LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 21 lup. 251-262
  • Yesu Abikkula “Amagezi Agava eri Katonda”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Abikkula “Amagezi Agava eri Katonda”
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bye Yayigiriza
  • Engeri Gye Yayigirizaamu
  • Engeri Gye Yeeyisaamu
  • ‘Jjangu Ongoberere’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • “Awatali Lugero Teyabagamba Kigambo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Okumanya “Endowooza ya Kristo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • ‘Mbateereddewo Ekyokulabirako’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 21 lup. 251-262
Yesu ng’ayigiriza ekibiina ky’abantu.

ESSUULA 21

Yesu Abikkula “Amagezi Agava eri Katonda”

1-3. Abaaliko baliraanwa ba Yesu baakola ki bwe baawulira bye yayigiriza, era baalemererwa kutegeera ki?

ABAALI bawuliriza Yesu baawuniikirira. Yali ayimiridde mu maaso gaabwe mu kkuŋŋaaniro era ng’abayigiriza. Abantu abo baali bamumanyi bulungi kubanga yali akulidde mu kibuga kyabwe, era ng’amaze emyaka mingi ng’abajjira mu kibuga ekyo. Oboolyawo abamu baali babeera mu nnyumba ezaazimbisibwa ebyo Yesu bye yabajja oba baalimanga ennimiro zaabwe nga bakozesa enkumbi n’ebikoligo bye yakola.a Naye bandikoze ki nga bawulidde omusajja oyo eyali omubazzi ng’ayigiriza?

2 Abasinga obungi ku abo abaali bawuliriza Yesu ng’ayigiriza baawuniikirira era ne babuuza nti: “Ono yaggya wa amagezi gano?” Era baagattako nti: “Ono si ye mubazzi, mutabani wa Maliyamu.” (Matayo 13:54-58; Makko 6:1-3) Eky’ennaku, abantu abo abaaliko baliraanwa ba Yesu bayinza okuba muli baagamba nti, ‘Omubazzi ono muntu wa bulijjo nga ffe.’ Wadde ng’ebigambo bye yayogera byali bya magezi, tebaamukkiriza. Baali tebamanyi wa gye yaggya magezi ago.

3 Naye Yesu yaggya wa amagezi ago? Yagamba nti: “Bye njigiriza si byange, wabula by’oyo eyantuma.” (Yokaana 7:16) Omutume Pawulo yagamba nti Yesu “afuuse gye tuli amagezi agava eri Katonda.” (1 Abakkolinso 1:30) Amagezi ga Yakuwa gaabikkulwa okuyitira mu Mwana we, Yesu. Mazima ddala, ekyo kituufu kuba Yesu yatuuka n’okugamba nti: “Nze ne Kitange tuli omu.” (Yokaana 10:30) Ka tulabe engeri ssatu Yesu mwe yayolekera “amagezi agava eri Katonda.”

Bye Yayigiriza

4. (a) Obubaka bwa Yesu bwalina mutwe ki, era lwaki omutwe ogwo gwali mukulu? (b) Lwaki amagezi Yesu ge yawa gaaganyulanga nnyo abo abaali bamuwuliriza?

4 Esooka, lowooza ku ebyo Yesu bye yayigiriza. Omutwe gw’obubaka bwe gwali “amawulire amalungi ag’Obwakabaka.” (Lukka 4:43) Omutwe ogwo gwali mukulu nnyo kubanga okuyitira mu Bwakabaka obwo Katonda ajja kuggya ekivume ku linnya lye, ajja kukiraga nti ye Mufuzi asingayo obulungi, era ajja kufuula ensi olusuku lwe abantu bagibeeremu emirembe gyonna. Mu ebyo bye yayigiriza, Yesu era yawa amagezi amalungi ku ngeri y’okweyisaamu. Yakiraga nti ye ‘Muwi w’Amagezi ow’Ekitalo’ eyayogerwako mu bunnabbi. (Isaaya 9:6) Lwaki Yesu yali ayigiriza bulungi nnyo? Yali amanyi bulungi nnyo Ekigambo kya Katonda, ebyo Katonda by’ayagala, embeera z’abantu, era ng’ayagala nnyo abantu. N’olwekyo, amagezi ge yawanga gaabanga ga muganyulo nnyo eri abaali bamuwuliriza. Yesu yayogera “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” Mazima ddala, bwe tukolera ku magezi ge yawa tusobola okufuna obulokozi.—Yokaana 6:68.

5. Bintu ki ebimu Yesu bye yayogerako mu Kubuulira okw’Oku Lusozi?

5 Okubuulira okw’Oku Lusozi kyakulabirako ekyoleka amagezi ag’ekitalo agali mu ebyo Yesu bye yayigirizanga. Ebiri mu Matayo 5:3–7:27 biyinza okwogerwa mu ddakiika 20 zokka. Kyokka okubuulirira okwo kugasa ekiseera kyonna, kwe kugamba, kukyali kwa muganyulo nga bwe kwali nga kwakasooka okuweebwa. Yesu yayogera ku bintu bingi nnyo, nga mw’otwalidde n’engeri gye tusaanidde okukolaganamu n’abalala. (5:23-26, 38-42; 7:1-5, 12), okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa (5:27-32), era n’okutambuzaamu obulamu bwaffe mu ngeri ey’amakulu (6:19-24; 7:24-27). Yesu teyakoma ku kubuulira baali bamuwuliriza engeri gye baalina okweyisaamu, naye era yababuulira ensonga lwaki baalina okweyisa bwe batyo era n’abawa n’ebyokulabirako.

6-8. (a) Yesu yatuwa nsonga ki ezituyamba obuteeraliikirira? (b) Kiki ekiraga nti okubuulirira kwa Yesu kwoleka amagezi agava waggulu?

6 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kubuulirira kwa Yesu okukwata ku kweraliikirira ebintu okusangibwa mu Matayo essuula 6. Yagamba nti: “Mulekere awo okweraliikirira ebikwata ku bulamu bwammwe nti munaalya ki oba nti munaanywa ki, oba ebikwata ku mibiri gyammwe nti munaayambala ki?” (Olunyiriri 25) Emmere n’eby’okwambala byetaagisa, era kya mu butonde okwagala okufuna ebintu ebyo. Naye Yesu yagamba nti: “Mulekere awo okweraliikirira” ebintu ng’ebyo.b Lwaki?

7 Yesu yannyonnyola abaali abamuwuliriza ensonga lwaki tebaalina kweraliikirira. Okuva Yakuwa bwe yatuwa obulamu n’omubiri, tayinza kutuwa mmere ebeesaawo obulamu obwo n’engoye ez’okwambaza omubiri ogwo? (Olunyiriri 25) Bwe kiba nti Katonda awa ebinnyonnyi emmere n’awa n’ebimuli eby’okwambala ebirabika obulungi, taafeeyo nnyo n’okusingawo ku bantu be abamusinza! (Ennyiriri 26, 28-30) N’olwekyo, okweraliikirira ekisukkiridde tekulina makulu. Tekuyinza kwongera ku kiseera kye tuwangaala.c (Olunyiriri 27) Tuyinza tutya okwewala okweraliikirira? Yesu yatukubiriza okukulembeza okusinza Katonda mu bulamu bwaffe. Abo abakola bwe batyo, baba bakakafu nti ebyetaago byabwe ebya buli lunaku Kitaabwe ow’omu ggulu ajja ‘kubibongerako.’ (Olunyiriri 33) Oluvannyuma Yesu yatukubiriza okulowooza ku byetaago eby’olunaku oluliwo. Tetusaanidde kweraliikirira ebinaabaawo enkya. (Olunyiriri 34) Ng’oggyeeko ekyo, ebintu bye weeraliikirira biyinza n’obutabaawo. Okukolera ku magezi ago kiyinza okutuwonya obulumi bungi mu nsi eno ejjudde ebizibu.

8 Kya lwatu, okubuulirira kwa Yesu okwo kukyali kwa muganyulo n’okutuusa leero era nga bwe kwali emyaka nga 2,000 emabega. Obwo si bujulizi obulaga amagezi agava waggulu? N’amagezi amalungi ennyo ag’abawi b’amagezi ekiseera kituuka ne galongoosebwamu oba ne gava ku mulembe. Kyokka na guno gujwa, ebyo Yesu bye yayigiriza bikyali bya muganyulo nnyo. Naye ekyo tekyanditwewunyisizza kubanga Omuwi w’Amagezi ono ow’Ekitalo yayogeranga ‘ebigambo bya Katonda.’—Yokaana 3:34.

Engeri Gye Yayigirizaamu

9. Abasirikale abamu baayogera ki ku ngeri Yesu gye yayigirizaamu, era lwaki bye baayogera tekwali kusavuwaza?

9 Engeri ey’okubiri Yesu mwe yayolekera amagezi ga Katonda ye ngeri gye yayigirizangamu. Lumu abasirikale abaasindikibwa okumukwata baddayo ngalo nsa nga bagamba nti: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” (Yokaana 7:45, 46) Kuno tekwali kusavuwaza. Mu bantu bonna abaali babaddewo, Yesu eyava ‘mu ggulu,’ y’asinga okuba n’okumanya okungi era n’obumanyirivu. (Yokaana 8:23) Mu butuufu, tewali muntu ayinza kuyigiriza nga Yesu bwe yayigirizanga. Weetegereze engeri bbiri Omuyigiriza ono ow’amagezi ze yakozesa.

“Ekibiina ky’abantu ne kiwuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu”

10, 11. (a) Lwaki ebyokulabirako Yesu bye yakozesa byakwata ku bantu? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti engero za Yesu nnungi nnyo mu kuyigiriza?

10 Yakozesa bulungi ebyokulabirako. Bayibuli egamba nti: “Ebintu . . . byonna Yesu yabibuulira abantu mu ngero. Mu butuufu, teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero.” (Matayo 13:34) Mazima ddala engeri Yesu gye yakozesaamu ebintu ebya bulijjo okuyigiriza abantu ebintu ebikulu ennyo yeewuunyisa nnyo! Yakozesa ebintu abaali bamuyigiriza bye baali bamanyi obulungi, gamba nga, abalimi nga basiga ensigo, abakazi nga bateekateeka okufumba emigaati, abaana nga bazannyira mu katale, abavubi nga bavuba, n’abasumba nga banoonya endiga zaabwe. Okuyigiriza abantu ebintu ebikulu ng’okozesa ebyokulabirako by’ebintu bye bamanyi obulungi, kikwata nnyo ku mitima gyabwe.—Matayo 11:16-19; 13:3-8, 33, 47-50; 18:12-14.

11 Emirundi mingi Yesu yakozesa engero okuyigiriza abantu ebikwata ku mpisa oba ku bintu eby’omwoyo. Okuva engero bwe ziri ennyangu okutegeera n’okujjukira, zaayambanga abantu okujjukira ebyo Yesu bye yayigirizanga. Mu ngero nnyingi, Yesu yayogera ku Kitaawe ng’akozesa ebyokulabirako ebyali bitayinza kwerabirwa mangu. Ng’ekyokulabirako, ani atayinza kutegeera makulu gali mu lugero lw’omwana omujaajaamya, olulaga nti omuntu bw’akola ensobi naye ne yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa amusaasira era n’amusonyiwa?—Lukka 15:11-32.

12. (a) Yesu yakozesa atya ebibuuzo mu kuyigiriza? (b) Yesu yasirisa atya abo abaali babuusabuusa obuyinza bwe?

12 Yakozesa bulungi ebibuuzo. Yesu yakozesa ebibuuzo okuyamba abaali bamuwuliriza okufumiitiriza n’okwekebera. (Matayo 12:24-30; 17:24-27; 22:41-46) Abakulembeze b’eddiini bwe baamubuuza obanga yalina obuyinza okuva eri Katonda, yabaddamu nti: “Yokaana yaggya wa obuyinza okubatiza, mu ggulu oba mu bantu”? Baawuniikirira olw’ekibuuzo ekyo, era ne bagambagana bokka na bokka nti: “Singa tugamba nti ‘Yabuggya mu ggulu,’ ajja kugamba nti, ‘Lwaki temwamukkiriza?’ Oba tugambe nti ‘Yabuggya mu bantu?’ Baatya okwogera bwe batyo olw’ekibiina ky’abantu kubanga abantu abo bonna baali bakitwala nti Yokaana yali nnabbi.” Ku nkomerero baamugamba nti: “Tetumanyi.” (Makko 11:27-33; Matayo 21:23-27) Ng’akozesa ekibuuzo ekyangu, Yesu yabasirisa era n’ayanika enkwe ezaali mu mitima gyabwe.

13-15. Olugero olw’Omusamaliya lwoleka lutya amagezi ga Yesu?

13 Emirundi egimu Yesu yakozesezanga ebibuuzo n’ebyokulabirako okuyamba abantu okufumiitiriza. Munnamateeka Omuyudaaya bwe yamubuuza ekyali kyetaagisa okufuna obulamu obutaggwaawo, Yesu yamugamba okukwata Amateeka ga Musa, agalagira okwagala Katonda ne muliraanwa. Ng’ayagala okweraga nti mutuukirivu, omusajja oyo yabuuza Yesu nti: “Muliraanwa wange y’ani?” Yesu yamuddamu ng’amubuulira olugero luno. Omusajja Omuyudaaya yali atambula yekka, n’agwa mu batemu ne bamukuba emiggo ne bamuleka ng’abulako katono okufa. Awo Abayudaaya babiri ne bajja, okusooka kabona ate oluvannyuma Omuleevi. Bombi baamwebalama. Oluvannyuma Omusamaliya naye y’ajja. Yamukwatirwa ekisa era n’amusiba ebiwundu n’amutwala mu kisulo ky’abagenyi okujjanjabibwa asobole okudda engulu. Ku nkomerero y’olugero, Yesu yabuuza omusajja oyo nti: “Ani ku bantu bano abasatu eyalaga nti ye yali muliraanwa w’omuntu oyo eyagwa mu banyazi?” Omusajja yaddamu “Oyo eyamulaga obusaasizi.”—Lukka 10:25-37.

14 Olugero olwo lwoleka lutya amagezi ga Yesu? Mu kiseera kya Yesu, Abayudaaya baakozesanga ekigambo “muliraanwa” ku abo bokka abaagobereranga obulombolombo bwabwe. Abasamaliya tebaabatwalanga kuba baliraanwa baabwe. (Yokaana 4:9) Singa mu lugero lwa Yesu Omusamaliya ye yakubibwa era n’ajjanjabibwa Omuyudaaya, ekyo kyandibaggyeemu obusosoze? Mu ngeri ey’amagezi, yagera olugero ng’Omusamaliya y’ajjanjaba Omuyudaaya. Ate era ekibuuzo Yesu kye yabuuza ku nkomerero y’olugero kyalaga ani eyandiyitiddwa “muliraanwa.” Munnamateeka yali ayagala okumanya ani gwe yali asaanidde okutwala nga muliraanwa we. N’olwekyo Yesu yabuuza nti: “Ani ku bantu bano abasatu eyalaga nti ye yali muliraanwa w’omuntu oyo eyagwa mu banyazi?” Yesu essira teyalissa ku oyo eyalagibwa ekisa, eyakubibwa abatemu, naye ku Musamaliya, oyo eyalaga ekisa. Muliraanwa ow’amazima abaako ky’akolawo okulaga abalala okwagala ka babe ba ggwanga ki. Ensonga eno Yesu yagiraga bulungi nnyo mu lugero luno.

15 Tekyewuunyisa nti abantu baawuniikirira ‘olw’engeri Yesu gye yali ayigirizaamu’ era baayagalanga nnyo okumuwuliriza. (Matayo 7:28, 29) Era lumu abantu bangi baali naye okumala ennaku ssatu nga tebalidde na mmere!—Makko 8:1, 2.

Engeri Gye Yeeyisaamu

16. Yesu yalaga atya nti alina amagezi agava eri Katonda?

16 Engeri ey’okusatu Yesu mwe yayolekera amagezi ga Yakuwa, ye ngeri gye yeeyisaamu. Omuntu ow’amagezi by’akola biba birungi. Omuyigirizwa Yakobo yabuuza nti: “Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe?” Yaddamu ekibuuzo kye ng’agamba nti: “Empisa ze ennungi ka zikirage.” (Yakobo 3:13, The New English Bible) Yesu yeeyisa mu ngeri eraga nti yalina amagezi ga Katonda. Ka tulabe engeri gye yasalawo mu ngeri ey’amagezi mu bulamu bwe era n’engeri gye yayisaamu abalala.

17. Biki ebiraga nti Yesu teyagwa lubege mu bulamu bwe?

17 Wali okyetegerezza nti abantu abatasalawo mu ngeri ey’amagezi emirundi mingi bagwa olubege mu bye bakola? Mu butuufu, kyetaagisa amagezi obutagwa lubege. Olw’okuba Yesu yalina amagezi agava eri Katonda, teyagwa lubege n’akamu. Yakulembezanga ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwe. Yeemalira ku mulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi. Yagamba nti: “Kino kye kyandeeta.” (Makko 1:38) Ebintu si bye yali atwala ng’ebisinga obukulu gy’ali; kirabika yalina ebintu bitono nnyo. (Matayo 8:20) Kyokka teyali muntu atayagala kusanyukamu. Okufaananako Kitaawe, “Katonda omusanyufu,” Yesu yali muntu omusanyufu, era yayongeranga ne ku ssanyu ly’abalala. (1 Timoseewo 1:11; 6:15) Bwe yagenda ku mbaga emu, omukolo ogwaliko okuyimba n’okusanyuka, teyamalako bantu ssanyu lyabwe. Omwenge bwe gwaggwaawo, yafuula amazzi omwenge, ekintu ‘ekisanyusa emitima gy’abantu.’ (Zabbuli 104:15; Yokaana 2:1-11) Yesu bwe yayitibwanga ku bijjulo teyagaananga, era emirundi mingi yakozesanga akakisa ako okuyigiriza.—Lukka 10:38-42; 14:1-6.

18. Yesu yalaga atya endowooza ennuŋŋamu mu ngeri gye yayisaamu abayigirizwa be?

18 Yesu yayoleka endowooza ennuŋŋamu mu ngeri gye yayisangamu abalala. Olw’okuba yali amanyi bulungi engeri abantu gye baakolebwamu, yali ategeera bulungi abayigirizwa be. Yali akimanyi nti tebatuukiridde. Kyokka yalaba engeri zaabwe ennungi. Yakiraba nti abasajja abo Yakuwa be yali asembezza gy’ali baali basobola okufuuka abantu ab’omugaso ennyo. (Yokaana 6:44) Wadde nga baalina obunafu, yali mwetegefu okubeesiga. Yawa abayigirizwa abo obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Yabawa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, era yali mukakafu nti bajja kugutuukiriza. (Matayo 28:19, 20) Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga bulungi nti baatuukiriza omulimu gwe yabalagira okukola. (Ebikolwa 2:41, 42; 4:33; 5:27-32) N’olwekyo, Yesu yali mutuufu okubeesiga.

19. Yesu yalaga atya nti yali “muteefu era muwombeefu mu mutima”?

19 Nga bwe twalabye mu Ssuula 20, Bayibuli eraga nti waliwo akakwate wakati w’obwetoowaze n’amagezi. Kya lwatu, Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku nsonga eno. Ate ye Yesu? Kizzaamu amaanyi okulaba engeri Yesu gye yali omwetoowaze ng’akolagana n’abayigirizwa be. Olw’okuba yali atuukiridde, yali abasingira wala. Kyokka teyanyooma bayigirizwa be. Teyabaleetera kuwulira nti ba wansi oba nti tebaalina kye basobola. Wabula, yali amanyi obusobozi bwabwe era yabagumiikirizanga nga bakoze ensobi. (Makko 14:34-38; Yokaana 16:12) Tekyewuunyisa nti n’abaana baawuliranga bulungi nga bali ne Yesu. Mazima ddala baayagalanga nnyo okubeera w’ali kubanga baalaba nti yali “muteefu era muwombeefu mu mutima.”—Matayo 11:29; Makko 10:13-16.

20. Yesu yalaga atya nti teyali mukakanyavu mu ngeri gye yakolaganamu n’omukazi munnamawanga eyalina omuwala atawaanyizibwa dayimooni?

20 Yesu yayoleka obwetoowaze bwa Katonda mu ngeri endala enkulu. Teyali mukakanyavu oba teyakalambiranga ku nsonga nga kyetaagisa okulaga obusaasizi. Ng’ekyokulabirako, jjukira omukazi munnaggwanga eyeegayirira Yesu okuwonya muwala we eyali atawaanyizibwa dayimooni. Mu ngeri ssatu, Yesu yasooka n’alaga nti yali tagenda kumuyamba. Esooka, yagaana okumuddamu; ey’okubiri, yamugamba nti Katonda yali yamusindika eri Bayudaaya so si eri ab’amawanga; n’ey’okusatu, yakozesa ekyokulabirako okumulaga ensonga lwaki yali tagenda kumuyamba. Kyokka olw’okuba omukazi oyo yalina okukkiriza okw’amaanyi, yeeyongera okwegayirira Yesu amuyambe. Kiki Yesu kye yakola? Yakola ekyo kye yasooka okulaga nti tagenda kukola. Yawonya muwala w’omukazi oyo. (Matayo 15:21-28) Obwo si bwetoowaze bwa kitalo? Era kijjukire nti omuntu omwetoowaze y’aba ow’amagezi.

21. Lwaki twandifubye okukoppa engeri za Yesu, enjogera ye, n’engeri gye yakolangamu ebintu?

21 Nga tuli basanyufu nnyo nti ebitabo by’Enjiri bitulaga ebigambo n’ebikolwa by’omusajja asingayo okuba ow’amagezi mu bantu bonna abaali babaddewo ku nsi! Kijjukire nti Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe. Bwe tukoppa engeri za Yesu, ebyo bye yayogeranga, n’ebyo bye yakolanga, tuba tukulaakulanya amagezi agava waggulu. Mu ssuula eddako, tujja kulaba engeri y’okwolekamu amagezi agava eri Katonda mu bulamu bwaffe.

a Mu biseera by’edda, ababazzi baakozesebwanga mu kuzimba amayumba, okubajja eby’omu nnyumba, n’ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi. Omuwandiisi ayitibwa Justin Martyr, eyaliwo mu kyasa eky’okubiri E.E., yawandiika bw’ati ku Yesu: “Yabajjanga, ng’akola enkumbi n’ebikoligo.”

b Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okweraliikirira’ kitegeeza ‘okuwugulibwa ebirowoozo.’ Mu Matayo 6:25, kitegeeza okutya okuviirako ebirowoozo by’omuntu okuwugulibwa, ne kimuleetera okuggweebwako essanyu lye.

c Mu butuufu, okunoonyereza kulaze nti okweraliikirira ekisukkiridde kiyinza okutuviirako okulwala omutima n’endwadde endala eziyinza okukendeeza ku bulamu bwaffe.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Engero 8:22-31 Engeri amagezi gye googerwako etuukagana etya n’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku Mwana wa Yakuwa omubereberye?

  • Matayo 13:10-15 Ebyokulabirako Yesu bye yakozesanga byayoleka bitya ekyali mu mitima gy’abo abaali bamuwuliriza?

  • Yokaana 1:9-18 Lwaki Yesu yali asobola okwoleka amagezi ga Katonda?

  • Yokaana 13:2-5, 12-17 Kiki Yesu kye yakola okuyamba abatume be okumanya engeri gye baali basaanidde okuyisaamu bannaabwe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share