LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • od sul. 13 lup. 130-140
  • “Mukolenga Ebintu Byonna olw’Okuweesa Katonda Ekitiibwa”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Mukolenga Ebintu Byonna olw’Okuweesa Katonda Ekitiibwa”
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUBA ABAYONJO MU BY’OMWOYO NE MU MPISA
  • OBUYONJO MU BY’OMUBIRI
  • OKWESANYUSAAMU MU NGERI ESAANA
  • EBIKOLEBWA KU SSOMERO
  • EMIRIMU N’EMIKWANO
  • OKUBA OBUMU
  • Katonda Ayagala Abantu Abayonjo
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Okwesanyusaamu Okuzimba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Yakuwa Ayagala Abantu Be Babe Bayonjo
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od sul. 13 lup. 130-140

ESSUULA 13

“Mukolenga Ebintu Byonna olw’Okuweesa Katonda Ekitiibwa”

OLW’OKUBA tuli baweereza ba Katonda abeewaayo gy’ali, kitukakatako okwoleka ekitiibwa kye mu byonna bye twogera ne bye tukola. Omutume Pawulo yalaga omusingi gwe tusaanidde okugoberera mu nsonga eno. Yagamba nti: “Obanga mulya, nga munywa, obanga mukola ekintu ekirala kyonna, mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (1 Kol. 10:31) Ekyo kiba kitwetaagisa okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (Bak. 3:10) Olw’okuba tuli bantu ba Katonda, tusaanidde okumukoppa.​—Bef. 5:1, 2.

2 Omutume Peetero bwe yali ayogera ku nsonga eyo, yagamba Abakristaayo nti: “Ng’abaana abawulize, mulekere awo okugoberera okwegomba kwe mwalina edda nga muli mu butamanya, naye mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna ng’Oyo eyabayita bw’ali Omutukuvu, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu.’” (1 Peet. 1:14-16) Nga bwe kyali eri Abayisirayiri ab’edda, abo abali mu kibiina Ekikristaayo balina okuba abatukuvu. Kino kitegeeza nti balina okuba nga tebaliiko kya kunenyezebwa, kwe kugamba, nga ba mpisa nnungi era nga tebalina mwoyo gwa nsi. Mu ngeri eyo, baba baawuliddwawo olw’obuweereza obutukuvu.​—Kuv. 20:5.

3 Okusobola okusigala nga tuli batukuvu kitwetaagisa okunywerera ku mateeka ga Yakuwa n’emisingi gye, ebirambikiddwa obulungi mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. (2 Tim. 3:16) Bayibuli yatuyamba okumanya Yakuwa n’amakubo ge, ne kitusobozesa okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye. Ate era yatuyamba okutegeera nti kikulu nnyo okusooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33; Bar. 12:2) Okusobola okukola ekyo kyali kitwetaagisa okwambala omuntu omuggya.​—Bef. 4:22-24.

OKUBA ABAYONJO MU BY’OMWOYO NE MU MPISA

4 Si kyangu kunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Omulabe waffe Sitaani afuba nnyo okulaba nti atuggya mu mazima. Ebintu ebibi ebikolebwa mu nsi n’obutali butuukirivu bwaffe, nabyo bikifuula kizibu gye tuli okukola Katonda by’ayagala. Okusobola okusigala nga tuli batukuvu, kitwetaagisa okulwana olutalo olw’eby’omwoyo. Ebyawandiikibwa biraga nti tetusaanidde kwewuunya singa twolekagana n’okuziyizibwa oba okugezesebwa. Tulina okubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu. (2 Tim. 3:12) Tusobola okuba abasanyufu nga tugezesebwa, olw’okuba tuba tukimanyi nti okugezesebwa okwo buba bukakafu obulaga nti tukola Katonda by’ayagala.​—1 Peet. 3:14-16; 4:12, 14-16.

5 Wadde nga Yesu yali atuukiridde, yayiga okuba omuwulize olw’okubonaabona kwe yayitamu. Yesu teyekkiriranyaako n’omulundi n’ogumu ng’akemeddwa Sitaani, era teyagezaako kuluubirira bintu bya nsi. (Mat. 4:1-11; Yok. 6:15) Wadde ng’ensi yamukyawa, Yesu yanywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Bwe yali anaatera okuttibwa, yagamba abayigirizwa be nti nabo ensi yandibakyaye. Okuviira ddala mu kiseera ekyo, abagoberezi ba Yesu bazze boolekagana n’embeera enzibu, naye okukimanya nti Omwana wa Katonda yawangula ensi kibayambye okusigala nga beesigwa.​—Yok. 15:19; 16:33; 17:16.

6 Okusobola okusigala nga tetuli ba nsi, tulina okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, nga Mukama waffe bwe yakola. Ng’oggyeeko okwewala okwenyigira mu by’obufuzi n’ebintu ebirala ebireeseewo enjawukana mu bantu, tulina okwewala empisa embi eziriwo mu nsi. Tulina okukolera ku kubuulirira okuli mu Yakobo 1:21, awagamba nti: “Mweggyeeko obucaafu bwonna na buli kintu kyonna ekibi, era mukkirize mu bukkakkamu okusigibwamu ekigambo ekiyinza okuwonya obulamu bwammwe.” Bwe twesomesa era ne tubaawo mu nkuŋŋaana, ‘ekigambo eky’amazima kisigibwa’ mu birowoozo byaffe ne mu mitima gyaffe, era ekyo ne kituyamba obuteegomba bintu ebiri mu nsi. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Temumanyi nti okubeera mukwano gw’ensi bwe bulabe eri Katonda? N’olwekyo, buli ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.” (Yak. 4:4) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu n’okusigala nga tetuli ba nsi.

7 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Kigamba nti: “Ebikolwa eby’obugwenyufu n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu tebirina na kwogerwako mu mmwe, nga bwe kigwanira abantu abatukuvu.” (Bef. 5:3) N’olwekyo, tetulina kulowooza ku bya buwemu, ku bikwasa ensonyi, oba ku bintu ebirala eby’obugwenyufu, era tetulina na kubyogerako. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tukiraga nti twagala okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.

OBUYONJO MU BY’OMUBIRI

8 Ng’oggyeeko okuba abayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo, Abakristaayo basaanidde okuba abayonjo mu by’omubiri. Mu Isirayiri ey’edda, Katonda omutukuvu yali yeetaagisa abantu be okukuuma olusiisira lwabwe nga luyonjo. Naffe tulina okuba abayonjo, Yakuwa “aleme okulaba ekintu kyonna ekitasaana” mu ffe.​—Ma. 23:14.

9 Bayibuli eraga nti obuyonjo mu by’omubiri bulina akakwate n’obutukuvu. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yagamba nti: “Ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo, obutukuvu bwaffe butuukirire mu kutya Katonda.” (2 Kol. 7:1) N’olwekyo, Abakristaayo bonna basaanidde okunaaba buli lunaku n’okwoza engoye zaabwe, basobole okuba abayonjo. Wadde ng’abamu ku ffe tetuli bulungi mu by’enfuna, ffenna tusobola okufuna ssabbuuni n’amazzi ag’okunaaba n’okunaaza abaana baffe.

10 Olw’omulimu gwaffe ogw’okubuulira, abantu bangi mu bitundu gye tubeera batumanyi. Amaka gaffe bwe gaba amayonjo era nga galabika bulungi, kiwa baliraanwa baffe obujulirwa. Ab’omu maka bonna basobola okwenyigira mu kulongoosa awaka. Abaami basaanidde okukakasa nti amaka gaabwe, nga mw’otwalidde n’oluggya, birabika bulungi era biyonjo, kubanga ekyo kiwa abalala ekifaananyi ekirungi. Bwe bakola bwe batyo era ne balabirira bulungi ab’omu maka gaabwe mu by’omwoyo, kiba kiraga nti bakulembera bulungi amaka gaabwe. (1 Tim. 3:4, 12) Bannyinaffe nabo balina obuvunaanyizibwa obw’okuyonja awaka. (Tit. 2:4, 5) Abaana abatendekeddwa obulungi nabo bafuba okuba abayonjo era balongoosa ebisenge mwe basula. Bwe kityo ab’omu maka bakolera wamu okubeera abayonjo, ekijja okwetaagisa ne mu nsi empya.

11 Abantu ba Katonda bangi bakozesa ebidduka okugenda mu nkuŋŋaana. Mu bitundu ebimu, emmotoka zeetaagisa nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Ebidduka byaffe birina okuba nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi. Amaka gaffe n’ebidduka byaffe birina okulaga nti tuli bantu ba Katonda abayonjo era abatukuvu. Bayibuli zaffe awamu n’ensawo ze tukozesa mu buweereza, nabyo birina okuba nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi.

12 Tulina okwambala era n’okwekolako mu ngeri etuukagana n’emisingi gya Bayibuli. Tetusobola kugenda eri muntu wa kitiibwa nga twambadde bubi oba nga twambadde mu ngeri ey’ekisaazisaazi. Kati olwo tetwandifuddeyo nnyo ku ngeri gye tunaalabikamu nga tukiikirira Yakuwa mu buweereza oba nga tuli ku pulatifoomu? Engeri gye twambalamu n’engeri gye twekolako erina ky’ekola ku ngeri abantu abalala gye batwalamu okusinza okw’amazima. Tetusaanidde kwambala bubi oba kwambala mu ngeri eraga nti tetufaayo ku nneewulira y’abantu abalala. (Mi. 6:8; 1 Kol. 10:31-33; 1 Tim. 2:9, 10) N’olwekyo, bwe tuba tweteekateeka okugenda okubuulira oba okugenda mu nkuŋŋaana entono oba ennene, tulina okulowooza ku ekyo Ebyawandiikibwa kye byogera ku buyonjo obw’omubiri ne ku kwambala mu ngeri esaana. Twagala bulijjo tuweese Yakuwa ekitiibwa n’ettendo.

Olw’okuba tuli baweereza ba Katonda abeewaayo gy’ali, kitukakatako okwoleka ekitiibwa kye mu byonna bye twogera ne bye tukola

13 Ate era tusaanidde okwambala n’okwekolako mu ngeri esaana nga tugenda ku kitebe kyaffe ekikulu oba ku ofiisi y’ettabi yonna ey’Abajulirwa ba Yakuwa. Kijjukire nti Beseri kitegeeza “Ennyumba ya Katonda.” N’olwekyo, bwe tuba tugenda ku Beseri, tulina okwambala n’okwekolako nga bwe twandikoze nga tugenda mu nkuŋŋaana ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

14 Tulina n’okulowooza ku ngeri gye twambalamu ne gye twekolako mu biseera byaffe eby’eddembe. Tuyinza okwebuuza nti, ‘Nnaakwatibwa ensonyi okubuulira embagirawo olw’engeri gye nnyambaddemu?’

OKWESANYUSAAMU MU NGERI ESAANA

15 Okuwummulamu n’okwesanyusaamu biyamba omuntu okuba omulamu obulungi. Lumu Yesu yagamba abayigirizwa be bagende mu kifo awataali bantu ‘bawummuleko.’ (Mak. 6:31) Okuwummulamu n’okwesanyusaamu kitusobozesa okuwummuza ku birowoozo. Kituyamba okuddamu amaanyi ne tweyongera okukola emirimu gyaffe obulungi.

16 Olw’okuba waliwo eby’okwesanyusaamu bingi leero, Abakristaayo balina okwegendereza ennyo n’okukozesa amagezi nga balonda eby’okwesanyusaamu. Wadde nga kirungi okwesanyusaamu, okwesanyusaamu si kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu. Bayibuli etulabula nti mu “nnaku ez’enkomerero,” abantu bandibadde “baagala eby’amasanyu okusinga Katonda.” (2 Tim. 3:1, 4) Ebintu ebisinga obungi abantu bye batwala ng’eby’okwesanyusaamu biba tebisaana eri abo abaagala okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.

17 Abakristaayo abaasooka baalina okwewala eby’okwesanyusaamu ebitasaana ebyaliwo mu kiseera kyabwe. Emizannyo gy’Abaruumi gyabangamu okutulugunya abantu. Mu bifo ebisanyukirwamu waabangayo ebikolwa eby’obukambwe, eby’ettemu, n’eby’obugwenyufu, naye Abakristaayo beewalanga eby’okwesanyusaamu ng’ebyo. Eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi ebiriwo leero nabyo bwe bityo bwe biri. Tulina ‘okwegendereza ennyo’ engeri gye tweyisaamu, era n’okwewalira ddala eby’okwesanyusaamu ebitasaana. (Bef. 5:15, 16; Zab. 11:5) Ate era eby’okwesanyusaamu ne bwe bitaba bibi, embeera ebeera mu kifo we twesanyusiza eyinza obutaba nnungi.​—1 Peet. 4:1-4.

18 Waliwo eby’okwesanyusaamu ebirungi bingi Abakristaayo bye bayinza okulondako. Bangi baganyuddwa nnyo bwe bagoberedde okubuulirira okw’omu Byawandiikibwa n’amagezi amalungi agali mu bitabo byaffe.

19 Oluusi ow’oluganda ayinza okuyita Bakristaayo banne mu maka ge basanyukireko wamu naye. Oba ow’oluganda ayinza okuyita Bakristaayo banne ku mbaga oba ku mukolo omulala gwonna. (Yok. 2:2) Oyo aba ayise banne y’aba avunaanyizibwa ku ebyo ebikolebwa ku mukolo ogwo. Bwe tuba tuyise abantu bangi, tusaanidde okukakasa nti ebintu byonna ebikolebwa biweesa Yakuwa ekitiibwa. Abantu abamu bwe babeera ku mikolo ng’egyo batera okweyisa obubi, gamba ng’okulya oba okunywa ekisukkiridde, oba n’okukola ebintu ebirala ebibi ennyo. Olw’ensonga eyo, Abakristaayo abamu bakirabye nga kya magezi okuyita abantu abatonotono ku mikolo gye baba bategese, n’okukakasa nti giggwa bukyali. Omukolo bwe gubaako omwenge, kiba kirungi abagunywa ne banywa gwa kigero. (Baf. 4:5) Bwe tutegeka akabaga, ekisinga obukulu si kulya na kunywa, wabula kukola bintu ebituzzaamu amaanyi mu by’omwoyo.

20 Kirungi nnyo okusembeza abagenyi. (1 Peet. 4:9) Bwe tuba tuteekateeka okuyita ab’oluganda mu maka gaffe ku kijjulo oba okwesanyusaamu, kiba kirungi ne tulowooza ne ku baavu, abaliko obulemu, n’ab’oluganda abalala abalinga abo. (Luk. 14:12-14) Ow’oluganda bw’aba atukyazizza mu maka ge, enneeyisa yaffe esaanidde okutuukana n’okubuulirira okuli mu Makko 12:31. Kiba kirungi bulijjo okukiraga nti tusiima ebirungi abalala bye baba batukoledde.

21 Abakristaayo basiima nnyo ebintu ebingi Yakuwa by’abawa, n’okuba nti basobola ‘okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna bye bateganira.’ (Mub. 3:12, 13) Buli omu bw’akola ‘ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa,’ abo abakyaza n’abo be baba bakyazizza bazimbibwa mu by’omwoyo.

EBIKOLEBWA KU SSOMERO

22 Abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa baganyulwa bwe bafuna obuyigirize obusaanidde. Bwe baba ku ssomero, basaanidde okufuba okuyiga okusoma obulungi n’okuwandiika. Amasomo amalala agayigirizibwa ku ssomero gayinza okuyamba abavubuka okweyimirizaawo ne basobola okutuuka ku biruubirirwa byabwe eby’eby’omwoyo. Bwe baba bakyasoma, basaanidde okukulembeza eby’omwoyo, bwe batyo ne bakiraga nti ‘bajjukira Omutonzi waabwe ow’Ekitalo’.​—Mub. 12:1.

23 Bw’oba ng’oli muvubuka Mukristaayo era ng’okyasoma, weewale okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abavubuka ab’ensi. (2 Tim. 3:1, 2) Yakuwa atuwadde obulagirizi obwetaagisa okusobola okwewala okutwalirizibwa ebintu by’ensi. (Zab. 23:4; 91:1, 2) N’olwekyo, fuba okukozesa ebintu byonna Yakuwa by’atuwa.​—Zab. 23:5.

24 Okusobola okusigala nga beeyawudde ku nsi, abavubuka bangi abakyasoma basalawo obuteenyigira mu mizannyo n’ebintu ebirala ebikolebwa ku masomero mu biseera ebitali bya kusoma. Ekyo abasomesa n’abaana be basoma nabo bayinza obutakitegeera, kyokka bo bakimanyi bulungi nti okusanyusa Katonda kye kisinga obukulu. Ekyo nno kitegeeza nti omuvubuka aba alina okugoberera omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli era n’okuba omumalirivu obuteenyigira mu bintu bya nsi ebirimu okuvuganya, oba ebyoleka mwoyo gwa ggwanga. (Bag. 5:19, 26) Abavubuka bwe mussa mu nkola bazadde bammwe abatya Katonda bye babagamba, era ne muba n’emikwano emirungi mu kibiina, mujja kunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.

EMIRIMU N’EMIKWANO

25 Ebyawandiikibwa biraga nti emitwe gy’amaka balina okulabirira ab’omu maka gaabwe. (1 Tim. 5:8) Wadde kiri kityo, abaweereza ba Yakuwa bakimanyi nti balina kukulembeza Bwakabaka so si mirimu gyabwe. (Mat. 6:33; Bar. 11:13) Bwe beemalira ku Katonda era ne baba bamativu n’ebyo bye balina, beewala okweraliikirira n’ebizibu ebirala ebiva mu kwagala ennyo ebintu.​—1 Tim. 6:6-10.

26 Abakristaayo bonna abakola balina okulowooza ku misingi gya Bayibuli. Okusobola okufuna ssente mu makubo amatuufu, kitwetaagisa okwewala okukola ebintu ebimenya amateeka ga Katonda oba ag’ensi gye tulimu. (Bar. 13:1, 2; 1 Kol. 6:9, 10) Tulina n’okulowooza ku kabi akali mu kuba n’emikwano emibi. Olw’okuba tuli basirikale ba Kristo, tetwenyigira mu bizineesi ezimenya amateeka ga Katonda, oba ezituleetera okubaako oludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, oba ezo eziyinza okutuleetera okunafuwa mu by’omwoyo. (Is. 2:4; 2 Tim. 2:3, 4) Ate era twewala okukola ekintu kyonna ekirina akakwate n’omulabe wa Katonda, “Babulooni Ekinene.”​—Kub. 18:2, 4; 2 Kol. 6:14-17.

27 Okunywerera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu kijja kutuyamba obutakola bizineesi oba ebintu ebyaffe ku bwaffe nga tugenze mu nkuŋŋaana. Ekigendererwa ky’enkuŋŋaana zaffe ennene n’entono kuba kusinza Yakuwa so si kukola bintu birala. Tuba tugenze kulya ku mmeeza ye ey’eby’omwoyo ‘n’okuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:11, 12; Beb. 10:24, 25) Bwe tuba tukuŋŋaanye wamu ne baganda baffe essira tulina kulissa ku bintu bya mwoyo.

OKUBA OBUMU

28 Okusobola okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu kiba kitwetaagisa ‘n’okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe egitugatta.’ (Bef. 4:1-3) Buli Mukristaayo asaanidde okufuba okukolera abalala ebirungi mu kifo ky’okukola ebyo ebimusanyusa yekka. (1 Bas. 5:15) Awatali kubuusabuusa, ab’oluganda bwe batyo bwe bakola mu kibiina ky’olimu. Ka tube ba langi ki, ba ggwanga ki, bagagga oba baavu, era ka tube nga twasoma kwenkana wa, ffenna tutambulira ku mitindo gye gimu egy’obutuukirivu. N’abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa bakiraba nti abantu ba Yakuwa bali bumu.​—1 Peet. 2:12.

29 Omutume Pawulo yakkaatiriza ensonga eyo. Yagamba nti: “Waliwo omubiri gumu n’omwoyo gumu, era nga bwe waliwo essuubi limu lye mwayitirwa; Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatizibwa kumu; Katonda omu era nga ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna, era ng’ali mu byonna.” (Bef. 4:4-6) Ekyo kitegeeza nti tulina okuba obumu mu ngeri gye tutegeeramu enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako awamu n’endala, bwe tutyo ne tulaga nti tukkiriza obufuzi bwa Yakuwa. Mazima ddala Yakuwa awadde abantu be olulimi olulongoofu, nga gano ge mazima, ne kibasobozesa okuweereza nga bali bumu.​—Zef. 3:9.

30 Obumu n’emirembe ebiri mu kibiina Ekikristaayo bituzzaamu nnyo amaanyi. Tulabye okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Yakuwa ekigamba nti: “Ndibateeka wamu ng’endiga mu kisibo, ng’ekisibo ekiri mu ddundiro.” (Mi. 2:12) Tusaanidde okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu tusobole okusigala nga tuli bumu.

31 Nga twesiimye nnyo okuba nti Yakuwa atukkiriza okuba mu kibiina kye ekiyonjo! Okuyitibwa abantu ba Yakuwa kya muwendo nnyo okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okwefiiriza. Bwe tuneeyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, tujja kutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu era tujja kuleetera n’abalala okwagala okugitambulirako.​—2 Kol. 3:18.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share