LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 91 lup. 214-lup. 215 kat. 4
  • Laazaalo Azuukizibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Laazaalo Azuukizibwa
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Yesu Atwalibwa eri Anaasi n’Oluvannyuma eri Kayaafa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Azuukiza Laazaalo
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Peetero Yeegaana Yesu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 91 lup. 214-lup. 215 kat. 4
Maliza ne Maliyamu nga balaba Yesu ng’azuukiza mwannyinaabwe Lazaalo

ESSUULA 91

Laazaalo Azuukizibwa

YOKAANA 11:38-54

  • OKUZUUKIRA KWA LAAZAALO

  • AB’OLUKIIKO OLUKULU BATEESA OKUTTA YESU

Yesu bw’amala okusisinkana Maliza ne Maliyamu okumpi ne Bessaniya, bagenda ku ntaana ya Laazaalo. Olw’okuba entaana eyo mpuku era ng’omulyango gwayo gubikkiddwako ejjinja, Yesu agamba nti: “Muggyeewo ejjinja”. Nga tamanyi Yesu ky’agenda kukola, Maliza agamba nti: “Mukama wange, kati ateekwa okuba ng’awunya kubanga waakayita ennaku nnya.” Naye Yesu amugamba nti: “Saakugambye nti bw’onokkiriza ojja kulaba ekitiibwa kya Katonda?”​—Yokaana 11:39, 40.

Ejjinja liggibwawo, era Yesu atunula waggulu n’asaba ng’agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde. Kituufu, nkimanyi nti bulijjo ompulira; naye kino nkyogedde ekibiina ky’abantu abayimiridde wano basobole okukkiriza nti ggwe wantuma.” Yesu okusaba mu lujjudde kiraga abantu abaliwo nti ekyo ky’agenda okukola agenda kukikola ng’akozesa amaanyi ga Katonda. Oluvannyuma Yesu ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti: “Laazaalo, fuluma!” Laazaalo afuluma ng’ebigere bye n’emikono bizingiddwa mu ngoye era ng’akyalina ekitambaala kye baamusiba ku maaso. Yesu agamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”​—Yokaana 11:41-44.

Abayudaaya bangi abazze okubudaabuda Maliyamu ne Maliza bwe balaba ekyamagero ekyo bakkiririza mu Yesu. Naye abamu bagenda ne babuulira Abafalisaayo ekyo Yesu ky’akoze. Abafalisaayo ne bakabona abakulu batuuza Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Kabona Asinga Obukulu ayitibwa Kayaafa y’omu ku abo abali mu lukiiko olwo. Abamu ku bo bagamba nti: “Tunaakola tutya, kubanga omusajja ono akola ebyamagero bingi? Bwe tumuleka obulesi, bonna bajja kumukkiririzaamu, era Abaruumi bajja kujja batwale ekifo kyaffe n’eggwanga lyaffe.” (Yokaana 11:47, 48) Wadde ng’abasajja abo bawulidde nti Yesu akola “ebyamagero bingi,” tebasanyukira ebyo Katonda by’akola okuyitira mu Yesu. Kye basinga okufaako, bye bifo bye balina n’obuyinza bwabwe.

Abayudaaya nga babuulira Abafalisaayo ebikwata ku kuzuukira kwa Lazaalo

Okuzuukizibwa kwa Laazaalo kukyoleka kaati nti Abasaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira bakyamu. Kayaafa, Omusaddukaayo, agamba nti: “Temulina kye mumanyi, era temukirowoozezzaako nti kiba kya muganyulo nnyo gye muli omuntu omu okufiiririra abantu mu kifo ky’eggwanga lyonna okuzikirizibwa.”​—Yokaana 11:49, 50; Ebikolwa 5:17; 23:8.

Ekyo Kayaafa ‘takyogera ku bubwe,’ wabula olw’ekifo ky’alina, Katonda amusobozesa okukyogera. Kayaafa ategeeza nti Yesu asaanidde okuttibwa alekere awo okufeebya n’okwanika abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya. Kyokka mu kwogera ebyo, Kayaafa alagula nti Yesu bwe yandifudde yandiwaddeyo ekinunulo si ku lw’Abayudaaya bokka naye ne ku ‘lw’abaana ba Katonda bonna abasaasaanye.’​—Yokaana 11:51, 52.

Kayaafa amatiza ab’Olukiiko Olukulu okukola enteekateeka ey’okutta Yesu. Mukwano gwa Yesu ayitibwa Nikodemu, omu ku abo abali ku Lukiiko Olukulu, anaabuulirako Yesu ku nteekateeka eyo? K’abe ng’anaakikola oba taakikole, Yesu ava mu Yerusaalemi aleme okuttibwa ng’ekiseera kya Katonda ekigereke tekinnatuuka.

  • Abo abalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo baakwatibwako batya?

  • Kiki ekiraga nti ab’Olukiiko Olukulu bantu babi nnyo?

  • Wadde nga Kayaafa alina ekiruubirwa ekikyamu, Katonda amusobozesa kulagula ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share