu kwabawuniikiriza nnyo ne balemererwa okukwata omusajja oyo eyali ow’eddembe bw’atyo okumutwala mu kkomera.a​—Yokaana 7:32, 45, 46.

2 Abambowa abo si be bokka abaawuniikirira olw’okuyigiriza kwa Yesu. Baibuli etutegeeza nti ebibiina by’abantu byagendanga okumuwuliriza ng’ayogera. Abantu b’omu kibuga ky’ewaabwe beewuunya nnyo ‘olw’ebigambo ebirungi ebyavanga mu kamwa ke.’ (Lukka 4:22) Emirundi egisukka mu gumu, yayima mu lyato n’ayogera eri ebibiina by’abantu ebinene ennyo ebyali ku lubalama lw’Ennyanja e Ggaliraaya. (Makko 3:9; 4:1; Lukka 5:1-3) Olumu, ‘ekibiina ky’abantu ekinene’ kyali naye okumala ennaku nnyingi nga n’okulya tebalya mmere.​—Makko 8:1, 2.

3. Kiki ekyasinga okuleetera Yesu okubeera omuyigiriza omulungi ennyo?

3 Kiki ekyaleetera Yesu okubeera omuyigiriza omulungi ennyo? Okwagala kwe yalina kwe kwamusobozesa okubeera omuyigiriza omulungi. Yesu yayagala amazima ge yali abuulira, era n’abantu be yali ayigiriza. Naye era, Yesu yali asobola okukozesa engeri ennungi ennyo ez’okuyigiriza. Mu magazini eno tujja kwekenneenya ezimu ku ngeri ennungi ze yakozesa era n’engeri gye tuyinza okumukoppa.

Okuyigiriza mu Ngeri Ennyangu era Etegeerekeka

4, 5. (a) Lwaki Yesu yakozesa ebigambo ebyangu okutegeera mu kuyigiriza kwe, era lwaki kyewuunyisa nti yabikozesenga? (b) Mu ngeri ki Okubuulira okw’Oku Lusozi gye kwolekamu engeri ennyangu Yesu gye yayigirizaamu?

4 Kya bulijjo abantu abayivu ennyo okwogera eri abo ababawuliriza nga bakozesa ebigambo ebizibu okutegeera. Naye singa bye twogera tebitegeerekeka eri abo abatuwuliriza, bayinza batya okuganyulwa mu bye tubayigiriza? Ng’omuyigiriza, Yesu teyayogera bigambo ebyazibuwaliranga abalala okutegeera. Lowooza ku bigambo ebizibu bye yandibadde asobola okukozesa. Kyokka, wadde nga yali amanyi bingi nnyo, teyeefaako yekka, wabula, yafaangayo nnyo ku abo abaamuwulirizanga. Yamanya nti bangi ku bo baali bantu ‘ba bulijjo era abataali bayigirize.’ (Ebikolwa 4:13) Okusobola okubatuuka ku mitima, yakozesanga ebigambo abantu abo bye baali basobola okutegeera. Ebigambo bye yakozesa biyinza okuba nga byali byangu okutegeera, kyokka byayoleka okumanya okw’ekitalo n’amagezi bye yalina.

5 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kubuulira okw’Oku Lusozi, okwogerwako mu Matayo 5:3–7:27. Kiyinzika okuba nga kyatwalira Yesu eddakiika 20 zokka okuwa okubuulira okwo. Kyokka, ng’okuyigiriza okuli mu kubuulira okwo, kwa makulu nnyo era kutuukira ddala ku kinyusi ky’ensonga gye yali ayogerako, gamba ng’ey’obwenzi, okugattulula obufumbo n’okwagala ebintu. (Matayo 5:27-32; 6:19-34) Kyokka, ebigambo bye yakozesa tebyali bizibu kutegeera era tebyalimu kweraga kwa ngeri yonna. Mazima ddala, kumpi temwalimu kigambo na kimu ekyandizibuwalidde wadde omwana omuto okutegeera! N’olwekyo, tekyewuunyisa nti bwe yamala okuyigiriza ebibiina​—kirabika ebyalimu abalimi, abasumba, n’abavubi​—‘beewuunya engeri gye yayigirizaamu’!​—Matayo 7:28.

6. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yesu gye yayogeramu ebigambo ebyangu okutegeera naye nga bya makulu nnyo.

6 Yesu yakozesanga ebigambo ebimpi, era ebyangu okutegeera kyokka nga bya makulu nnyo. Wadde nga mu kiseera kye yayigiririzaamu tewaaliwo bitabo, ng’akozesa ebigambo ebyangu okutegeera mu kuyigiriza kwe, yasobola okutuusa obubaka bwe ku mitima gy’abo abaali bamuwuliriza. Weetegereze ebyokulabirako ebimu: “Tewali muntu ayinza okuweereza abaami babiri; . . . temuyinza kuweereza Katonda [n’eby’obugagga].” “Temusalanga musango muleme okusalirwa.” “Mulibategeerera ku bibala byabwe.” “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.” “Abo bonna abakwata ekitala, balifa kitala.” “Ebya Kayisaali mubi[we]nga Kayisaali, n’ebya Katonda mubi[we]nga Katonda.” “Mu kugaba mulimu essanyu lingi okusinga mu kuweebwa.”b (Matayo 6:24; 7:1, 20; 9:12; 26:52; Makko 12:17; Ebikolwa 20:35, NW) Na guno gujwa, wadde nga wayiseewo emyaka nga 2,000 bukya Yesu ayogera bigambo ebyo, tukyasobola okujjukira ebigambo ebyo eby’amaanyi.

Okukozesa Ebibuuzo

7. Lwaki Yesu yabuuzanga ebibuuzo?

7 Yesu yakozesa bulungi ebibuuzo. Oluusi yabikozesanga wadde nga kyandibadde kyangu okutegeeza obutegeeza abo abaali bamuwuliriza ensonga enkulu. Kati olwo lwaki yabuuzanga ebibuuzo? Emirundi egimu yakozesanga ebibuuzo ebisonsomola okusobola okwanika ebiruubirirwa by’abo abaali bamuziyiza, era mu ngeri eyo, n’abasirisa. (Matayo 12:24-30; 21:23-27; 22:41-46) Kyokka, emirundi mingi, Yesu yabuuzanga ebibuuzo okusobola okuyigiriza amazima, okuleetera abamuwuliriza okwogera ebiri mu mitima gyabwe, n’okubayamba okulowooza. Ka twekenneenye ebyokulabirako bibiri, nga byombi bikwata ku mutume Peetero.

8, 9. Yesu yakozesa atya ebibuuzo okusobola okuyamba Peetero okutegeera obulungi ensonga y’okusasula emisolo gya yeekaalu?

8 Okusooka, jjukira ekiseera abawooza lwe baabuuza Peetero oba nga Yesu asasula emisolo gya yeekaalu.c Olw’okuba ebiseera ebimu Peetero teyasookanga kulowooza, yaddamu nti “Awa.” Kyokka, nga wayiseewo akabanga katono, Yesu yakubaganya naye ebirowoozo era n’amubuuza: “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b’ensi bawooza oba basolooza bantu ki? [B]aana baabwe nantiki bannaggwanga? N’agamba nti Bannaggwanga. Yesu n’amugamba nti Kale abaana ba ddembe.” (Matayo 17:24-27) Peetero yandibadde asobola bulungi okutegeera ensonga lwaki Yesu yamubuuza ebibuuzo. Lwaki?

9 Mu kiseera kya Yesu, ab’omu lulyo olulangira tebaasasulanga misolo. N’olwekyo, ng’Omwana eyazaalibwa omu yekka owa Kabaka ow’omu ggulu, eyali asinzibwa mu yeekaalu, Yesu yali tasaanidde kusasula misolo. Weetegereze nti, mu kifo ky’okubuulira Peetero eky’okuddamu ekituufu, Yesu yakozesa ebibuuzo okusobola okuyamba Peetero okutegeera ensonga entuufu​—era oboolyawo n’okumulaga nti asaanidde okusooka okulowooza nga tannabaako ky’ayogera.

10, 11. Yesu yakola ki Peetero bwe yatemako okutu kw’omusajja mu kiro eky’embaga ey’Okuyitako eya 33 C.E., era ekyo kiraga kitya nti Yesu yali amanyi omugaso oguli mu kukozesa ebibuuzo?

10 Ekyokulabirako eky’okubiri kikwata ku ebyo ebyaliwo ekiro ku mbaga ey’Okuyitako mu 33 C.E., ekibiina ky’abantu bwe kyajja okukwata Yesu. Abayigirizwa be baamubuuza oba nga kibagwanidde okumutaasa. (Lukka 22:49) Nga Yesu tannabaako na ky’addamu, Peetero yatemako okutu kw’omusajja omu n’ekitala kye (wadde nga kiyinzika okuba nti Peetero yali ayagala okutuusa ku musajja oyo ebisago ebisingawo). Peetero yeeyisa mu ngeri mukama we gye yali tayagala, kubanga Yesu yali mwetegefu okwewaayo bamukwate. Yesu yakola ki? Mu bukkakkamu, yabuuza Peetero ebibuuzo bisatu: “Ekikompe Kitange ky’ampadde si kinywe?” “Olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n’ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n’ebbiri? Kale binaatuukirira bitya Ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe kityo?”​—Yokaana 18:11; Matayo 26:52-54.

11 Fumiitirizaako katono ku ebyo ebyaliwo. Yesu, nga yeetooloddwa ekibiina ky’abantu abanyiivu, yamanya nti okufa kwe kwali kusembedde era nti okuggya ekivume ku linnya lya Kitaawe awamu n’okulokolebwa kw’abantu, bwali buvunaanyizibwa bwe. Kyokka, wadde nga kyali bwe kityo, mu kiseera ekyo kyennyini, yategeeza Peetero amazima amakulu ennyo ng’akozesa ebibuuzo. Ekyo tekiraga nti Yesu yamanya omugaso oguli mu kukozesa ebibuuzo?

Okusavuwaza mu Bugenderevu

12, 13. (a) Okusavuwaza mu bugenderevu kukozesebwa kutya? (b) Yesu yakozesa atya engeri eyo okuggumiza nga bwe kiri eky’obusiru okukuliriza obusobyosobyo bwa baganda baffe?

12 Mu buweereza bwe, Yesu yateranga okukozesa engeri endala ennungi ennyo ey’okuyigiriza​—okusavuwaza mu bugenderevu. Engeri eno ekozesebwa ng’oyagala okuggumiza ensonga. Ng’akozesa engeri eno, Yesu yasobozesa abantu okukuba mu birowoozo byabwe ebifaananyi, ebyali ebizibu okwerabira. Ka twekenneenye ebyokulabirako ebitonotono.

13 Mu Kubuulira okw’Oku Lusozi, bwe yali aggumiza ensonga ‘ey’obutasalira balala musango,’ Yesu yagamba: “Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe?” (Matayo 7:1-3) Oyinza okukuba ekifaananyi ku kino? Omuntu atunuulira ennyo ensobi z’abalala, ayagala okuggya akantu akali mu “liiso” lya muganda we. Omuntu ng’oyo ayinza okugamba nti muganda we tasobola kulaba bulungi nsonga. Kyokka nga ye kennyini talina busobozi bwa kulaba bulungi kubanga ku liiso lye kuliko “enjaliiro,” kwe kugamba, omuti omunene oguyinza okukozesebwa okuwanirira akasolya k’ennyumba. Eyo nga ngeri nnungi nnyo ey’okuggumiza nga bwe kiri eky’obusiru okukuliriza obusobyosobyo bwa baganda baffe ng’ate ffe tuyinza okuba nga tulina ensobi ez’amaanyi n’okubasinga!

14. Lwaki ebigambo bya Yesu eby’okusengejja ensiri n’okumira eŋŋamira yali ngeri nnungi nnyo ey’okuyigiriza?

14 Ku mulundi omulala, Yesu yalangira Abafalisaayo okuba “abasaale abazibe b’amaaso abasengejja ensiri, ne bamira eŋŋamira.” (Matayo 23:24) Mazima ddala, kuno kwali kusavuwaza kwa maanyi nnyo. Lwaki? Enjawulo eri wakati w’ensiri n’eŋŋamira, ekimu ku bisolo ebyali bisingayo obunene era ebyali bimanyiddwa eri abo abaali bamuwuliriza, yali yeewuunyisa nnyo. Kiteeberezebwa nti kiyinza okwetaagisa ensiri obukadde 70 okusobola okuweza obuzito bw’eŋŋamira ey’ekigero! Era Yesu yali akimanyi nti Abafalisaayo baasengejjanga omwenge gwabwe nga bakozesa akasengejja ak’olugoye. Abasajja abo abaali bakalambira ku mateeka, ekyo baakikolanga baleme okumira ensiri eyandibaletedde obutaba balongoofu. Naye ng’ate, mu ngeri ey’akabonero, baamiranga eŋŋamira ng’ate nayo teyali nnongoofu. (Abaleevi 11:4, 21-24) Ensonga Yesu gye yali ayogerako, yali etegeerekeka bulungi. Abafalisaayo baakwatanga butiribiri ebintu ebitono ennyo ebyali bibeetaagisibwa mu mateeka, naye ne basuula muguluka ebintu ebisingayo obukulu​—“obwenkanya n’obusaasizi n’obwesigwa.” (Matayo 23:23, NW) Yesu nga yayatuukiririza ddala ekyo kyennyini kye baali!

15. Biki Yesu bye yayigiriza ng’akozesa okusavuwaza?

15 Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yateranga okukozesa engeri eyo ey’okusavuwaza mu bugenderevu. Weekenneenye ebyokulabirako ebimu. “Okukkiriza okwenkana ng’akaweke [akatono ennyo] aka kaladaali” okuyinza okusiguukulula olusozi​—eyo yali ngeri nnungi nnyo Yesu gye yakozesa okuggumiza nti wadde okukkiriza okutono ennyo, kuyinza okutuukiriza ebintu ebikulu. (Matayo 17:20) Eŋŋamira ennene ennyo egezaako okuyingira mu nnyindo y’empiso​—ekyo nga kiraga bulungi nnyo obuzibu omuntu omugagga bw’aba nabwo, bw’agezaako okuweereza Katonda naye ate obulamu bwe ng’abumalidde mu kunoonya bintu! (Matayo 19:24) Teweewuunya engeri ennungi Yesu gye yayogerangamu era n’obusobozi bwe yalina obw’okutuuka ku nsonga ng’akozesa ebigambo ebitono ennyo?

Okunnyonnyola mu Ngeri Ematiza

16. Mu ngeri ki Yesu gye yakozesaamu obukugu bwe?

16 Olw’okuba yali atuukiridde, Yesu yali mukugu mu kunnyonnyola abantu mu ngeri ematiza. Kyokka, teyakozesa bubi busobozi obwo. Mu kuyigiriza kwe, yakozesanga obukugu bwe yalina okusobola okutumbula amazima. Ebiseera ebimu, yannyonnyolanga mu ngeri ey’amagezi okusobola okwetegula eby’obulimba bannaddiini abaali bamuziyiza bye baamwogerangako. Emirundi mingi, yannyonnyolanga mu ngeri ey’amagezi okusobola okuyigiriza abayigirizwa be ebintu ebikulu. Ka tulabe obukugu Yesu bwe yalina mu kunnyonnyola mu ngeri ematiza.

17, 18. Yesu yannyonnyola atya mu ngeri ematiza okulaga nti Abafalisaayo bye baali bamuvunaana byali bya bulimba?

17 Lowooza ku kiseera Yesu lwe yawonya omusajja eyaliko dayimooni ng’ate muzibe w’amaaso era nga tasobola kwogera. Abafalisaayo bwe baakiwulira, baagamba: “Oyo tagoba dayimooni, wabula ku bwa Beeruzebuli [Setaani] omukulu wa dayimooni.” Weetegereze nti Abafalisaayo bakkiriza nti amaanyi agatali ga buntu gaali geetaagisa okusobola okugoba badayimooni ba Setaani. Kyokka, olw’okuba baali tebaagala bantu bakkirize Yesu, baagamba nti amaanyi ge yali akozesa gaali ga Setaani. Okusobola okulaga nti baali tebalowoozeza bulungi ku ebyo bye baali boogera, Yesu yabaddamu: “Buli bwakabaka bwe bwawukana bwokka na bwokka buzika; na buli kibuga oba nnyumba bw’eyawukana yokka na yokka terirwawo: ne Setaani bw’agoba Setaani ayawukana yekka na yekka; n’obwakabaka bwe bulirwawo butya?” (Matayo 12:22-26) Mu ngeri endala, Yesu yali agamba: ‘Singa mbadde nga bwe mugamba, nti ndi mubaka wa Setaani, nga nsimbulula Setaani bye yateekawo, olwo nno Setaani yandibadde yeewakanya yekka na yekka era mangu ddala, ebibye byandisaanyewo.’ Eyo teyali nnyinyonnyola ematiza?

18 Ate era Yesu yeeyongera okunnyonnyola ensonga eno. Yali akimanyi nti abamu ku bayigirizwa b’Abafalisaayo baali bagobyeko dayimooni. N’olwekyo, yabuuza ekibuuzo ekyangu naye nga kya maanyi: “Oba nga nze ngoba dayimooni ku lwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw’ani?” (Matayo 12:27) Yesu kye yali ategeeza kye kino: ‘Bwe kiba nti mazima ddala dayimooni nzigoba nga nkozesa maanyi ga Setaani, olwo nno abayigirizwa bammwe nabo bateekwa okuba nga bakozesa amaanyi ge gamu ago.’ Kiki Abafalisaayo kye baali basobola okwogera? Baali tebasobola kukkiriza nti abayigirizwa baabwe bakozesa maanyi ga Setaani. Ng’abannyonnyola mu ngeri ematiza, Yesu yalaga nti bye baali boogera tebyali bya magezi.

19, 20. (a) Yesu yannyonnyola atya mu ngeri esikiriza? (b) Yesu yakozesa atya ebigambo ‘temusinga nnyo’ okuggumiza ensonga bwe yali addamu okusaba kw’abayigirizwa be okw’okubayigiriza engeri y’okusaba?

19 Ng’oggyeko okunnyonnyola mu ngeri ematiza, okusobola okusirisa abaali bamuziyiza, Yesu era yayogeranga mu ngeri esikiriza okusobola okuyigiriza amazima agakwata ku Yakuwa. Emirundi mingi, yayogeranga ng’akoze ebigambo ‘temusinga nnyo’ okusobola okuggumiza ensonga, era n’okuyamba abaali bamuwuliriza okweyongera okumanya amazima. Ka twekenneenye ebyokulabirako bibiri byokka.

20 Bwe yali addamu okusaba kw’abayigirizwa be okw’okubayigiriza engeri y’okusabamu, Yesu yababuulira olugero olw’omusajja eyaweebwa kye yali ayagala “olw’okwetayirira” mukwano gwe eyali tayagala kumuyamba. Yesu era yayogera ku kwagala abazadde kwe babeera nakwo ‘okw’okuwa abaana baabwe ebirabo ebirungi.’ Awo n’alyoka akomekkereza ng’agamba: ‘Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa omwoyo omutukuvu abamusaba.’ (Lukka 11:1-13) Ensonga Yesu gye yaggyayo teyeesigamiziddwa ku kufaanagana wabula ku njawulo eriwo. Bwe kiba nti omuntu eyali tayagala kuyamba mukwano gwe yasobola okuwalirizibwa n’amukolera kye yamusaba, era bwe kiba nti abazadde abatatuukiridde basobola okukola ku byetaago by’abaana baabwe, kati olwo, Kitaffe ali mu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu abaweereza be abeesigwa era abamutuukirira mu kusaba!

21, 22. (a) Yesu yannyonnyola atya mu ngeri ematiza bwe yali awa okubuulirira ku kwolekagana n’okweraliikirira okukwata ku kufuna ebintu? (b) Oluvannyuma lw’okwekenneenya engeri ezimu Yesu ze yakozesa ng’ayigiriza, tuyinza kuwunzika nga tugamba ki?

21 Yesu yakozesa engeri y’emu ng’awa okubuulirira okukwata ku ngeri y’okwolekaganamu n’okweraliikirira okukwata ku kufuna ebintu. Yagamba: ‘Mulowooze bannamuŋŋoona, bwe batasiga so tebakungula; abatalina tterekero, newakubadde eggwanika; era Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi? Mulabe amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye, naye Katonda bw’ayambaza bw’atyo omuddo ogw’oku ttale, ogubaawo leero, enkya nga bagusuula ku kikoomi; talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?’ (Lukka 12:24, 27, 28) Yee, bwe kiba nti Yakuwa alabirira ebinnyonyi n’omuddo, talisingawo nnyo okulabirira abaweereza be! Awatali kubuusabuusa, okunnyonnyola ng’okwo mu ngeri ematiza, kwatuukira ddala mu mitima gy’abantu abaali bawuliriza Yesu.

22 Oluvannyuma lw’okwekenneenya engeri ezimu Yesu ze yakozesa ng’ayigiriza, tusobola okuwunzika nga tugamba nti abambowa abo abaalemererwa okukwata Yesu, baali tebasavuwaza busavuwaza bwe baagamba: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” Naye engeri y’okuyigiriza Yesu gy’asinga okumanyibwa okukozesa, yeeyo ey’okukozesa ebyokulabirako oba engero. Lwaki yakozesa engeri eno? Era kiki ekyaleetera ebyokulabirako bye oba engero ze, okuba nga bimatiza? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Kirabika abambowa abo baali batumiddwa Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya era nga baali wansi w’obuyinza bwa bakabona abakulu.

b Ekyokulabirako ekisembyeyo ekiri mu Ebikolwa 20:35, Pawulo yekka ye yakijulizaako, wadde ng’amakulu agali mu bigambo ebyo gasangibwa mu Njiri zonna. Kiyinzika okuba nti Pawulo yategeezebwa ebigambo ebyo (oboolyawo omuyigirizwa omulala eyawulira nga Yesu abyogera oba okuva eri Yesu kennyini eyali azuukidde) oba okuyitira mu kwolesebwa.​—Ebikolwa 22:6-15; 1 Abakkolinso 15:6, 8.

c Abayudaaya baali balina okusasula emisolo gya yeekaalu buli mwaka, egiwerera ddala ediderakima bbiri (nga zenkanankana n’empeera y’omukozi ey’ennaku ebbiri). Essente ezo zaakozesebwanga okuddaabiriza yeekaalu, okukola ku mirimu egyakolebwangayo, n’okugula eby’okuwaayo nga ssaddaaka ku lw’eggwanga.

Ojjukira?

• Byakulabirako ki ebiraga nti Yesu yayigiriza mu ngeri ennyangu era etegeerekeka?

• Lwaki Yesu yakozesa ebibuuzo mu kuyigiriza kwe?

• Okusavuwaza mu bugenderevu kukozesebwa kutya, era Yesu yakozesa atya engeri eno ey’okuyigiriza?

• Yesu yannyonnyola atya mu ngeri ematiza okuyigiriza abayigirizwa be amazima agakwata ku Yakuwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Abafalisaayo ‘baasengejja ensiri naye ne bamira eŋŋamira’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share