LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • od sul. 17 lup. 169-178
  • Nywerera ku Kibiina kya Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nywerera ku Kibiina kya Yakuwa
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENSONGA LWAKI EBIGEZO BYEYONGEDDE
  • OKUKULAAKULANYA OBUGUMIIKIRIZA
  • OKUGUMIRA EBIGEZO EBITALI BIMU
  • KA TUBE BAMALIRIVU OKUSIGALA NGA TULI BEESIGWA
  • “Muleke Obugumiikiriza Butuukirize Omulimu Gwabwo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Obugumiikiriza Buvaamu Emiganyulo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Yoleka Obugumiikiriza nga Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Okubuulira Kwetaagisa Obugumiikiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od sul. 17 lup. 169-178

ESSUULA 17

Nywerera ku Kibiina kya Yakuwa

OMUYIGIRIZWA Yakobo yagamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yak. 4:8) Wadde nga tetutuukiridde, Yakuwa tatuli wala era asobola okuwulira essaala zaffe. (Bik. 17:27) Tuyinza tutya okusemberera Katonda? Kino tusobola okukikola nga tufuba okunyweza enkolagana yaffe naye, era nga ekyo kizingiramu okusaba. (Zab. 39:12) Ate era tusobola okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda nga tusoma Ekigambo kye buli lunaku. Bwe tukola bwe tutyo, tweyongera okutegeera Yakuwa, ebigendererwa bye, n’ebyo by’ayagala tukole. (2 Tim. 3:16, 17) N’ekivaamu, tweyongera okumwagala n’okutya okukola ebimunyiiza.​—Zab. 25:14.

2 Kyokka okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tulina kuyitira mu Mwana we, Yesu. (Yok. 17:3; Bar. 5:10) Yesu ye yekka asobola okutuyamba okutegeera obulungi Yakuwa. Yesu amanyi nnyo Kitaawe, era eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, ate era tewali amanyi Kitange wabula Omwana, n’oyo yenna Omwana gw’aba ayagadde amanye Kitaawe.” (Luk. 10:22) N’olwekyo, bwe tusoma ebitabo by’Enjiri okuyiga ebikwata ku Yesu, tuba tuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ekyo kituyamba okwongera okusemberera Katonda waffe.

3 Bwe tunywerera ku kibiina kya Yakuwa ekikulemberwa Omwana we era ekituyamba okukola by’ayagala, kitusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 24:45-47, Mukama waffe Yesu Kristo, yateekawo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuwa abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza ‘emmere mu kiseera ekituufu.’ Leero omuddu omwesigwa atuwa emmere nnyingi ey’eby’omwoyo. Okuyitira mu muddu oyo, Yakuwa atukubiriza okusoma Ekigambo kye buli lunaku, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, n’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka.’ (Mat. 24:14; 28:19, 20; Yos. 1:8; Zab. 1:1-3) Tusaanidde okukijjukira nti obulagirizi omuddu omwesigwa bw’atuwa buva eri Yakuwa. Tusaanidde okunywerera ku kibiina kya Yakuwa n’okukolera ku bulagirizi bwe kituwa. Ekyo kijja kutuyamba okwongera okusemberera Yakuwa Katonda waffe, n’okusigala nga tuli beesigwa nga tugezesebwa.

ENSONGA LWAKI EBIGEZO BYEYONGEDDE

4 Oyinza okuba ng’oludde mu mazima. Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okuba ng’oyise mu kugezesebwa okutali kumu. Naye ne bwe kiba nti waakayiga amazima, okimanyi bulungi nti Sitaani Omulyolyomi aziyiza abo bonna abagondera obufuzi bwa Yakuwa. (2 Tim. 3:12) N’olwekyo, k’obe ng’oyise mu bigezo byenkana wa, tosaanidde kuggwaamu maanyi. Yakuwa asuubiza nti ajja kukuyamba era nti ajja kukuwa empeera ey’obulamu obutaggwaawo.​—Beb. 13:5, 6; Kub. 2:10.

5 Ffenna tuyinza okugezesebwa mu ngeri ezitali zimu mu nnaku zino ezisembayo ez’enteekateeka ya Sitaani. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwassibwawo mu 1914, Sitaani ne bamalayika be baasuulibwa ku nsi era tebakkirizibwa kuddayo mu ggulu. Ebizibu ebingi ebiriwo ku nsi leero, nga mw’otwalidde n’eky’okuba nti abaweereza ba Yakuwa bayigganyizibwa nnyo, biraga nti Sitaani musunguwavu nnyo era nti tuli mu nnaku ezisembayo ez’obufuzi bwe.​—Kub. 12:1-12.

6 Sitaani alina obusungu bungi olw’okuba amanyi nti asigazza akaseera katono. Sitaani ne badayimooni bakola kyonna ekisoboka okulemesa omulimu gw’okubuulira n’okulemesa abaweereza ba Yakuwa okuba obumu. Kino nno kitegeeza nti tuli mu lutalo olw’eby’omwoyo. Bayibuli egamba nti: “Tetumeggana na musaayi na mubiri, naye tumeggana n’obufuzi, n’obuyinza, n’abafuzi b’ensi ab’ekizikiza kino, n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.” Bwe tuba ab’okuwangula olutalo olwo, tulina okusigala nga tuli bulindaala era nga twambadde eby’okulwanyisa byonna eby’omwoyo. Tulina ‘okuba abanywevu nga tuziyiza enkwe z’Omulyolyomi.’ (Bef. 6:10-17) Naye ekyo okusobola okukikola, twetaaga okuba abagumiikiriza.

OKUKULAAKULANYA OBUGUMIIKIRIZA

7 Okugumiikiriza kitegeeza “okugumira embeera enzibu.” Okugumiikiriza Bayibuli kw’eyogerako kwe kusigala ng’okola Katonda by’ayagala ng’olina ebizibu, ng’oziyizibwa, ng’oyigganyizibwa, oba nga waliwo embeera endala yonna egezesa obwesigwa bwo eri Katonda. Obugumiikiriza ng’obwo Omukristaayo akulaakulanya bukulaakulanye era nga kino kitwala ekiseera. Bwe tugenda tweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, tweyongera okuyiga okugumiikiriza. Bwe tugumira ebigezo ebitonotono bye tuba tufunye nga twakafuuka Abakristaayo, kitunyweza ne tuba nga tujja kusobola n’okugumira ebigezo eby’amaanyi mu biseera eby’omu maaso. (Luk. 16:10) Tetusaanidde kulinda bigezo bya maanyi kututuukako tulyoke tumalirire okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza. Omutume Peetero yalaga nti tulina okukulaakulanya obugumiikiriza awamu n’engeri endala ez’Ekikristaayo. Yagamba nti: “Mufubenga nnyo okwongera ku kukkiriza kwammwe obulungi, ku bulungi bwammwe, okumanya, ku kumanya kwammwe, okwefuga, ku kwefuga kwammwe, okugumiikiriza, ku kugumiikiriza kwammwe, okwemalira ku Katonda, ku kwemalira ku Katonda, okwagalana ng’ab’oluganda, ku kwagalana ng’ab’oluganda, okwagala.”​—2 Peet. 1:5-7; 1 Tim. 6:11.

Buli lwe tuvvuunuka ekigezo, tweyongera okukulaakulanya obugumiikiriza

8 Omuyigirizwa Yakobo yalaga nti kikulu nnyo okukulaakulanya obugumiikiriza. Yagamba nti: “Musanyukenga baganda bange bwe mwolekagananga n’okugezesebwa okutali kumu, nga mumanyi nti okukkiriza kwammwe okugezeseddwa kuvaamu obugumiikiriza. Naye muleke obugumiikiriza butuukirize omulimu gwabwo, mulyoke mubeere abatuukiridde era abakola obulungi mu byonna nga temulina kibabulako mu buli kintu kyonna.” (Yak. 1:2-4) Yakobo yagamba nti tetusaanidde kutya kugezesebwa era nti tusaanidde okukusanyukira kubanga kutuyamba okuba abagumiikiriza. Ekyo naawe bw’otyo bw’okiraba? Ate era Yakobo alaga nti okugumiikiriza kutusobozesa okukulaakulanya engeri endala ezisanyusa Katonda. Buli lwe tuvvuunuka ekigezo, tweyongera okukulaakulanya obugumiikiriza.

9 Bwe tugumiikiriza tusanyusa Yakuwa, era ajja kutuwa empeera ey’obulamu obutaggwaawo. Yakobo yagamba nti: “Alina essanyu omuntu agumiikiriza ng’agezesebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa, alifuna engule ey’obulamu Yakuwa gye yasuubiza abo abeeyongera okumwagala.” (Yak. 1:12) Bwe tutaba bagumiikiriza tetusobola kusigala mu mazima. Bwe tukkiriza ebintu by’ensi okututwaliriza, tujja kuddayo mu nsi. Bwe tutaba bagumiikiriza tetujja kweyongera kufuna mwoyo gwa Yakuwa, era tetujja kwoleka ebiri mu kibala kyagwo.

10 Bwe tuba ab’okugumiikiriza mu biseera bino ebizibu, tulina okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bikwata ku kubonaabona kwe tuyitamu. Yakobo yagamba nti bwe tuba tubonaabona ‘tusanyukenga.’ Ekyo kiyinza obutaba kyangu nga tufunye ekigezo eky’amaanyi. Naye tukijjukire nti obulamu bwaffe n’ebiseera byaffe eby’omu maaso bikwatibwako. Ekyo ekyatuuka ku batume kituyamba okukiraba nti tusobola okuba abasanyufu ne bwe tuba nga tubonaabona. Ebikolwa by’Abatume 5:40, 41, wagamba nti baayita “abatume ne babakuba, era ne babalagira obutaddamu kwogera mu linnya lya Yesu, ne babaleka ne bagenda. Awo abatume ne bava mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya nga basanyuka olw’okuba Katonda yali abawadde enkizo okuweebuulwa olw’erinnya lya Yesu.” Abatume baakitegeera nti baali babonaabona olw’okuba baali bagondedde ekiragiro kya Yesu, era baakitegeera nti Yakuwa yali asiima bye baali bakola. Nga wayiseewo emyaka, Peetero yayogera ku miganyulo egiri mu kubonaabona olw’obutuukirivu.​—1 Peet. 4:12-16.

11 Lowooza ne ku ekyo ekyatuuka ku Pawulo ne Siira. Bwe baali babuulira mu Firipi, ab’obuyinza baabakwata ne babavunaana omusango gw’okukyankalanya ekibuga n’okubuulira ebikwata ku mpisa ezaali zitakkirizibwa mu kitundu ekyo. Baakubibwa nnyo era ne basibibwa mu kkomera. Ebyawandiikibwa biraga nti bwe baali mu kkomera, ‘ekiro awo nga mu ttumbi, baali basaba era nga bayimba ennyimba ezitendereza Katonda, era abasibe abalala baali babawulira.’ (Bik. 16:16-25) Pawulo ne Siira baakitwala nti okubonaabona olwa Kristo kyali kiraga nti beesigwa eri Katonda, era nti kyandibayambwe okweyongera okubuulira amawulire malungi. Obulamu bw’abantu abalala bwali bukwatibwako. Ekiro ekyo, omukuumi w’ekkomera n’ab’omu nnyumba ye baawuliriza amawulire amalungi era ne bafuuka abayigirizwa ba Kristo. (Bik. 16:26-34) Pawulo ne Siira beesiga Yakuwa, era baali bakakafu nti yali ajja kubayamba. Yakuwa teyabalekerera.

12 Ne leero Yakuwa atuwa byonna ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu biseera eby’okugezesebwa. Atuwadde Ekigambo kye okutuyamba okumanya ebikwata ku bigendererwa bye. Ekyo kizimba okukkiriza kwaffe. Tulina enkizo ey’okukuŋŋaana ne Bakristaayo bannaffe n’okwenyigira mu buweereza obutukuvu. Ate era tulina n’enkizo ey’okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa okuyitira mu kusaba. Awulira essaala zaffe bwe tumusaba atuyambe okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. (Baf. 4:13) Ekintu ekirala ekituyamba okugumiikiriza kwe kulowooza ku ebyo Yakuwa by’atusuubizza.​—Mat. 24:13; Beb. 6:18; Kub. 21:1-4.

OKUGUMIRA EBIGEZO EBITALI BIMU

13 Ebigezo bye tufuna leero bifaananako ebyo abayigirizwa ba Yesu abaasooka bye baafuna. Leero waliwo abantu abatatwagala era abatuyigganya. Nga bwe kyali mu kiseera ky’abatume, bannaddiini be basinga okukuma omuliro mu abo abatuyigganya, olw’okuba Ekigambo kya Katonda kyanika enjigiriza zaabwe enkyamu n’ebintu ebibi bye bakola. (Bik. 17:5-9, 13) Ebiseera ebimu abantu ba Yakuwa basobodde okufuna obuweerero oluvannyuma lw’okwekubira enduulu mu b’obuyinza. (Bik. 22:25; 25:11) Waliwo n’abafuzi abawera omulimu gwaffe ogw’okubuulira. (Zab. 2:1-3) Bwe twesanga mu mbeera eyo, tukola ng’abatume abaagamba nti: “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.”​—Bik. 5:29.

14 Abantu beeyongedde okubaamu mwoyogwaggwanga, era ekyo kibaleetera okuyigganya Abakristaayo, nga baagala okubalemesa okukola omulimu Katonda gwe yabawa ogw’okubuulira amawulire amalungi. Abantu ba Katonda ffenna tukiraba nti kikulu nnyo okukolera ku kulabula okuli mu Okubikkulirwa 14:9-12 okukwata ku kusinza ‘ensolo n’ekifaananyi kyayo.’ Tukitegedde nti ebigambo bino Yokaana bye yayogera bikulu nnyo. Yagamba nti: “Wano abatukuvu we kibeetaagisiza okubeera abagumiikiriza, abo abakwata amateeka ga Katonda era abanywerera ku kukkiriza kwa Yesu.”

15 Entalo, obwegugungo, ne gavumenti okuwera omulimu gwaffe, biyinza okukifuula ekizibu ennyo gy’oli okugenda mu nkuŋŋaana oba okubuulira. Muyinza n’okuba nga temukyasobola kukuŋŋaana wamu ng’ekibiina, nga temukyasobola kuwuliziganya na ofiisi y’ettabi, oba ng’omulabirizi w’ekitundu takyasobola kukyalira kibiina kyammwe. Ate era muyinza n’okuba nga temukyafuna bitabo. Embeera ng’ezo bwe zibaawo, kiki ky’oyinza okukola?

16 Mu mbeera ng’eyo, fuba okukola kyonna ky’osobola okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo. Fuba okulaba nti weesomesa. Ab’oluganda baba basobola okukuŋŋaanira mu maka g’ab’oluganda mu bubinja obutonotono. Mu nkuŋŋaana ng’ezo basobola okukozesa Bayibuli yokka awamu n’ebitabo bye twamala edda okusoma mu kibiina. Tosaanidde kweraliikirira wadde okutya. Mu mbeera ng’eyo, akakiiko akafuzi kafuba okulaba nti kawuliziganya n’ab’oluganda abatwala obukulembeze amangu ddala nga bwe kisoboka.

17 Ne bwe weesanga ng’osigadde wekka, tosaanidde kuggwaamu ssuubi kubanga Yakuwa n’Omwana we Yesu Kristo, baba bali wamu naawe. Yakuwa aba akyasobola okuwulira essaala zo, era aba akyasobola okukuyamba ng’akozesa omwoyo gwe. Musabe akuwe obulagirizi. Kijjukire nti oli muweereza we era oli muyigirizwa wa Yesu Kristo. N’olwekyo, fuba okukozesa buli kakisa k’ofuna okubuulira. Bw’okola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuwa emikisa, era abantu abalala bayinza okukwegattako ne batandika okusinza Yakuwa.​—Bik. 4:13-31; 5:27-42; Baf. 1:27-30; 4:6, 7; 2 Tim. 4:16-18.

18 Kyokka, singa weesanga ng’obulamu bwo buli mu kabi, nga bwe kyali eri abatume n’abaweereza ba Yakuwa abalala, weesige “Katonda azuukiza abafu.” (2 Kol. 1:8-10) Essuubi ery’okuzuukira ly’olina lijja kukuyamba okusigala ng’oli munywevu. (Luk. 21:19) Yesu Kristo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yali akimanyi nti okusigala nga mwesigwa ng’agezesebwa kyandiyambye abalala okugumiikiriza. Naawe bw’osigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa, osobola okuzzaamu baganda bo amaanyi.​—Yok. 16:33; Beb. 12:2, 3; 1 Peet. 2:21.

19 Ng’oggyeeko okuyigganyizibwa n’okuziyizibwa, oyinza okufuna ebigezo ebirala eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda abamu baweddemu amaanyi olw’okuba abantu b’omu kitundu kye babuuliramu tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe. Ab’oluganda abalala balina obulwadde obubatawaanya oba obulemu. Omutume Pawulo naye yalina ekizibu eky’amaanyi ekyataataaganyanga obuweereza bwe. (2 Kol. 12:7) Ate ye Epafulodito, Omukristaayo eyaliwo mu kyasa ekyasooka, ‘yennyamira olw’okuba mikwano gye baawulira nti yalwala.’ (Baf. 2:25-27) Obutali butuukirivu bwaffe n’obw’abalala nabwo buyinza okuleetawo ebizibu ebitali byangu kugumira. Tuyinza okufuna obutategeeragana n’ow’oluganda mu kibiina oba n’omu ku b’eŋŋanda zaffe. Naye bwe tukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda, tusobola okugumira ebizibu ng’ebyo oba okubivvuunuka.​—Ezk. 2:3-5; 1 Kol. 9:27; 13:8; Bak. 3:12-14; 1 Peet. 4:8.

KA TUBE BAMALIRIVU OKUSIGALA NGA TULI BEESIGWA

20 Tulina okunywerera ku Yesu Kristo, Yakuwa gwe yalonda okuba omutwe gw’ekibiina. (Bak. 2:18, 19) Ate era, tulina okukolera ku bulagirizi obutuweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” era n’abalabirizi mu kibiina kya Yakuwa. (Beb. 13:7, 17) Bwe tugoberera enteekateeka z’ekibiina kya Yakuwa era ne tukolagana bulungi n’abo abatwala obukulembeze, tujja kuba tusobola okukola Yakuwa by’ayagala. Tulina okunyiikirira okusaba. Ka tukijjukirenga nti n’okusibibwa mu kkomera tekiyinza kutulemesa kwogera ne Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo oba okutulemesa okuba obumu.

21 Ka tube bamalirivu okubuulira amawulire amalungi nga Yesu Kristo bwe yatulagira, era tugukole n’obugumiikiriza. Yesu yagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu, nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.” (Mat. 28:19, 20) Okufaananako Yesu, ka tweyongere okugumiikiriza. Ka ffenna tweyongere okulowooza ku ssuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Beb. 12:2) Abayigirizwa ba Kristo ffenna tulina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu ogutuukiriza obunnabbi bwa Yesu obukwata ku ‘mafundikira g’enteekateeka ey’ebintu eno.’ Yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Mat. 24:3, 14) Bwe twenyigira mu mulimu ogwo n’omutima gwaffe gwonna, tujja kufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share