ESSOMO 83
Yesu Aliisa Abantu Bangi
Abatume we baakomerawo nga bava okubuulira, embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 32 E.E. yali eneetera okutuuka. Baali bakooye nnyo, bwe kityo Yesu yagenda nabo mu lyato e Besusayida basobole okuwummulako. Naye eryato bwe lyali linaatera okutuuka ku lubalama, Yesu yalaba ekibiina ky’abantu abaali babagoberedde. Wadde nga Yesu yali ayagala okubeera yekka awamu n’abatume be, yakwatirwa abantu abo ekisa. Yawonya abalwadde era n’atandika okuyigiriza abantu. Yesu yamala ekiseera kiwanvu ng’ayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Obudde bwe bwawungeera, abatume be bajja gy’ali ne bamugamba nti: ‘Abantu enjala eteekwa okuba ng’ebaluma. Basiibule bagende beegulire emmere.’
Yesu yagamba abatume nti: “Abantu tekibeetagisa kugenda; mmwe mubawe eky’okulya.” Abatume baamubuuza nti: ‘Oyagala tugende tubagulire emigaati?’ Firipo, omu ku batume, yagamba nti: ‘Ne bwe tuba nga tulina ssente nnyingi, tetusobola kugula migaati gimala bantu bano bonna.’
Yesu yababuuza nti: ‘Emmere gye tulina yenkana wa?’ Andereya yamuddamu nti: ‘Tulinawo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri byokka.’ Yesu yabagamba nti: ‘Mundeetere emigaati egyo n’ebyennyanja.’ Oluvannyuma yagamba abantu batuule wansi mu bibinja bya bantu ataano ataano n’ebirala bya bantu kikumi kikumi. Yesu yakwata emigaati n’ebyennyanja n’atunula waggulu, n’asaba. Oluvannyuma yawa abatume emmere ne bagigabira abantu. Abasajja 5,000, awamu n’abakazi n’abaana bonna baalya ne bakkuta. Oluvannyuma abatume baakuŋŋaanya emmere eyasigalawo, ne walema kubaawo eyonoonebwa. Baakuŋŋaanya ebisero 12! Mu butuufu, ekyo kyali kyamagero.
Abantu baasanyuka nnyo era ne baagala okufuula Yesu kabaka waabwe. Naye Yesu yali akimanyi nti ekiseera kya Yakuwa eky’okumufuula kabaka kyali tekinnaba kutuuka. Bwe kityo, yasiibula abantu era n’agamba abatume be basaabale bagende emitala w’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Baalinnya eryato ne bagenda, ate Yesu n’agenda ku lusozi yekka. Lwaki yagenda ku lusozi? Yali ayagala kusaba. Wadde nga Yesu yalina eby’okukola bingi, yafunanga obudde okusaba.
“Temukolerera mmere eggwaawo, wabula mukolerere emmere etaggwaawo ereeta obulamu obutaggwaawo, Omwana w’omuntu gy’alibawa.”—Yokaana 6:27