Okwesanyusaamu Okuzimba
“Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.”—1 ABAKKOLINSO 10:31.
1, 2. Lwaki ebirungi ebiva mu kutegana kwaffe twandibitutte ‘ng’ekirabo okuva ewa Katonda,’ naye kulabula ki Baibuli kw’ewa?
KYA BULIJJO omuntu okuwulira nti ayagala okwesanyusaamu. Yakuwa, Katonda waffe omusanyufu, ayagala tunyumirwe obulamu, era atuwadde ebintu bingi okutusanyusa. (1 Timoseewo 1:11; 6:17) Kabaka Sulemaani yawandiika: “Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka . . . buli muntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.”—Omubuulizi 3:12, 13.
2 Omuntu bw’afumiitiriza ku birungi ebivudde mu kutegana kwe, kimuleetera essanyu. Essanyu eryo liba ppitirivu nnyo naddala singa by’aba akoze biba bigenda kuganyula ab’omu maka ge n’emikwano gye. Ebirungi ng’ebyo twandibitutte ‘ng’ekirabo okuva ewa Katonda.’ Wadde Omutonzi atuwadde ebintu bingi, tekitegeeza nti tulina okukola buli kyonna kye twagala nga twesanyusaamu. Baibuli evumirira obutamiivu, obuluvu, n’obugwenyufu, era etulabula nti abo abakola ebintu ebyo “tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.”—1 Abakkolinso 6:9, 10; Engero 23:20, 21; 1 Peetero 4:1-4.
3. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo n’okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe?
3 Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, Abakristaayo balina okwegendereza ennyo n’okusinga bwe kyali kibadde obutatwalirizibwa nneeyisa ya bantu ba nsi. (Yokaana 17:15, 16) Nga bwe kyalagulwa, abantu b’omu kiseera kino ‘baagala nnyo essanyu okusinga Katonda’ ne kiba nti ‘tebafaayo’ ku bubonero obulaga nti “ekibonyoobonyo ekinene” kiri kumpi okutuuka. (2 Timoseewo 3:4, 5; Matayo 24:21, 37-39) Yesu yalabula abagoberezi be nti: “Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika; kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna.” (Lukka 21:34, 35) Ng’abaweereza ba Katonda, tuli bamalirivu okukolera ku kubuulirira kwa Yesu. Okwawukana ku bantu abatatya Katonda, ffe ‘tulindirira’ Yakuwa nga tutunula mu by’omwoyo, era nga tukuumira mu birowoozo byaffe olunaku lwa Yakuwa.—Zeffaniya 3:8; Lukka 21:36.
4. (a) Lwaki kizibu okufuna eby’okwesanyusaamu ebizimba? (b) Kubuulirira ki okuli mu Abaefeso 5:15, 16 kwe tusaanidde okugoberera?
4 Okuva bwe kiri nti Omulyolyomi afuula ebikolwa ebibi okulabika ng’ebirungi ate nga bisikiriza era nga biri buli wantu, si kyangu kubyewala. Ate bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, kiyitirira. Kino kiri bwe kityo kubanga eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi bikubiriza “okwegomba okw’omubiri.” (1 Peetero 2:11) Wadde eby’okwesanyusaamu ebitazimba bisangibwa nnyo mu bifo ebya lukale, bisobola n’okutuuka mu maka gaffe okuyitira mu mpapula z’amawulire, TV, Internet, n’entambi za vidiyo. N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kikubiriza Abakristaayo nti: “Mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng’abatalina magezi, naye ng’abalina amagezi; nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.” (Abaefeso 5:15, 16) Okuggyako nga tufuddeyo ku kubuulira kuno, eby’okwesanyusaamu bijja kutusikiriza, sinakindi byonoone enkolagana yaffe ne Yakuwa.—Yakobo 1:14, 15.
5. Kiki ekisinga okutuleetera essanyu?
5 Okuva bwe kiri nti Abakristaayo bakoowa nnyo olw’okuba balina eby’okukola bingi, bayinza okuwulira nti bandyagadde okwesanyusaamu basobole okuddamu amaanyi. Omubuulizi 3:4 wagamba nti, waliwo ‘ekiseera eky’okusekeramu n’ekiseera eky’okuziniramu.’ N’olwekyo, Baibuli tegaana muntu kwesanyusaamu. Okwesanyusaamu kwandibadde kutuzzaamu buzza maanyi, so si kutulemesa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwaffe obw’eby’omwoyo. Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bakimanyi bulungi nti okuyamba abalala kwe kusinga okuleeta essanyu. N’olwekyo, bakulembeza Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwabwe era bafuna ‘ekiwummulo mu mwoyo gyabwe’ olw’okuba beetikka ekikoligo kya Yesu.—Matayo 11:29, 30; Ebikolwa 20:35.
Okulonda eby’Okwesanyusaamu Ebizimba
6, 7. Kiki ekiyinza okukuyamba okulondawo eby’okwesanyusaamu ebizimba?
6 Abakristaayo bayinza batya okumanya eby’okwesanyusaamu ebizimba? Abazadde basobola okuyamba abaana baabwe mu nsonga eno era n’abakadde basobola okuyamba abalala buli lwe kiba kyetaagisiza. Kyokka, tekitegeeza nti buli kiseera balina kutubuulira bubuulizi nti kibi okusoma ekitabo kino, okulaba firimu gundi, okuzannya omuzanyo guno, okuzina amazina ag’ekika kino, oba nti kibi okuwuliriza ennyimba zino. Pawulo yagamba nti abantu ‘abakulu basobola okwawulawo ekirungi n’ekibi.’ (Abaebbulaniya 5:14; 1 Abakkolinso 14:20) Baibuli erimu emisingi egisobola okutuyamba. Ate era, omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Ekigambo kya Katonda asobola okutuyamba okusalawo mu ngeri entuufu singa tumuwuliriza.—1 Timoseewo 1:19.
7 Yesu yagamba nti, omuti omubi oba omulungi “gutegeererwa ku bibala byagwo.” (Matayo 12:33) Singa eby’okwesanyusaamu biba bikubiriza omuntu okwagala okwenyigira mu bikolwa eby’ettemu, obwenzi oba eby’obusamize, tusaanidde okubyewala. Ate era tusaanidde okwewala eby’okwesanyusaamu ebiyinza okuteeka obulamu bwaffe mu kabi, okutusuula mu bwavu, okutumalamu amaanyi, oba ebiyinza okutuleetera okwesittaza abalala. Omutume Pawulo yagamba nti singa twesittaza ow’oluganda, tuba tukoze ekibi. Yawandiika nti: “Bwe mwonoonanga ab’oluganda, era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo. Kale, oba ng’ekyokulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.”—1 Abakkolinso 8:12, 13.
8. Kabi ki akali mu mizannyo gy’oku kompyuta?
8 Waliwo amaduuka mangi agatunda emizannyo gy’oku kompyuta. Egimu ku mizannyo egyo giyinza okuba ginyuma naye nga gikontana n’emisingi gya Baibuli. Singa emizannyo gibaamu ebikolwa eby’ettemu oba eby’obugwenyufu, tetuyinza kugitwala ng’eky’okwesanyusaamu ekitalina kabi. Yakuwa akyawa abo ‘abaagala ebikolwa eby’ettemu.’ (Zabbuli 11:5, NW; Engero 3:31; Abakkolosaayi 3:5, 6) Ate era singa omuzannyo ogumu guba gukubiriza ettemu n’omwoyo gw’okwagala ebintu, nga gukuleetera okwennyamira oba nga gukumalako ebiseera, manya nti gusobola okukuleetera okugwa mu by’omwoyo era osaanidde okuguleka.—Matayo 18:8, 9.
Engeri gye Tusobola Okwesanyusaamu
9, 10. Ebimu ku by’okwesanyusaamu ebizimba bye biruwa?
9 Ebiseera ebimu Abakristaayo beebuuza nti: “Okuva bwe kiri nti eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi mu nsi bikontana n’emisingi gya Baibuli, omuntu ayinza atya okufuna eby’okwesanyusaamu ebizimba?” Amazima gali nti kisoboka okufuna eby’okwesanyusaamu ebizimba, naye kino kyetaagisa okufuba. Naddala abazadde kibeetaagisa okusooka okukola enteekateeka ennungi okusobola okufunira ab’omu maka gaabwe eby’okwesanyusaamu ebizimba. Bangi bakisanze nti kya muganyulo okusanyukira awamu ng’amaka oba ng’ekibiina. Bwe baliirako awamu ekijjulo nga bali mu ggandaalo ng’eno bwe banyumya ku ebyo ebibaddewo mu lunaku oba nga bwe bakubaganya ebirowoozo ku bintu ebiri mu Baibuli, kibazimba era ne kibazzaamu amaanyi. Eby’okwesanyusaamu ebizimba biyinza okuzingiramu okukolayo akabaga, okuzannya emizannyo egisaana, n’okugenda okulambula ku bifo ebisanyusa.
10 Omukadde omu ne mukyala we abalina abaana abasatu baagamba nti: “Okuviira ddala ng’abaana baffe bakyali bato, twabawanga omukisa okulonda ebifo gye twagendanga okwesanyusa. Ebiseera ebimu, buli mwana twamukkirizanga okuyitayo mukwano gwe ne tugenda naye era kino kyasanyusaanga nnyo abaana baffe. Twagendangako mu bifo ebimu ne tufumba emmere, ne tugiriirayo era ne tuzannyamu. Oluusi n’oluusi twayitanga amaka agamu oba mikwano gyaffe egy’omu kibiina ne tusanyukira wamu. Ebiseera ebimu, twalinyanga emmotoka yaffe ne tugenda okulambula ensozi. Twakozesanga omukisa ogwo okuyigiriza abaana baffe ku bitonde bya Yakuwa. Ebiseera ng’ebyo byanyumira nnyo abaana baffe era tebabyerabiranga.”
11, 12. (a) Bw’oba okola enteekateeka ez’okwesanyusaamu, oyinza otya okuzingiramu abalala? (b) Kiseera kya ngeri ki bangi kye batatera kwerabira?
11 Kinnoomu oba ng’amaka, musobola okukola enteekateeka ne musanyukirako wamu n’abalala be mutatera kukyaza? Mu bano muyinza okubaamu abeetaaga okuzzibwamu amaanyi gamba nga bannamwandu, abali obwannamunigina oba amaka omuli omuzadde omu. (Lukka 14:12-14) Oyinza n’okuyitayo abamu ku abo abakyali abapya mu mazima. Kyokka kakasa nti b’oyita tebalina mpisa mbi eziyinza okwonoona abalala. (2 Timoseewo 2:20, 21) Bwe wabaawo abatasobola kuva waka olw’obunafu mu mubiri, musobola okutwala emmere mu maka gaabwe ne muliira wamu.—Abaebbulaniya 13:1, 2.
12 Abo ababa bayitiddwa basobola okuzzibwamu amaanyi bwe bawulira abalala nga boogera ku ngeri gye baayigamu amazima era n’ekibayambye okusigala nga beesigwa. Ate era bonna nga mw’otwalidde n’abato bayinza okukubaganya ebirowoozo ku bintu ebimu okuva mu Baibuli. Okukubaganya ebirowoozo mu ngeri ng’eyo kusobola okuganyula bonna abaliwo singa tekubaako gwe kuleetera kuwulira bubi. Bangi tebatera kwerabira kiseera lwe baayitibwa okusanyukirako awamu n’abalala.
13. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu ne Pawulo bwe tuba n’abalala nga twesanyusaamu?
13 Yesu yateranga okusanyukirako awamu n’abalala. Mu biseera ng’ebyo, yakozesanga akakisa okuzzaamu abalala amaanyi mu by’omwoyo. (Lukka 5:27-39; 10:42; 19:1-10; 24:28-32) Abagoberezi be abaasooka baakoppa ekyokulabirako kye. (Ebikolwa 2:46, 47) Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yawandiikira bakkiriza banne nti: “Mbalumirwa okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe: kwe kusanyuk[ira] awamu nammwe olw’okukkiriza kwammwe n’okwange.” (Abaruumi 1:11, 12) Mu ngeri y’emu, naffe bwe tuba n’abalala nga twesanyusaamu, tusaanidde okukozesa ebiseera ebyo okuzimbagana n’okuziŋŋanamu amaanyi.—Abaruumi 12:13; 15:1, 2.
Bye Tulina Okujjukira ne bye Tulina Okwegendereza
14. Lwaki si kya amagezi okuyita abantu abangi ku bubaga?
14 Tekiba kya magezi kuyita bantu bangi kubanga kiyinza okuba ekizibu okumanya buli ekigenda mu maaso ku kabaga akaba kakoleddwa. Mu biseera ebitayingirira nteekateeka za bya mwoyo, amaka agamu gayinza okutegeka akabaga akatonotono oba okuzannya emizannyo egitaliimu kuvuganya. Singa abakadde n’abaweereza oba abalala abakuze mu by’omwoyo bayitibwa okubaawo, kisobola okuleetera akabaga okuba akazimba era nga kazzaamu amaanyi.
15. Lwaki omuntu aba akoze akabaga kimwetaagisa okumanya buli ekiba kigenda mu maaso ku kabaga ako?
15 Omuntu akoze akabaga aba avunaanyizibwa okumanya buli kimu ekigenda mu maaso ku kabaga ako. Kinaakuyisa kitya singa okimanya nti omu ku bagenyi be wayita yeesittala olw’ekintu ekimu ekyakolebwa mu maka go? Weetegereze omusingi oguli mu Ekyamateeka 22:8. Omuisiraeri bwe yazimbanga ennyumba, yalinanga okuteeka omuziziko waggulu ku kasolya akaseeteevu, ekifo gye baateranga okutuuza abagenyi. Lwaki? ‘Alemenga okuleeta omusaayi ku nnyumba ye.’ Mu ngeri y’emu, ovunaanyizibwa okulaba nti abagenyi bo tebatuukibwako kabi konna mu by’omwoyo ne mu by’omubiri.
16. Kiki ky’osaanidde okukola singa osalawo okugabula omwenge?
16 Singa wabaawo okugabula omwenge, kakasa nti abagenyi bo tebanywa kisukkiridde. Abakristaayo abamu bwe baba bakyazizza abalala, tebagabula mwenge okuggyako nga bo bennyini be bajja okuba baakalabaalaba b’omukolo ogwo. Si kirungi kuleka bagenyi kunywa kisukkiridde ekiyinza okuviirako abalala okwesittala. (Abaefeso 5:18, 19) Olw’ensonga ezitali zimu, abagenyi abamu basalawo obutakomba ku mwenge. Mu bitundu bingi amateeka galaga emyaka omuntu kw’akkirizibwa okutandika okunywa omwenge. Bwe kityo Abakristaayo balina okulaba nti tebamenya mateeka ga Kayisaali agakwata ku kukozesa omwenge wadde nga gayinza okulabika ng’agakugira ennyo.—Abaruumi 13:5.
17. (a) Singa ku kabaga kunaabaako ennyimba, lwaki akategese alina okwegendereza ng’alondawo ennyimba ezinaakozesebwa? (b) Mazina ga ngeri ki agatasaanira?
17 Oyo aba ateeseteese akabaga alina okukakasa nti ennyimba n’amazina tebikontana na misingi gya Kikristaayo. Waliwo ebika by’ennyimba bingi era buli omu alina ennyimba ezimunyumira. Kyokka ennyimba nnyingi leero zikubiriza omwoyo gwa kyewaggula, obwenzi n’ebikolwa eby’ettemu. N’olwekyo, tulina okwegendereza ennyimba ze tulonda okukozesa ku kabaga. Tekitegeeza nti ennyimba ezisaanira z’ezo eziba enseneekerevu. Ennyimba ezisiikuula okwegomba okubi oba ezirimu ebigambo ebiwemula era ng’amaloboozi gatumbuddwa nnyo, tezisaanira. Kakasa nti omuntu gw’olonda okussaako ennyimba si y’oyo ayagala okutumbula ennyo amaloboozi. Ate era kakasa nti tewabaawo mazina ga bugwenyufu kubanga tegasaanira Mukristaayo.—1 Timoseewo 2:8-10.
18. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe obuteenyigira mu bikolwa ebibi nga bali ku bubaga?
18 Abazadde Abakristaayo basaanidde okutegeera ebitegekeddwa ku bubaga abaana baabwe kwe banaabeera, era kiba kya magezi emirundi mingi ne bagenda nabo. Kya nnaku nti abazadde abamu balese abaana baabwe okugenda bokka ku bubaga obutaliiko baakalabaalaba era nga ku bubaga buno abantu bangi ababeerako beenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Abaefeso 6:1-4) Ne bwe kiba nti abavubuka basussa mu myaka 18 era nga balabika nti baabuvunaanyizibwa, baba bakyetaaga okuyambibwa basobole ‘okwewala okwegomba okw’omu buvubuka.’—2 Timoseewo 2:22.
19. Kiki kye tulina okujjukira ekinaatuyamba okumanya kye tulina ‘okusoosa’?
19 Yakuwa tatugaana kukola enteekateeka za kwesanyusaamu obw’olumu. Wabula tulina okukijjukira nti okwesanyusaamu ku bwakwo tekusobola kutuyamba kweterekera bya bugagga mu ggulu. (Matayo 6:19-21) Yesu yagamba abayigirizwa be nti ekintu esinga obukulu kwe ‘kunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe’ so si bya kulya oba bya kwambala, ebintu “amawanga bye ganoonya.”—Matayo 6:31-34.
20. Kiki abaweereza ba Yakuwa abeesigwa kye beesunga?
20 Yee, ka tube ‘nga tulya, oba nga tunywa oba nga tukola ekintu ekirala kyonna,’ ekiruubirirwa kyaffe kwe kukola ‘byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.’ Bwe tukola tutyo tuba tusiima Katonda waffe olw’ebirungi by’atuwa. (1 Abakkolinso 10:31) Mu Lusuku lwa Katonda olunaatera okutuuka, tujja kusobola okweyagalira mu birungi Yakuwa by’anaatuwa nga tuli wamu ne basinza bannaffe abakuuma emitindo gy’obutuukirivu.—Zabbuli 145:16; Isaaya 25:6; 2 Abakkolinso 7:1.
Ojjukira?
• Lwaki Abakristaayo kibazibuwalira okufuna eby’okwesanyusaamu ebizimba?
• Kwesanyusaamu kwa ngeri ki okuyinza okuganyula amaka g’Abakristaayo?
• Biki Omukristaayo by’asaanidde okwegendereza nga yeesanyusaamu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Londa okwesanyusaamu okusaanira
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Kwesanyusaamu kwa ngeri ki Abakristaayo kwe basaanidde okwewala?