LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/04 lup. 1
  • Obugumiikiriza Buvaamu Emiganyulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obugumiikiriza Buvaamu Emiganyulo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Similar Material
  • “Muleke Obugumiikiriza Butuukirize Omulimu Gwabwo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Nywerera ku Kibiina kya Yakuwa
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • “Alina Essanyu Omuntu Agumiikiriza ng’Agezesebwa”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Okusigala nga Tuli Basanyufu nga Twolekagana n’Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 8/04 lup. 1

Obugumiikiriza Buvaamu Emiganyulo

1 “Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu.” (Luk. 21:19) Ebigambo ebyo ebikwata ku bunnabbi bwa Yesu obwogera ku ‘nkomerero y’emirembe gino,’ bikirambika bulungi nti okusobola okubeera abeesigwa, tuteekwa okuba abeetegefu okwolekagana n’okugezesebwa okutali kumu. Naye mu maanyi ga Yakuwa, buli omu ku ffe asobola ‘okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero’ era ‘n’alokolebwa.’​—Mat. 24:3, 13; Baf. 4:13.

2 Okuyigganyizibwa, obulwadde, ebizibu by’eby’enfuna, n’okweraliikirira biyinza okutugezesa buli lunaku. Kyokka, tetulina kwerabira nti Setaani agezaako okutulemesa okubeera abeesigwa eri Yakuwa. Buli lunaku lwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa tuba tumusobozesa okuddamu oyo amuvuma. Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti “amaziga” ge tukaaba nga twolekaganye n’okugezesebwa tegeerabirwa! Ga muwendo nnyo eri Yakuwa, era asanyuka bwe tusigala nga tuli beesigwa!​—Zab. 56:8; Nge. 27:11.

3 Ebigezo Bitunyweza: Okugezesebwa kuyinza okulaga nti tulina obunafu mu kukkiriza oba engeri embi nga amalala n’obutali bugumiikiriza. Mu kifo ky’okugezaako okwewala ebizibu oba okubikomya nga tumenya emisingi egy’omu Byawandiikibwa, tulina okugoberera okubuulirira kw’Ekigambo kya Katonda okw’okuleka ‘omulimu gw’okugumiikiriza okutuukirira.’ Lwaki? Kubanga bwe tusigala nga tuli beesigwa nga twolekaganye n’okugezesebwa kituyamba okubeera nga “tulina byonna era [ne tu]taweebuuka mu kigambo kyonna.” (Yak. 1:2-4) Obugumiikiriza busobola okutuyamba okukulaakulanya engeri ez’omuwendo nga obukkakkamu, okulumirirwa abalala, n’obusaasizi.​—Bar. 12:15.

4 Okukkiriza Okugezeseddwa: Bwe tugumiikiriza ebigezo, tufuna okukkiriza okugezeseddwa okw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. (1 Peet. 1:6, 7) Okukkiriza nga kuno kutusobozesa okwaŋŋanga ebigezo eby’omu maaso. Ate era, bwe tugumiikiriza ebigezo tumanya nti tusiimibwa Katonda, ne kituviirako okuba n’essuubi ekkakafu.​—Bar. 5:3-5.

5 Omuganyulo ogusingayo obulungi oguva mu bugumiikiriza gwogerwako mu Yakobo 1:12, olugamba nti: “Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu.” N’olwekyo, ka tusigale nga tuweereza Yakuwa, nga tuli bakakafu nti ajja kuwa ‘abo abamwagala’ empeera.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share