LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 52 lup. 128-lup. 129 kat. 7
  • Aliisa Nkumi na Nkumi ng’Akozesa Emigaati n’Ebyennyanja Bitono

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Aliisa Nkumi na Nkumi ng’Akozesa Emigaati n’Ebyennyanja Bitono
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Yesu Aliisa Abantu Bangi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yesu Aliisa Abantu Bangi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Addamu Okuliisa Abantu Emigaati era Alabula ku Kizimbulukusa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Bye Tuyigira ku Kyamagero eky’Emigaati
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 52 lup. 128-lup. 129 kat. 7
Yesu amenyamenya emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri n’abiwa abayigirizwa be babigabire abantu

ESSUULA 52

Aliisa Nkumi na Nkumi ng’Akozesa Emigaati n’Ebyennyanja Bitono

MATAYO 14:13-21 MAKKO 6:30-44 LUKKA 9:10-17 YOKAANA 6:1-13

  • YESU ALIISA ABASAJJA 5,000

Abatume 12 bava kubuulira mu bitundu by’e Ggaliraaya, era babuulira Yesu ‘ebintu byonna bye bakoze ne bye bayigirizza.’ Kya lwatu nti bakooye nnyo. Wadde kiri kityo, tebalina na budde bwa kulya mmere olw’abantu abangi abajja gye bali. Bwe kityo, Yesu abagamba nti: “Mujje mmwe mmwekka tugende mu kifo etali bantu muwummuleko.”​—Makko 6:30, 31.

Balinnya eryato, oboolyawo okumpi ne Kaperunawumu, okugenda mu kifo eteri bantu ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani ng’oyisizza e Besusayida. Kyokka abantu bangi babalaba nga bagenda ate abalala bakimanyaako. Abantu abo badduka nga bayita ku lubalama era eryato libasanga batuuse.

Bw’ava mu lyato, Yesu alaba ekibiina ky’abantu n’abakwatirwa ekisa, kubanga balinga endiga ezitalina musumba. Atandika “okubayigiriza ebintu bingi” ebikwata ku Bwakabaka. (Makko 6:34) Ate era awonya ‘abo abeetaaga okuwonyezebwa.’ (Lukka 9:11) Oluvannyuma lw’ekiseera, abayigirizwa bamugamba nti: “Ekifo kye tulimu kyesudde, era n’obudde buwungedde; siibula abantu bagende mu byalo beegulire emmere.”​—Matayo 14:15.

Yesu abaddamu nti: “Tekibeetagisa kugenda: Mmwe mubawe eky’okulya.” (Matayo 14:16) Wadde nga Yesu amanyi ky’agenda okukola, agezesa Firipo ng’amubuuza nti: “Tunaagula wa emigaati abantu bano gye banaalya?” Yesu abuuza Firipo ekibuuzo ekyo kubanga Firipo abeera kumpi ne Besusayida. Kyokka, tekisoboka kugulira bantu bonna migaati. Waliwo abasajja nga 5,000. Ate omuwendo ogwo guyinza okuba nga gukubisaamu emirundi ebiri singa oba otaddeko abakazi n’abaana! Firipo agamba nti: “Emigaati egya ddinaali 200 tegiyinza kubamala, buli muntu ne bw’aba wa kulyako katono.” (Yokaana 6:5-7) Omuntu asasulwa ddinaali emu oluvannyuma lw’okukola okumala olunaku lumu.

Yesu ng’ayogera n’omulenzi alina emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri

Oboolyawo ng’ayagala okulaga nti tekisoboka kuliisa bantu abo bonna, Andereya agamba nti: “Wano waliwo omulenzi alina emigaati egya ssayiri etaano n’obwennyanja bubiri. Naye bino binaagasa ki ku bantu abangi bwe bati?”​—Yokaana 6:9.

Ekiseera kya ttoggo, embaga ey’Okuyitako ey’omwaka 32 E.E. eneetera okutuuka, era omuddo gwonna gwa kiragala. Yesu agamba abayigirizwa be batuuze abantu ku muddo mu bibinja bya bantu ataano ataano n’ebirala bya bantu kikumi kikumi. Akwata emigaati etaano n’ebyennyanja ne yeebaza Katonda. Amenyaamenyamu emigaati n’ebyennyanja. Yesu abikwasa abayigirizwa be okubigabira abantu. Ekyewuunyisa kiri nti abantu bonna balya ne bakkuta!

Oluvannyuma, Yesu agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, waleme kubaawo kyonoonebwa.” (Yokaana 6:12) Obutundutundu bwe bakuŋŋaanya bujjuza ebisero 12!

  • Lwaki Yesu agamba abatume okugenda mu kifo eteri bantu?

  • Yesu n’abayigirizwa be bagenda wa, era kiki ekibaawo nga bali eyo?

  • Kiki abayigirizwa kye bagamba Yesu okukola, naye kiki Yesu ky’akolera abantu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share