LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 20 lup. 238-250
  • “Alina Omutima ogw’Amagezi”—Kyokka Mwetoowaze

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Alina Omutima ogw’Amagezi”—Kyokka Mwetoowaze
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri Yakuwa gy’Akiragamu nti Mwetoowaze
  • Yakuwa Awuliriza era Awa Abalala Obuvunaanyizibwa
  • Yakuwa Si Mukakanyavu
  • Engeri Yakuwa gy’Alagamu Nti Si Mukakanyavu
  • Beera Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Yakuwa Abikkula Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yesu Yali Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 20 lup. 238-250
Taata ng’atunuulidde katabani ke.

ESSUULA 20

“Alina Omutima ogw’Amagezi”—Kyokka Mwetoowaze

1-3. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa mwetoowaze?

TAATA alina ekintu ekikulu ky’ayagala okuyigiriza omwana we omuto. Ayagala okutuuka ku mutima gw’omwana we. Ekyo yandikikoze atya? Yandyesimbye mu maaso g’omwana oyo n’ayogera naye n’obukambwe? Oba yandikutamye n’ayogera n’omwana we mu ngeri ey’obukkakkamu era ey’ekisa? Mazima ddala taata ow’amagezi era omwetoowaze, yandyogedde n’omwana oyo mu bukkakkamu.

2 Yakuwa taata wa ngeri ki? Wa malala oba mwetoowaze? Mukambwe oba mukkakkamu? Yakuwa amanyi buli kimu era alina amagezi mangi nnyo. Abantu abamanyi ebintu ebingi, era abalina amagezi amangi tebatera kuba beetoowaze. Bayibuli egamba nti: “Okumanya kuleetera omuntu okwegulumiza.” (1 Abakkolinso 3:19; 8:1) Kyokka Yakuwa mwetoowaze wadde ‘ng’alina omutima ogw’amagezi.’ (Yobu 9:4, obugambo obuli wansi) Naye ekyo tekitegeeza nti Yakuwa si wa kitiibwa, wabula kitegeeza nti si wa malala. Lwaki tugamba bwe tutyo?

3 Yakuwa mutukuvu. N’olwekyo, talina ngeri yonna mbi, gamba ng’amalala. (Makko 7:20-22) Ate era weetegereze nnabbi Yeremiya kye yagamba Yakuwa: “Mazima ddala ojja kujjukira okutame onnyambe.”a (Okukungubaga 3:20) Kirowoozeko! Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna, yali mwetegefu ‘okukutama,’ oba okwessa wansi ayogere ne Yeremiya. (Zabbuli 113:7) Mazima ddala Yakuwa mwetoowaze nnyo. Naye obwetoowaze bwa Katonda buzingiramu ki? Bulina kakwate ki n’amagezi? Lwaki bukulu gye tuli?

Engeri Yakuwa gy’Akiragamu nti Mwetoowaze

4, 5. (a) Obwetoowaze kye ki, Yakuwa abwoleka atya, era kiki kye butategeeza? (b) Yakuwa yayoleka atya obwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu ne Dawudi, era tuganyulwa tutya mu bwetoowaze bwa Yakuwa?

4 Obwetoowaze bwe butaba na malala. Obwetoowaze bweyolekera mu ngeri ng’obukkakkamu, obugumiikiriza, n’obutaba mukakanyavu. (Abaggalatiya 5:22, 23) Naye tetusaanidde kulowooza nti olw’okuba Yakuwa mwetoowaze, mukkakkamu, era mugumiikiriza, tasobola kusunguwala ng’alabye ekintu ekitali kya bwenkanya, oba nti munafu ne kiba nti tasobola kukozesa maanyi ge kuzikiriza. Okwawukana ku ekyo, obwetoowaze n’obukkakkamu bwa Yakuwa byoleka amaanyi ge amangi n’obusobozi bwe obw’okwefuga. (Isaaya 42:14) Obwetoowaze bulina kakwate ki n’amagezi? Omwekenneenya omu yagamba nti: ‘Omuntu alina okuba nga teyeefaako yekka okusobola okuba omwetoowaze, era ekyo kifuula omuntu oyo okuba ow’amagezi.’ Obwetoowaze bwa Yakuwa butuganyula butya?

Taata ow’amagezi aba mukkakkamu era mwetoowaze ng’akolagana n’abaana be

5 Kabaka Dawudi yagamba Yakuwa nti: “Ompa engabo yo ey’obulokozi, omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira, era obwetoowaze bwo bunfuula wa kitiibwa.” (Zabbuli 18:35) Yakuwa yeetoowaza okusobola okukolagana ne Dawudi, omuntu eyali tatuukiridde, n’amukuuma era n’amulabirira buli lunaku. Dawudi yakitegeera nti yandirokoleddwa era n’afuuka kabaka ow’amaanyi kubanga Yakuwa yeetoowaza n’amuyamba. Mazima ddala, ani ku ffe eyandibadde n’essuubi ery’okulokolebwa singa Yakuwa teyali mwetoowaze, nga mwetegefu okwessa wansi asobole okutuyisa mu ngeri ey’okwagala era ey’obukkakkamu?

6, 7. (a) Engeri Bayibuli gy’eyogera ku bwetoowaze bwa Yakuwa y’emu n’eyo gy’eyogera ku bw’abantu? (b) Kakwate ki akaliwo wakati w’obukkakkamu n’amagezi, era ani ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku nsonga eno?

6 Obwetoowaze ngeri nnungi abantu abeesigwa eri Katonda gye balina okukulaakulanya. Ekwataganyizibwa n’amagezi. Ng’ekyokulabirako, Engero 11:2 wagamba nti: “Abeetoowaze baba ba magezi.” Kyokka Bayibuli bw’eba eyogera ku bwetoowaze bwa Yakuwa, tebwogerako mu ngeri y’emu nga bw’eyogera ku bw’abantu. Lwaki? Mu Byawandiikibwa, abantu bwe boogerwako ng’abeetoowaze, kiba kiraga nti obusobozi bwabwe buliko ekkomo. Obusobozi bw’Omuyinza w’Ebintu Byonna tebuliiko kkomo, okuggyako eryo ly’ayinza okweteekako okusobola okutuukana n’emitindo gye egy’obutuukirivu. (Makko 10:27; Tito 1:2) Ate era, olw’okuba y’Ali Waggulu Ennyo, tali wansi wa muntu yenna. N’olwekyo, Yakuwa tayinza kwogerwako ng’omwetoowaze mu ngeri y’emu abantu gye boogerwako.

7 Kyokka Yakuwa mwetoowaze mu ngeri nti mwetegefu okukolagana n’abantu. Ate era mukkakkamu. Atuyigiriza nti obukkakkamu bwetaagisa bwe tuba ab’okwoleka amagezi aga nnamaddala. Ekigambo kye kyogera ku “bukkakkamu obusibuka mu magezi.”b (Yakobo 3:13) Lowooza ku kyokulabirako Yakuwa ky’ataddewo ku nsonga eno.

Yakuwa Awuliriza era Awa Abalala Obuvunaanyizibwa

8-10. (a) Lwaki kyewuunyisa nti Yakuwa mwetegefu okuwa abalala obuvunaanyizibwa n’okubawuliriza? (b) Omuyinza w’Ebintu Byonna alaze atya obwetoowaze ng’akolagana ne bamalayika be?

8 Waliwo obukakafu obulaga nti Yakuwa mwetegefu okuwa abalala obuvunaanyizibwa n’okubawuliriza. Kyewuunyisa nnyo okuba nti Yakuwa mwetegefu okukola ekyo. Teyeetaaga buyambi oba okubuulirirwa. (Isaaya 40:13, 14; Abaruumi 11:34, 35) Wadde kiri kityo, enfunda n’enfunda Bayibuli eraga nti Yakuwa ayoleka obwetoowaze mu ngeri eyo.

9 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo mu bulamu bwa Ibulayimu. Ibulayimu yafuna abagenyi basatu, era omu yamuyita “Yakuwa.” Mu butuufu, abagenyi abo baali bamalayika, era omu ku bo yajjira mu linnya lya Yakuwa. Malayika oyo bwe yayogeranga era n’akola ekintu kyonna, tuyinza okugamba nti Yakuwa ye yali ayogera oba nti ye yali akola ekintu ekyo. Okuyitira mu malayika oyo, Yakuwa yagamba Ibulayimu nti yali awulidde ‘okwemulugunya okw’amaanyi ku Sodomu ne Ggomola.’ Yagamba nti: “Nja kugendayo ndabe obanga ddala bakola ng’okwemulugunya okutuuse gye ndi bwe kuli. Bwe kinaaba nga si bwe kiri, nakyo nja kukimanya.” (Olubereberye 18:3, 20, 21) Kya lwatu, ebigambo ebyo byali tebitegeeza nti Omuyinza w’Ebintu Byonna yali agenda ‘kukka’ ye kennyini. Wabula, yatuma bamalayika okumukiikirira. (Olubereberye 19:1) Lwaki? Yakuwa alaba byonna era yali amanyi embeera eyali mu kitundu ekyo. Wadde kyali kityo, yasalawo okuwa bamalayika abo omulimu ogw’okuzuula ekyali kigenda mu maaso n’okukyalira Lutti n’ab’omu maka ge mu Sodomu.

10 Ate era Yakuwa awuliriza. Lumu yasaba bamalayika be okumuwa ebirowoozo byabwe ku ngeri y’okusuula obufuzi bwa Kabaka Akabu eyali omubi. Yakuwa yali teyeetaaga buyambi obwo. Kyokka yakkiriza ekiteeso kya malayika omu era n’amugamba akikolereko. (1 Bassekabaka 22:19-22) Obwo tebwali bwetoowaze bwa maanyi?

11, 12. Ibulayimu yategeera atya obwetoowaze bwa Yakuwa?

11 Yakuwa mwetegefu n’okuwuliriza abantu abatatuukiridde abaagala okumutegeeza ebibeeraliikiriza. Ng’ekyokulabirako, bwe yasooka okutegeeza Ibulayimu ku kigendererwa kye eky’okuzikiriza Sodomu ne Ggomola, omusajja oyo omwesigwa yasoberwa. Yagamba nti: “Mazima ddala toyinza kukola bw’otyo.” Yagattako nti: “Omulamuzi w’ensi yonna taakole kituufu?” Yabuuza Yakuwa obanga yandizikirizza ebibuga bwe byandibaddeemu abantu abatuukirivu 50. Yakuwa yamukakasa nti teyandibizikirizza. Ibulayimu yaddamu okumubuuza obanga yandibizikirizza singa byalimu abatuukirivu 45, 40, n’okweyongerayo. Wadde nga ku buli mulundi Ibulayimu lwe yabuuzanga Yakuwa yamukakasanga nti teyandizikirizza bibuga ebyo, yeeyongera okubuuza okutuusa omuwendo lwe gwatuuka ku bantu kkumi. Oboolyawo Ibulayimu yali tannategeerera ddala mu bujjuvu engeri Yakuwa gy’ali omusaasizi. Ka kibe ki ekyaleetera Ibulayimu okubuuza Yakuwa mu ngeri eyo, olw’okuba Yakuwa mugumiikiriza era mwetoowaze, yaleka mukwano gwe era omuweereza we oyo okwogera ekyamuli ku mutima.—Olubereberye 18:23-33.

12 Bantu bameka abagezi era abayivu abandiwulirizza n’obugumiikiriza omuntu atali mugezi oba atali muyivu?c N’olwekyo, Katonda waffe yalaga obwetoowaze obw’ekitalo. Bwe yali ayogera ne Yakuwa, Ibulayimu era yakitegeera nti Yakuwa “alwawo okusunguwala.” (Okuva 34:6) Oboolyawo ng’akitegedde nti yali tateekeddwa kubuusabuusa ebyo Asingayo Okuba Waggulu by’akola, emirundi ebiri Ibulayimu yeegayirira nti: “Nkwegayiridde Yakuwa, tosunguwala.” (Olubereberye 18:30, 32) Kya lwatu, Yakuwa teyasunguwala. Mazima ddala, alina ‘obukkakkamu obugendera awamu n’amagezi.’

Yakuwa Si Mukakanyavu

13. Okusinziira ku ngeri gye bikozesebwamu mu Bayibuli, ebigambo ‘si mukakanyavu’ bitegeeza ki, era lwaki kituukirawo okugamba nti Yakuwa si mukakanyavu?

13 Engeri endala ennungi eyoleka obwetoowaze bwa Yakuwa bwe butaba mukakanyavu. Engeri eno tesangikasangika mu bantu abatatuukiridde. Yakuwa bulijjo mwetegefu okuwuliriza ebitonde bye ebitegeera, era takalambira ku nsonga kasita eba nga tekontana na misingi gye egy’obutuukirivu. Ate era ‘obutaba mukakanyavu’ y’emu ku ngeri amagezi ga Katonda gye geeyolekamu. Yakobo 3:17 lugamba nti: “Amagezi agava waggulu . . . si makakanyavu.” Mu ngeri ki Katonda ow’amagezi amangi gy’atali mukakanyavu? Okusooka, atuukana bulungi nnyo na buli mbeera yonna ebaawo. Jjukira nti erinnya lye litegeeza nti abeera kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. (Okuva 3:14) Ekyo tekiraga nti atuukana n’embeera ebaawo era nti si mukakanyavu?

14, 15. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku ggaali lya Yakuwa ery’omu ggulu kutuyigiriza ki kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, era kyawukana kitya ku bibiina by’abantu?

14 Waliwo ennyiriri mu Bayibuli ezituyamba okutegeera obulungi nti Yakuwa asobola okutuukana na buli mbeera ebaawo. Mu kwolesebwa, nnabbi Ezeekyeri yalaba ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa ekirimu ebitonde eby’omwoyo. Yalaba eggaali eddene ennyo Yakuwa lye yali avuga. Ekyali kyewuunyisa ye ngeri gye lyatambulangamu. Nnamuziga zaalyo ennene ennyo zaalina enjuyi nnya era nga zijjudde amaaso ne kiba nti zaali ziyinza okutunula mu buli kifo, era nga ziyinza okukyuka embagirawo awatali kuyimirira. Era eggaali lino eddene ennyo lyali terikubagana ng’ekimotoka ekinene ekikoleddwa omuntu. Lyali litambulira ku sipiidi ya kimyanso! (Ezeekyeri 1:1, 14-28) Mazima ddala ekibiina kya Yakuwa, ekikulemberwa Omuyinza w’Ebintu Byonna, kituukana n’embeera yonna ebaawo, oba n’ebyetaago ebibaawo.

15 Abantu bayinza kugezaako bugeza okukoppa enkola eyo ey’okutuukana n’embeera yonna ebaawo. Emirundi mingi, abantu n’ebibiina byabwe tebatuukana na mbeera ebaawo. Ng’ekyokulabirako, emmeeri eyeetikka amafuta oba eggaali y’omukka etambuza eby’amaguzi eba ennene nnyo era nga ya maanyi nnyo. Naye esobola okutuukana n’embeera eziyinza okukyuka embagirawo? Singa wabaawo ekintu ekyekiika mu kkubo ly’eggaali y’omukka, eba teyinza kukyuka n’edda emabega ereme okukitomera. Era teyinza kuyimirira mbagirawo. Bwe basiba ebiziyiza by’eggaali y’omukka ennene ennyo, eyimirira oluvannyuma lw’ebbanga lya mayiro nnamba! Mu ngeri y’emu, emmeeri gaggadde enneetissi y’amafuta eyinza okweyongera mu maaso mayiro nga ttaano nga yingini yaayo emaze okuggibwamu omuliro. Ggiya z’emmeeri eyo ne bwe ziwangibwa okugizza emabega, emmeeri eyo eyinza okweyongera mu maaso mayiro nga bbiri! Bwe kityo bwe kiri ne ku bibiina by’abantu. Tebiyinza kutuukana na mbeera ebaawo. Olw’amalala, abantu nabo bagaana okutuukana n’embeera ezigenda zikyukakyuka. Obukakanyavu obwo, buviiriddeko amakampuni okugwa ne gavumenti okuwambibwa. (Engero 16:18) Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa tali bw’atyo era nti n’ekibiina kye tekiri bwe kityo!

Engeri Yakuwa gy’Alagamu Nti Si Mukakanyavu

16. Yakuwa yalaga atya nti si mukakanyavu mu ngeri gye yakolaganamu ne Lutti nga tannazikiriza Sodomu ne Ggomola?

16 Lowooza nate ku kuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola. Lutti n’ab’omu maka ge baaweebwa ekiragiro kino okuva eri Malayika wa Yakuwa: ‘Muddukire mu nsozi.’ Kyokka kino tekyasanyusa Lutti. Yagamba nti: “Si eyo, nkwegayiridde Yakuwa!” Olw’okuba Lutti yali alowooza nti yandifudde bwe yandiddukidde mu nsozi, yasaba nti ye n’ab’omu maka ge bakkirizibwe okuddukira mu kibuga Zowaali ekyali okumpi awo. Kijjukire nti Yakuwa yali asazeewo okuzikiriza ekibuga ekyo. Ate era Lutti teyalina nsonga ntuufu emutiisa. Mazima ddala Yakuwa yali asobola okuwonyaawo Lutti bwe yandiddukidde mu nsozi! Wadde kyali kityo, Yakuwa yakkiriza Lutti kye yasaba era n’atazikiriza Zowaali. Malayika yagamba Lutti nti: “Kale nja kukukolera ky’osabye. Sijja kuzikiriza kibuga ky’ogambye.” (Olubereberye 19:17-22) Ddala Yakuwa yayoleka obutali bukakanyavu.

17, 18. Yakuwa yalaga atya nti si mukakanyavu mu ngeri gye yakolaganamu n’abantu b’omu Nineeve?

17 Yakuwa era asaasira abo abeenenya mu bwesimbu. Lowooza ku kyaliwo nnabbi Yona bwe yatumibwa mu kibuga Nineeve omwali ebikolwa ebibi era eby’okambwe. Yona yayita mu kibuga Nineeve ng’alangirira nti ekibuga ekyo kyali kigenda kuzikirizibwa mu nnaku 40. Kyokka embeera yakyuka. Abantu b’omu Nineeve beenenya!—Yona, essuula 3.

18 Tulina kye tuyiga bwe tugeraageranya ekyo Yakuwa ne Yona kye baakola nga wabaddewo enkyukakyuka eyo. Yakuwa yatuukana n’embeera eyaliwo, n’afuuka Oyo Asonyiwa ebibi mu kifo ky’okubeera ‘omulwanyi omuzira.’d (Okuva 15:3) Ku luuyi olulala, Yona teyali mwetegefu kutuukana na mbeera eyo eyaliwo era teyalaga busaasizi. Mu kifo ky’obutabeera mukakanyavu nga Yakuwa, yalinga eggaali y’omukka ennene ennyo oba emmeeri gagadde enneetissi y’amafuta bye twayogeddeko emabega. Yali alangiridde nti ekibuga kyali kigenda kuzikirizibwa, n’olwekyo kyali kiteekwa okuzikirizibwa ka kibeere ki! Kyokka Yakuwa yayigiriza nnabbi ono ataali mugumiikiriza ekintu ekikulu ekikwata ku butaba mukakanyavu era n’okubeera omusaasizi.—Yona, essuula 4.

Ow’oluganda omuvubuka ayambako ow’oluganda akaddiye nga bali mu kubuulira.

Yakuwa si mukakanyavu era amanyi obusobozi bwaffe we bukoma

19. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa tatusuubiramu bye tutayinza kukola? (b) Engero 19:17 lulaga lutya nti Yakuwa ‘mulungi era si mukakanyavu,’ era nti mwetoowaze nnyo?

19 N’ekisembayo, Yakuwa tatusuubiramu bye tutayinza kukola. Kabaka Dawudi yagamba nti: “Amanyi bulungi bwe twakolebwa, ajjukira nti tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:14) Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe n’obutali butuukirivu bwaffe okusinga bwe twemanyi. Tatusuubiramu kye tutayinza kukola. Bayibuli eraga enjawulo eriwo wakati w’abantu “abazibu okusanyusa” ‘n’abalungi era abatali bakakanyavu’ wadde nga balina obuyinza ku bannaabwe. (1 Peetero 2:18) Tuli bakakafu nti Yakuwa mulungi era si mukakanyavu. Ate era si muzibu kusanyusa. Engero 19:17 wagamba nti: “Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa.” Ekyo kitegeeza nti Yakuwa alaba ebintu ebirungi bye tukolera abalala. Kyeyoleka lwatu nti mulungi era si mukakanyavu. N’ekisinga obukulu, ekyawandiikibwa kino kiraga nti Omutonzi w’ebintu byonna akitwala nti abanjibwa abantu abakola ebikolwa ng’ebyo eby’obusaasizi! Obwo nga bwetoowaze bwa kika kya waggulu!

20. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa awulira okusaba kwaffe era n’akuddamu?

20 Yakuwa mukkakkamu era si mukakanyavu mu ngeri gy’akolaganamu n’abaweereza be leero. Bwe tumusaba nga tulina okukkiriza, atuwuliriza. Wadde nga tatuma bamalayika kwogera naffe, tetwandikitutte nti taddamu kusaba kwaffe. Jjukira nti omutume Pawulo bwe yagamba bakkiriza banne ‘okumusabira’ asumululwe mu kkomera, yagattako nti: “Nsobole okukomawo amangu gye muli.” (Abebbulaniya 13:18, 19) N’olwekyo, essaala zaffe ziyinza okuleetera Yakuwa okukola ky’atandikoze!—Yakobo 5:16.

21. Kiki obwetowaaze bwa Yakuwa kye butategeeza? Okwatibwako otya bw’olowooza ku bwetoowaze bwa Yakuwa?

21 Kya lwatu, engeri zino zonna ezooleka obwetoowaze bwa Yakuwa, kwe kugamba, obukkakkamu, okuba omwetegefu okuwuliriza, obugumiikiriza, n’obutaba mukakanyavu, teziraga nti asuula omuguluka emisingi gye egy’obutuukirivu. Abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu bayinza okulowooza nti si bakakanyavu bwe batakubiriza bagoberezi baabwe kunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. (2 Timoseewo 4:3) Emirundi mingi abantu bakola ebintu ebikyamu bwe balaba nga kibanguyira okubikola, era bagamba nti babikola olw’okuba si bakakanyavu. Naye eyo si ye ngeri Yakuwa gy’ayolekamu obutali bukakanyavu. Olw’okuba Yakuwa mutukuvu, tayinza n’akamu kusuula muguluka mitindo gye egy’obutuukirivu. (Eby’Abaleevi 11:44) N’olwekyo, obutali bukakanyavu bwa Yakuwa bukakafu obulaga nti mwetoowaze, era ekyo kituleetera okumwagala. Toli musanyufu nnyo nti Yakuwa Katonda, asingayo amagezi mu butonde bwonna, mwetoowaze nnyo? Nga kya ssanyu nnyo okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda omukkakkamu, omugumiikiriza, era atali mukakanyavu!

a Abawandiisi ab’edda abaali bayitibwa Abasoferimu, baakyusa olunyiriri luno ne luba nga lugamba nti Yeremiya so si Yakuwa ye yakutama. Baali balowooza nti tekisaana kugamba nti Katonda ye yakola ekikolwa ekyo eky’obwetoowaze. N’olw’ensonga eyo, enkyusa za Bayibuli nnyingi teziggyaayo makulu agali mu lunyiriri luno. Kyokka yo enkyusa eyitibwa The New English Bible eraga bulungi nti Yeremiya ye yagamba Katonda nti: “Nzijukira, okutame we ndi.”

b Enkyusa endala zigamba nti ‘obwetoowaze buva mu magezi’ era ‘obukkakkamu ngeri eyoleka amagezi.’

c Bayibuli eraga nti omuntu bw’ataba mugumiikiriza aba wa malala. (Omubuulizi 7:8) Obugumiikiriza bwa Yakuwa nabwo bulaga nti mwetoowaze.—2 Peetero 3:9.

d Mu Zabbuli 86:5, Yakuwa ayogerwako nti ‘mulungi era mwetegefu okusonyiwa.’ Zabbuli eno bwe yavvuunulwa mu Luyonaani, ebigambo “mwetegefu okusonyiwa” byavvuunulwa nti ‘si mukakanyavu.’

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Okuva 32:9-14 Yakuwa yayoleka atya obwetoowaze mu ebyo bye yagamba Musa nga Musa yeegayirira ku lwa Isirayiri?

  • Ekyabalamuzi 6:36-40 Yakuwa yalaga atya nti mugumiikiriza era nti si mukakanyavu bwe yali addamu Gidiyoni bye yamusaba?

  • Zabbuli 113:1-9 Yakuwa alaga atya nti mwetoowaze mu ngeri gy’akolaganamu n’abantu?

  • Lukka 1:46-55 Maliyamu yali amanyi nti Yakuwa alina ndowooza ki ku beetoowaze n’abaavu? Endowooza ya Yakuwa eyo eyinza kutukwatako etya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share